EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Okusaba Kwaleetera Yakuwa Okubaako ky’Akolawo
Yakuwa yagamba Keezeekiya nti obulwadde obwali bumuluma bwali tebugenda kuwona (2Sk 20:1; ip-1-E lup. 394 ¶23)
Keezeekiya yeegayirira Yakuwa ajjukire obwesigwa bwe yali ayolese (2Sk 20:2, 3; w17.03 lup. 21 ¶16)
Essaala ya Keezeekiya yaleetera Yakuwa okubaako ky’akolawo (2Sk 20:4-6; g01-E 7/22 lup. 13 ¶4)
Essaala zaffe ziyinza okuleetera Yakuwa okukola ekintu oboolyawo ky’atandikoze. Ebikwata ku Keezeekiya bikuleetera bitya okunyiikirira okusaba?