SEMBERERA KATONDA
“Laba! Ebintu Byonna Mbizza Buggya”
Wandyagadde ggwe n’ab’omu maka go okuba abalamu obulungi n’okuwangaala? Wandyagadde okubeera mu nsi omutaliba kulumwa, kubonaabona, wadde okufa? Ekyo si kirooto bulooto. Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kussaawo ensi empya ey’obutuukirivu. Weetegereze engeri ekyo gye kyogerwako mu Okubikkulirwa 21:3-5.—Soma.
“[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.” (Okubikkulirwa 21:4) Maziga ga ngeri ki g’alisangula? Si maziga ag’essanyu, wabula ago ge tukaaba olw’ennaku n’okubonaabona. Katonda ajja kusangulira ddala amaziga gonna ng’aggyawo ebintu ebituleetera ennaku n’okubonaabona.
“Tewalibaawo kufa nate.” (Okubikkulirwa 21:4) Okufa ye mulabe waffe akyasinze okutukaabya amaziga. Abantu abakola Yakuwa by’ayagala ajja kubaggirawo okufa. Anaakikola atya? Ng’aggyawo ekibi kye twasikira okuva ku Adamu ekiviirako abantu okufa. (Abaruumi 5:12) Yakuwa ajja kusinziira ku ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu okuyamba abantu okufuuka abatuukiridde.a Era omulabe alisembayo “okuggibwawo” kwe kufa. (1 Abakkolinso 15:26) Abantu abeesigwa bajja kubeerawo emirembe gyonna mu bulamu obutuukiridde ng’ekigendererwa kya Katonda bwe kyali.
‘Tewalibaawo bulumi.’ (Okubikkulirwa 21:4) Bulumi bwa ngeri ki obutalibaawo? Obulimi bwonna mu mubiri n’okweraliikirira, ebyaleetebwawo ekibi n’obutali butuukirivu.
Abantu banaatera okuba mu bulamu omutali kukaaba, okufa, wadde obulumi. Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Banaabufunira wa? Kyandiba nti Katonda asuubiza kububaweera mu ggulu?’ Nedda. Lwaki tugamba bwe tutyo? Ensonga esooka eri nti, ekisuubizo kya Katonda ekyo kitandika n’ebigambo bino: “Eweema ya Katonda eri wamu n’abantu,” era abantu babeera wano ku nsi. (Okubikkulirwa 21:3) Ensonga ey’okubiri eri nti, ekisuubizo kya Katonda kyogera ku nsi omutaliba “kufa nate,” kwe kugamba ensi omwali okufa naye ne kuggibwawo. Mu ggulu tebangayo kufa, so ng’ate kubaddewo ku nsi okumala ekiseera kiwanvu. N’olwekyo, kyeyoleka kaati nti obulamu obulungi Katonda bw’asuubiza bujja kubeera wano ku nsi.
Katonda ajja kusangula amaziga gonna abantu ge bakaaba olw’ennaku n’okubonaabona
Yakuwa ayagala tukkiririze mu kisuubizo kye eky’okussaawo ensi empya ey’obutuukirivu. Eyo ye nsonga lwaki oluvannyuma lw’okwogera ku bintu ebirungi by’agenda okutukolera, atukakasa nti: “Laba! ebintu byonna mbizza buggya.” Era agattako nti: “Wandiika, kubanga ebigambo bino bya bwesige era bya mazima.” (Okubikkulirwa 21:5) Tukukubiriza okuyiga ebisingawo omanye ekyo ggwe n’ab’omu maka go kye musaanidde okukola okuganyulwa mu kisuubizo kya Katonda ekyo.
Essuula za Bayibuli z’Oyinza Okusoma mu Ddesemba
a Okumanya ebisingawo ebikwata ku ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo, laba essuula 5 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.