“Laba Ekifaananyi!”
Mirundi emeka gye wali oyogedde ebigambo ebyo oluvannyuma lw’okulaba ekifaananyi mu magazini zaffe oba ng’oliko gw’okiraga? Ebifaananyi byonna ebiteekebwa mu bitabo byaffe biteekebwamu n’ekigendererwa. Bituyamba okufumiitiriza n’okutegeera obulungi ensonga ze tuba tuyigako. Era bituganyula nnyo naddala nga tutegeka olukuŋŋaana lw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi oba nga tuddamu ebibuuzo mu lukuŋŋaana olwo.
N’olwekyo bw’oba ogenda kutegeka ekitundu eky’okusoma, weetegereze ekifaananyi ekisooka ku kitundu ekyo era weebuuze: Ekifaananyi kino kiraga ki? Kikwatagana kitya n’omutwe gw’ekitundu awamu n’ekyawandiikibwa ekitundu kwe kyesigamiziddwa? Weetegereze n’ebifaananyi ebirala ebiri mu kitundu ekyo olabe engeri gye bikwatagana n’ensonga eba eyogerwako era olabe n’engeri gye bikukwatako.
Oyo akubiriza olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi asaanidde okuwa ab’oluganda akakisa okwogera ku buli kifaananyi ekiba mu kitundu. Ebifaananyi ebimu bibaako obugambo obulaga akatundu kwe byesigamiziddwa. Naye ebifaananyi ebirala tebibaako bugambo ng’obwo, bwe kityo, oyo akubiriza olukuŋŋaana asobola okusalawo butundu ki kwe biyinza okwogerebwako. Bw’akola bw’atyo, ebifaananyi ebiri mu kitundu ekyo bijja kusobola okuyamba bonna abali mu lukuŋŋaana okubaako ensonga ze bayiga okuva mu Kigambo kya Katonda.
Ow’oluganda omu yagamba nti, ‘Ebifaananyi bireetera ekitundu ekiba kisomebwa okwongera okuba ekinyuvu.’