LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w24 Jjulaayi lup. 26-29
  • Ebiyinza Okukuyamba Okumanyiira Ekibiina Ekipya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebiyinza Okukuyamba Okumanyiira Ekibiina Ekipya
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EBINTU BINA EBISOBOLA OKUKUYAMBA
  • “MUSEMBEZEGANYENGA”
  • AKAKISA K’OKUKULA MU BY’OMWOYO
  • Oyinza Otya Okumanyiira Ekibiina Ekipya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Ekibiina ka Kizimbibwenga
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Olina Ekifo mu Kibiina kya Yakuwa!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Ekibiina ka Kitendereze Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
w24 Jjulaayi lup. 26-29

Ebiyinza Okukuyamba Okumanyiira Ekibiina Ekipya

WALI osenguseeko n’ogenda mu kibiina ekirala? Bwe kiba kityo, oyinza okuba ng’okkiriziganya n’ebigambo bya Jean-Charles bino: “Tekiba kyangu kumanyiira kibiina kipya ate mu kiseera kye kimu n’oba ng’oyamba buli omu mu maka go okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.” Ate era abo abasenguka baba balina okunoonya omulimu, aw’okubeera, amasomero g’abaana, okumanyiira embeera y’obudde, obuwangwa bwe batamanyiridde, n’ekitundu ekipya eky’okubuuliramu.

Nicolas ne Céline baayolekagana n’okusomoozebwa okw’enjawulo. Ofiisi y’ettabi ly’e Bufalansa yabasaba okugenda okuweereza mu kibiina ekirala era ne bakkiriza. Bagamba nti: “Mu kusooka ekyo kyatusanyusa nnyo, kyokka oluvannyuma twatandika okuwulira nga tusubwa mikwano gyaffe. Twali tetunnafuna mikwano gya ku lusegere ne bakkiriza bannaffe mu kibiina ekipya kye twali tugenzeemu.”a Okuva bwe kiri nti oluusi wabaawo okusoomooza ng’ogenze mu kibiina ekirala, biki ebisobola okukuyamba okumanyiira ekibiina ekipya? Biki abalala bye bayinza okukola okuyamba abo ababa bazze mu kibiina kyabwe? Era oyinza otya okuzzaamu abalala amaanyi era nabo ne bakuzzaamu amaanyi?

EBINTU BINA EBISOBOLA OKUKUYAMBA

Mwannyinaffe awummuzzaamu okutegeka ebintu mu nnyumba, asobole okusoma Bayibuli.

Weesige Yakuwa

1. Weesige Yakuwa. (Zab. 37:5) Kazumi, abeera mu Japan, yava mu kibiina kye yali amazeemu emyaka 20 omwami we bwe yasindikibwa okukolera mu kitundu ekirala. Kazumi ‘yakwasa atya Yakuwa amakubo ge’? Agamba nti: “Nnasaba Yakuwa ne mmutegeeza byonna bye nnali ntya, ekiwuubaalo kye nnalina, ne bye nnali nneeraliikirira. Buli lwe nnamusabanga yampanga amaanyi ge nnabanga nneetaaga.”

Oyinza otya okweyongera okwesiga Yakuwa? Ng’ekimera bwe kyetaaga amazzi n’ebiriisa okuva mu ttaka okusobola okukula, okukkiriza kwaffe nakwo kwetaaga okuliisibwa mu by’omwoyo okusobola okuba okunywevu. Nicolas eyayogeddwako yakiraba nti okufumiitiriza ku Ibulayimu, Yesu, ne Pawulo, abeefiiriza ennyo okusobola okukola Katonda by’ayagala, kyamuyamba okweyongera okuba omukakafu nti Yakuwa amuyamba. Okwesomesa Bayibuli obutayosa, kijja kukuyamba okwaŋŋanga okusoomooza kwonna kw’oyolekagana nakwo, era n’okuyiga ebintu ebipya by’ojja okukozesa okuzzaamu abalala amaanyi mu kibiina kye waakagendamu.

Omukadde ng’awuliriza ab’oluganda abato nga bamunnyonnyola engeri y’okukozesaamu ebyuma by’amalooboozi ku Kizimbe ky’Obwakabaka.

Weewale okugeraageranya

2. Weewale okugeraageranya. (Mub. 7:10) Jules bwe yasenguka okuva mu Benin n’agenda mu Amerika, yalina okumanyiira obuwangwa obwali obw’enjawulo ennyo ku bubwe. Agamba nti: “Nnali nkitwala nti nnali nsuubirwa okubuulira buli muntu ebintu byonna ebinkwatako.” Olw’okuba ekyo kyali kya njawulo nnyo ku ekyo kye yali amanyidde, yatandika okwewala ab’oluganda mu kibiina. Kyokka oluvannyuma lw’okweyongera okumanya bakkiriza banne, yakyusa endowooza ye. Agamba nti: “Nkiraba nti abantu bonna ku nsi be bamu, ka wabe wa we babeera. Engeri gye boogeramu n’ebyo bye bakola ye y’enjawulo. Kikulu nnyo okukkiriza abantu nga bwe bali.” N’olwekyo, weewale okugeraageranya ekibiina ky’ogenzeemu ku ekyo ky’ovuddemu. Mwannyinaffe Anne-Lise, aweereza nga payoniya, yagamba nti: “Nnasenguka okusobola okuyiga ebintu ebipya so si okusuubira nti bye nnandisanze byandibadde bye bimu ne bye nnaleka.”

Abakadde nabo balina okwewala okugeraageranya ekibiina kye babaddemu ku ekyo kye bazzeemu. Okuba nti ebintu bikolebwa mu ngeri ya njawulo ekyo ku bwakyo tekitegeeza nti bikyamu. N’olwekyo, kiba kya magezi okusooka okumanya embeera y’ekibiina ky’oba ozzeemu nga tonnabaako magezi g’owa. (Mub. 3:​1, 7b) Kirungi okukulembera abalala ng’obateerawo ekyokulabirako ekirungi mu kifo ky’okubakakaatikako endowooza yo.—2 Kol. 1:24.

Ab’oluganda babiri nga balongoosa eddirisa ku Kizimbe ky’Obwakabaka.

Weenyigire mu mirimu egikolebwa mu kibiina

3. Weenyigire mu ebyo ebikolebwa mu kibiina. (Baf. 1:27) Okusenguka kwetaagisa ebiseera n’amaanyi. Wadde kiri kityo, kikulu okubangawo mu nkuŋŋaana mu buntu okuviira ddala nga waakasenguka. Ab’oluganda mu kibiina ekipya ky’oba ogenzeemu bwe baba tebakulabangako oba nga bakulaba lumu na lumu, kibabeerera kizibu okukuyamba. Lucinda, eyasenguka ne bawala be abiri ne bagenda mu kimu ku bibuga ebinene ebya South Africa, agamba nti: “Mikwano gyange bampa amagezi okukola emikwano egy’oku lusegere ne bakkiriza bannange mu kibiina gye nnali ndaze, okubuulirangako nabo, n’okwenyigiranga mu nkuŋŋaana. Ate era twakkiriza ab’oluganda okukuŋŋaanira mu maka gaffe nga bagenda okubuulira.”

Okukolera awamu ne bakkiriza banno mu kibiina ekipya ky’oba ogenzeemu, kijja kukuyamba okunyweza okukkiriza kwo era n’okunyweza abalala. Anne-Lise, ayogeddwako waggulu, abakadde baamukubiriza okugezaako okubuulira na buli omu. Biki ebyavaamu? Agamba nti: “Mangu ddala nnakiraba nti ekyo kyannyamba okumanyiira ekibiina ekipya.” Ate era, okwenyigira mu bintu gamba ng’okulongoosa n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka kiraga nti kati ekibiina ekyo okitwala ng’ekikyo. Bwe weenyigira mu bintu ebyo, ab’oluganda bakumanyiira mangu era naawe obamanyiira mangu.

Ab’oluganda ne bakyala baabwe nga baliirako wamu ekijjulo.

Fuba okukola emikwano emipya

4. Fuba okufuna emikwano emipya. (2 Kol. 6:​11-13) Okuva bwe kiri nti okufaayo ku balala ye ngeri esingayo obulungi ey’okukolamu emikwano, waayo ebiseera ebimala ng’olukuŋŋaana terunnatandika oba nga luwedde okwogerako n’ab’oluganda osobole okubamanya. Fuba okujjukira amannya gaabwe. Bw’ojjukira amannya gaabwe era n’obalaga okwagala, nabo bajja kwagala okweyongera okukumanya era mujja kufuuka ba mukwano.

Mu kifo ky’okwefuula ekyo ky’otali ng’ogezaako okuleetera abalala okukwagala, leka bakkiriza banno abo abapya bamanyire ddala ekyo ky’oli. Kola ekyo Lucinda kye yakola. Agamba nti: “Tulina emikwano egy’oku lusegere olw’okuba twafubanga okubakyaza mu maka gaffe.”

“MUSEMBEZEGANYENGA”

Abamu batya okuyingira mu Kizimbe ky’Obwakabaka nga buli alimu tebamumanyi. N’olwekyo, kiki ky’oyinza okukola okuyamba abo ababa baakajja mu kibiina kyo? Omutume Pawulo yatukubiriza ‘okusembezeganyenga, nga Kristo bwe yatusembeza.’ (Bar. 15:7) Abakadde bwe bakoppa Kristo basobola okuyamba abapya okuwulira nti baagalibwa mu kibiina kye baba bazzeemu. (Laba akasanduuko “Ebisaanidde Okukolebwa ng’Ogenda mu Kibiina Ekirala.”) Kyokka bonna mu kibiina, nga mw’otwalidde n’abaana, balina okubaako kye bakolawo okuleetera abo ababa bazze mu kibiina kyabwe okuwulira nti baagalibwa.

