OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebintu Ebirala Ebituyamba nga Tukozesa Ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!
Onyumirwa okukozesa vidiyo n’ebibuuzo ebireetera omuntu okuwa endowooza ye, ebiri mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!? Ate byo ebitundu gamba nga, “Abamu Bagamba nti,” “Eky’okukolako,” ne “Laba Ebisingawo”? Bintu ki ebirala ebirungi by’osobola okukozesa ng’oyigiriza omuntu Bayibuli?—Mat 28:19, 20.
Vidiyo n’eby’Okusoma: Bw’oba ng’oyagala okukozesa ekitabo ekikube mu kyapa ng’oyigiriza omuntu Bayibuli, oyinza otya okuzuula amangu vidiyo zonna n’ebirala eby’okusoma? Nyiga ku kimu ku bitundu ebina eby’ekitabo ekiri ku ssimu oba ku tabbuleeti. Ku nkomerero ya buli lukalala lw’amasomo agali mu buli kimu ku bitundu ebina ebiri mu kitabo, waliwo omutwe, Vidiyo n’eby’Okusoma. Bw’onyiga ku bigambo ebyo, bijja kukuleetera vidiyo zonna n’eby’okusomako byonna ebiri mu kitundu ekyo. (Laba ekifaananyi 1.)
“Ekikube mu Kyapa”: Bw’oba ng’oyigiriza omuntu ssomo erimu ng’okozesa kompyuta oba essimu, ebiseera ebimu oyinza okwagala okukyusa endabika y’essomo libe nga bwe lirabika mu kitabo ekikube mu kyapa. Ekyo okusobola okukikola, nyiga ku butonnyeze obusatu obuli waggulu ku mukono ogwa ddyo. Oluvannyuma onyige mu bigambo, “Ekikube mu Kyapa.” Awo essomo lijja kuba nga bwe lirabika mu kitabo ekikube mu kyapa era kijja kukuyamba okulaba engeri ebintu ebitali bimu mu ssomo gye bikwataganamu n’omutwe omukulu ogw’essomo eryo. Okusobola okuzzaayo essomo eryo mu ndabika yaalyo ey’oku kompyuta, ddamu onyige ku butonnyeze obusatu bwe wanyizeeko, oluvannyuma onyige mu bigambo “Eky’oku Kompyuta oba Essimu.”
“Ntuuse?”: Obusanduuko buno obuli emabega mu kitabo, bulaga ebisaanyizo omuntu ayagala okutandika okubuulira awamu n’ekibiina n’okubatizibwa, by’alina okutuukiriza. (Laba ekifaananyi 2.)
Ebyongerezeddwako: Ebyongerezeddwako byongera okunnyonnyola ku bintu ebimu ebikulu ebyogerwako mu kitabo. Ku nkomerero ya buli kyongerezeddwako, mu kitabo ekiri ku ssimu oba ku kompyuta, waliwo linki gy’osobola okunyigako n’oddayo w’obadde mu ssomo. (Laba ekifaananyi 2.)
Fuba okulaba ng’osoma n’abayizi abakulaakulana ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! mukimaleko, ne bwe baba nga bamaze okubatizibwa. Osobola okweyongera okubala essaawa, okuddiŋŋana, n’omuyizi, ne bwe kiba nti omuyizi yamala okubatizibwa. Bwe wabaawo omubuulizi akuwerekeddeko era nga yeenyigidde mu kuyigiriza, naye asobola okubala essaawa