LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w23 Jjulaayi lup. 32
  • Ebinaakuyamba Mu Kwesomesa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebinaakuyamba Mu Kwesomesa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Subheadings
  • Similar Material
  • By’Olina Okukulembeza nga Weesomesa
  • Weeyongere Okulongoosa mu Ngeri Gye Weesomesaamu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Ebisobola Okukuyamba Nga Weesomesa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Kozesa Omukutu jw.org ng’Obuulira—Beera Mukwano gwa Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Ebinaakuyamba mu Kunoonyereza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
w23 Jjulaayi lup. 32

Ebinaakuyamba Mu Kwesomesa

By’Olina Okukulembeza nga Weesomesa

Ffenna tulina ebiseera bitono eby’okwesomesa. Tuyinza tutya okubikozesa obulungi? Okusookera ddala, waayo ebiseera ebimala ku ekyo ky’oba osoma. Ojja kuganyulwa nnyo bw’onoosoma n’obwegendereza ebintu bitonotono okusinga okusoma ebintu ebingi ng’obiyitamu buyisi.

Eky’okubiri, manya by’osaanidde okukulembeza. (Bef. 5:15, 16) Lowooza ku magezi gano agasobola okukuyamba:

  • Soma Bayibuli buli lunaku. (Zab. 1:2) Oyinza okutandika n’essuula ze tusoma buli wiiki eziragibwa mu katabo k’enteekateeka y’enkuŋŋaana za wakati mu wiiki.

  • Tegeka Omunaala gw’Omukuumi n’ekitundu ky’enkuŋŋaana za wakati mu wiiki. Weetegeke okubaako ky’oddamu.​—Zab. 22:22.

  • Era gezaako okusoma n’okulaba ebintu ebirala, gamba nga magazini, vidiyo, n’ebyo ebiba ku jw.org.

  • Baako ekintu ekikunyumira ky’onoonyerezaako oba ky’osomako. Osobola okunoonyereza ku kizibu ky’oyolekagana nakyo, ekibuuzo kye weebuuza, oba ekintu ekimu mu Bayibuli ky’oyagala okweyongera okutegeera. Okumanya engeri y’okukikolamu, laba ekitundu “Bible Study Activities” ku jw.org.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share