EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Tetusaanidde Kukoppa Ngeri Erifaazi Gye Yabudaabudamu
Erifaazi yagamba Yobu nti abantu tebasobola kusanyusa Katonda (Yob 15:14-16; w05-E 9/15 lup. 26 ¶4-5)
Erifaazi yagamba nti Yobu alina ebibi bye yakola era nti eyo ye nsonga lwaki yali abonaabona (Yob 15:20)
Ebigambo Erifaazi bye yayogera tebyabudaabuda Yobu (Yob 16:1, 2)
Ebyo Erifaazi bye yagamba Yobu byali bya bulimba. Yakuwa asiima bwe tufuba okumuweereza. (Zb 149:4) N’abo abakola Yakuwa by’ayagala basobola okufuna ebizibu.—Zb 34:19.
EKY’OKULOWOOZAAKO: Tuyinza tutya “okubudaabuda abennyamivu”?—1Se 5:14; w15 2/15 lup. 9 ¶16.