LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w13 6/15 lup. 22-23
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Laba Ebirala
  • Bamalayika—“Myoyo Egiweereza”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Ddala Dayimooni Gyeziri?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Ebitonde eby’Omwoyo—Engeri Gye Bitukwatako
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Bayibuli Eyogera Ki ku Bamalayika?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 6/15 lup. 22-23

EBIBUUZO EBIVA MU BASOMI

“Abaana ba Katonda” abaaliwo ng’Amataba tegannajja aboogerwako mu Olubereberye 6:2, 4, be baani?

Baali bamalayika. Naye ekyo tukikakasiza ku ki?

Olunyiriri olw’okubiri lugamba nti: “Abaana ba Katonda ne balaba abawala b’abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda.”​—Lub. 6:2.

Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, ebigambo “abaana ba Katonda” bisangibwa mu Olubereberye 6:2, 4; Yobu 1:6; 2:1; 38:7; ne Zabbuli 89:6. “Abaana ba Katonda” aboogerwako mu nnyiriri ezo be baani?

Tewali kubuusabuusa nti “abaana ba Katonda” aboogerwako mu Yobu 1:6 byali bitonde eby’omwoyo ebyali bikuŋŋaanidde mu maaso ga Katonda. Mu bitonde ebyo mwe mwali ne Sitaani, eyali ava ‘okutambulatambula mu nsi.’ (Yob. 1:7; 2:1, 2) Ate era mu Yobu 38:4-7, tusoma ku ‘baana ba Katonda abaayogerera waggulu olw’essanyu,’ Katonda bwe ‘yassaawo ejjinja ly’ensi ekkulu ery’okunsonda.’ Abo nabo bateekwa okuba nga baali bamalayika, kubanga mu kiseera ekyo abantu baali tebannaba kutondebwa. “Abaana ba Katonda” aboogerwako mu Zabbuli 89:6 (NW) nabo bateekwa okuba nga bitonde bya mu ggulu, so si bantu.

Kati olwo “abaana ba Katonda” aboogerwako mu Olubereberye 6:2, 4 be baani? Okusinziira ku nnyiriri ezo ze tulabye waggulu, kyeyoleka lwatu nti be bamalayika abajja ku nsi.

Abantu abamu kibazibuwalira okukkiriza nti bamalayika bayinza okwagala okwegatta. Okusinziira ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 22:30, mu ggulu teri kuwasa na kwegatta. Kyokka, Bayibuli eyogera ku mirundi egitali gimu bamalayika lwe baayambala emibiri gy’abantu, oluusi ne baliira wamu n’abantu era ne banywera wamu nabo. (Lub. 18:1-8; 19:1-3) Ekyo kiraga bulungi nti bamalayika bwe bambala emibiri gy’abantu, baba basobola okwegatta n’abakazi.

Bayibuli eraga nti waliwo bamalayika abeeyambaza emibiri gy’abantu ne beegatta n’abakazi. Yuda 6, 7 wageraageranya ekibi ky’abasajja b’e Sodomu, abaakozesa emibiri gyabwe mu ngeri etali ya buzaaliranwa, ku kibi “bamalayika abaaleka ebifo byabwe ebituufu bye baalina okubeeramu” kye baakola. Ekintu bamalayika abo kye bafaanaganya n’abantu b’omu Sodomu kiri nti, bonna ‘baayendera ddala era ne bakozesa emibiri gyabwe mu ngeri etali ya buzaaliranwa.’ Ne 1 Peetero 3:19, 20 woogera ku bamalayika abaajeema mu “kiseera kya Nuuwa.” (2 Peet. 2:4, 5) Bwe kityo, ekyo bamalayika abajeemu abaaliwo mu kiseera kya Nuuwa kye baakola kisobola okugeraageranyizibwa ku kibi kya Sodomu ne Ggomola.

N’olwekyo, kyeyoleka lwatu nti “abaana ba Katonda” aboogerwako mu Olubereberye 6:2, 4 be bamalayika abeeyambaza emibiri gy’abantu ne beegatta n’abakazi.

Bayibuli egamba nti Yesu ‘yabuulira emyoyo egiri mu kkomera.’ (1 Peet. 3:19) Ekyo kitegeeza ki?

Omutume Peetero agamba nti emyoyo egyo gye myoyo “egyajeema Katonda bwe yali ng’alindirira n’obugumiikiriza mu kiseera kya Nuuwa.” (1 Peet. 3:20) Peetero yali ayogera ku bamalayika abaasalawo okujeemera Katonda ne beegatta ku Sitaani. Yuda ayogera ku bamalayika “abaaleka ebifo byabwe ebituufu bye baalina okubeeramu,” era agamba nti Katonda “abakuumira mu busibe, mu kizikiza ekikutte, nga balindirira omusango ogw’oku lunaku olukulu.”​—Yud. 6.

Bamalayika baajeema batya mu kiseera kya Nuuwa? Amataba bwe gaali tegannajja, bamalayika abo ababi beeyambaza emibiri gy’abantu, ekintu Katonda kye yali tabalagidde kukola. (Lub. 6:2, 4) Ate era, bamalayika abo beegatta n’abakazi, ekintu ekitali kya buzaaliranwa. Tekyali kigendererwa kya Katonda bamalayika okwegatta n’abakazi. (Lub. 5:2) Bamalayika abo ababi bajja kuzikirizibwa mu kiseera kya Katonda ekigereke. Naye nga Yuda bwe yagamba, kati bali “mu kizikiza ekikutte,” kwe kugamba, bali mu kkomera ery’eby’omwoyo.

Ddi Yesu lwe yabuulira “emyoyo egiri mu kkomera,” era ekyo yakikola atya? Peetero yagamba nti ekyo kyaliwo oluvannyuma lwa Yesu ‘okufuulibwa omulamu mu mwoyo.’ (1 Peet. 3:18, 19) Ate era weetegereze nti Peetero yagamba nti Yesu “yagenda n’abuulira.” Ebigamba ebyo biraga nti Peetero we yawandiikira ebbaluwa ye eyasooka, Yesu yali yamala dda okubuulira emyoyo egyo. Kirabika nti bwe waali waakayita ekiseera kitono oluvannyuma lwa Yesu okuzuukira, yagenda n’abuulira emyoyo egyo emibi ekibonerezo ekigenda okugiweebwa. Obubaka bwe yagibuulira tebwali bwa ssanyu, wabula bwali bwa musango. (Yon. 1:1, 2) Okuva bwe kiri nti Yesu yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa okutuukira ddala okufa, n’akiraga nti Omulyolyomi tamulinaako buyinza, yalina kw’asinziira okulangirira obubaka obw’omusango eri emyoyo egyo.​—Yok. 14:30; 16:8-11.

Mu kiseera eky’omu maaso, Yesu ajja kusiba Sitaani awamu ne bamalayika abo ababi, abasuule mu bunnya. (Luk. 8:30, 31; Kub. 20:1-3) Naye mu kiseera kino, bamalayika abo bali mu kizikiza eky’eby’omwoyo ekikutte, era tewali kubuusabuusa nti bajja kuzikirizibwa.​—Kub. 20:7-10.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza