EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Ani Kabaka Wo?
Abayisirayiri beetulinkiriza ne basaba baweebwe omuntu okubafuga nga kabaka (1Sa 8:4, 5; it-2-E lup. 163 ¶1)
Abayisirayiri baali tebaagala kufugibwa Yakuwa, Omufuzi atalabika (1Sa 8:7, 8; w11 4/1 lup. 29 ¶2)
Yakuwa yabalabula ku ebyo ebyandivudde mu ekyo kye baasaba (1Sa 8:9, 18; w10 1/15 lup. 30 ¶9)
Yakuwa bulijjo abadde afuga ebitonde bye byonna. Afuga mu ngeri ey’ekisa, era esobozesa abo b’afuga okuba obulungi. Bwe tugondera obufuzi bwe era ne tubuwagira, tujja kufuna emikisa egy’olubeerera.
WEEBUUZE, ‘Nkiraga ntya mu bulamu bwange nti ŋŋondera obufuzi bwa Yakuwa?’