OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Bye Tuyigira ku Samwiri
Samwiri yasigala mwesigwa eri Yakuwa obulamu bwe bwonna. Bwe yali akyali muto, teyeenyigira mu mpisa mbi nga batabani ba Eli, Kofuni ne Fenekaasi. (1Sa 2:22-26) Samwiri yeeyongera okukula era Yakuwa yali naye. (1Sa 3:19) Ne bwe yali ng’akaddiye, yeeyongera okutambulira mu makubo ga Yakuwa, wadde nga batabani be bo tebaagatambuliramu.—1Sa 8:1-5.
Kiki kye tuyigira ku Samwiri? Bw’oba nga okyali muto, ba mukakafu nti Yakuwa amanyi okusoomooza kw’oyolekagana nakwo, n’engeri gye weewuliramu. Asobola okukuyamba okuba omuvumu. (Is 41:10, 13) Bw’oba oli muzadde alina omwana eyava ku Yakuwa, okukimanya nti Samwiri yali tasobola kuwaliriza baana be kuba beesigwa eri Yakuwa, kijja kukuyamba okugumira embeera eyo. Samwiri yaleka ensonga mu mikono gya Yakuwa Kitaawe ow’omu ggulu, ye ne yeeyongera okukuuma obwesigwa bwe. Oboolyawo ekyokulabirako ekirungi ky’ossaawo kiyinza okuyamba omwana wo okukomawo eri Yakuwa.
MULABE VIDIYO, BAAKO KY’OBAYIGIRAKO—SAMWIRI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Samwiri yayoleka atya obuvumu ng’akyali muto?
Danny yayoleka atya obuvumu?
Samwiri yassaawo atya ekyokulabirako ekirungi ne bwe yali ng’akaddiye?
Yakuwa ayamba abo abafuba okukola ekituufu
Kyakulabirako ki ekirungi bazadde ba Danny kye bassaawo?