LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb23 Jjanwali lup. 11
  • Fuba Okumanya Endowooza ya Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Fuba Okumanya Endowooza ya Katonda
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Similar Material
  • Okusalawo mu Ngeri Eraga nti Twesiga Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Salawo mu Ngeri Esanyusa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Okusoma Bayibuli Buli Lunaku n’Okunoonya Amagezi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Abazadde, Muyambe Abaana Bammwe Basobole Okusanyusa Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
mwb23 Jjanwali lup. 11
Ekifaananyi ekiggiddwa mu vidiyo “Tulina ‘Okudduka n’Obugumiikiriza’​—Lya Emmere Erimu Ekiriisa.” Rebekah ng’akozesa brocuwa “The Origin of Life—Five Questions Worth Asking” okunoonyereza.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Fuba Okumanya Endowooza ya Katonda

Twagala okusanyusa Yakuwa mu byonna bye tukola. (Nge 27:11) Ekyo okusobola okukikola, kitwetaagisa okuba ng’ebyo bye tusalawo bituukagana n’endowooza ye ne bwe waba nga tewaliwo tteeka lyogera butereevu ku ekyo kye tuba tugenda okusalawo. Kiki ekiyinza okutuyamba okusalawo obulungi?

Beera n’enteekateeka ey’okwesomesa Bayibuli obutayosa. Buli lwe tusoma Bayibuli, tuba ng’abawaddeyo ebiseera okubeerako ne Yakuwa. Tusobola okumanya endowooza ya Yakuwa nga twekenneenya engeri gye yakolaganamu n’abantu be, era nga tufumiitiriza ku byokulabirako by’abo abaakola ebirungi n’abo abaakola ebibi mu maaso ge. Bwe tuba nga tulina kye twagala okusalawo, omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okujjukira ebyo bye tuba twayiga mu Kigambo kya Katonda.​—Yok 14:26.

Noonyereza. Bw’oba ng’olina ky’ogenda okusalawo, weebuuze, ‘Byawandikiibwa ki mu Bayibuli ebisobola okunnyamba okumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku kintu kino?’ Saba Yakuwa akuyambe era kozesa ebintu bye tukozesa mu kunoonyereza ebiri mu lulimi lwo osobole okuzuula emisingi gya Bayibuli egisobola okukuyamba mu ekyo ky’oyagala okusalawo.​—Zb 25:4.

MULABE VIDIYO TULINA “OKUDDUKA N’OBUGUMIIKIRIZA”​—LYA EMMERE ERIMU EKIRIISA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO WAMMANGA:

  • Kupikirizibwa ki mwannyinaffe gwe tulabye mu vidiyo kwe yayolekagana nakwo?

  • Oyinza otya okukozesa ebyo bye tukozesa mu kunoonyereza okukuyamba okwaŋŋanga okupikirizibwa ng’okwo?

  • Tuganyulwa tutya bwe tuwaayo ebiseera okunoonyereza ku ebyo ebisobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi?​—Beb 5:13, 14

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share