Ebisaanidde Okukolebwa ng’Ogenda mu Kibiina Ekirala

Ky’osaanidde okukola: Yogerako n’abakadde b’omu bibiina byombi nga tonnaba kusenguka, obategeeze olunaku lw’oteekateeka okusenguka, endagiriro y’ekifo w’ogenda okubeera, era bawe ne nnamba yo ey’essimu. Kakasa nti omanyi Ekizimbe ky’Obwakabaka we kiri era n’ebiseera by’enkuŋŋaana. Mu lukuŋŋaana lw’osooka okugendamu, weeyanjule eri abakadde n’eri bakkiriza banno abalala.

Abakadde kye basaanidde okukola: Omukadde aweereza ng’omuwandiisi w’ekibiina ow’omu kibiina ow’oluganda gy’aba avudde, asaanidde okuweereza mu bwangu ebbaluwa eyanjula ow’oluganda ne kaadi ye eri abakadde b’omu kibiina gy’aba agenze. Abakadde abali ku Kakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza basaanidde okumutegeeza mu bwangu ekibinja ky’obuweereza ky’anaabeeramu. Omubuulizi oyo ajja kuganyulwa nnyo singa omulabirizi w’ekibinja ky’obuweereza amukyalirako okumuzzaamu amaanyi.

Okusembeza abalala kizingiramu okubakyaza mu maka gaffe. Ate era kizingiramu n’okubaako kye tukola okubayamba. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu yawaayo ebiseera bye okulambuza mukkiriza munne ekibuga era n’okumunnyonnyola eby’entambula bwe biri mu kitundu ekyo. Ekyo mwannyinaffe kye yakola kyayamba nnyo mukkiriza munne oyo okumanyiira ekitundu kye yali agenzeemu.

AKAKISA K’OKUKULA MU BY’OMWOYO

Enzige bw’egenda ekula yeeyubula enfunda n’enfunda nga tennaba kutandika kuyiga kubuuka. Mu ngeri y’emu, bwe tusengukira mu kibiina ekirala, tusaanidde okweggyako ekintu kyonna ekitulemesa okubuuka mu ngeri ey’akabonero mu buweereza bwaffe. Nicolas ne Céline bagamba nti: “Okusengukira mu kibiina ekirala kutendekebwa kulungi nnyo. Okumanyiira abantu abapya n’embeera empya kyatusobozesa okukulaakulanya engeri endala ennungi.” Jean-Charles, eyayogeddwako ku ntandikwa, ayogera ku ngeri ab’omu maka ge gye baaganyulwamu. Agamba nti: “Okusengukira mu kibiina ekipya kisobozesezza abaana baffe okweyongera okukula mu by’omwoyo n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Nga waakayita emyezi mitono nga tumaze okusenguka, muwala waffe yatandika okwenyigira mu bitundu ebiba mu lukuŋŋaana olubaawo wakati mu wiiki, ate mutabani waffe yafuuka omubuulizi atali mubatize.”

Watya singa embeera yo tekusobozesa kusengukira mu kibiina ekirala, gamba ng’okugenda mu kibiina awali obwetaavu obusingako? Mu mbeera eyo, osobola okubaako ky’okola mu kibiina ky’olimu ng’okolera ku magezi agatuweereddwa mu kitundu kino. Weeyongere okwesiga Yakuwa nga weenyigira mu bujjuvu mu bintu ebikolebwa ekibiina kyo, ng’okola enteekateeka okubuulirako n’abantu ab’enjawulo, ng’ofuba okukola emikwano emipya era ng’onyweza n’egyo gy’olina. Oboolyawo osobola okubaako by’okolawo okuyamba abapya oba abo abali mu bwetaavu. Okuva bwe kiri nti okwagala kwe kwawulawo Abakristaayo ab’amazima, bw’oyoleka okwagala mu ngeri eyo kijja kukuyamba okweyongera okukula mu by’omwoyo. (Yok. 13:35) Osobola okuba omukakafu nti “ssaddaaka ng’ezo zisanyusa Katonda.”—Beb. 13:16.

Wadde ng’okusengukira mu kibiina ekirala kirimu okusoomooza, bangi abasengukidde mu bibiina ebirala basobodde okumanyiira, era naawe osobola okumanyiira! Anne-Lise agamba nti: “Okubeera mu bibiina eby’enjawulo kinnyambye okufuna emikwano mingi.” Kazumi agamba nti: “Okusengukira mu kibiina ekirala kikusobozesa okulaba engeri Yakuwa gy’akuyambamu mu ngeri gye wali tosuubira.” Ate Jules agamba nti: “Emikwano gye nkoze ginnyambye okuwulira nti njagalibwa. Kati mpulira nga njagala nnyo ekibiina kyange ekipya era saagala kukivaamu.”

a Okumanya ebisingawo, laba ekitundu “Ebiyinza Okukuyamba bw’Oba Osubwa Ewammwe ng’Oli mu Buweereza,” mu Watchtower eya Maayi 15, 1994.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share