Okusinza kw’Amaka Kuyamba mu Kuwonawo!
LOWOOZA ku ntiisa ey’amaanyi eneebaawo ‘ku lutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.’! (Kub. 16:14) Nnabbi Mikka yawandiika nti: “Ensozi zirisaanuuka . . . n’enkonko ziryatika ng’ebisenge by’enjuki mu maaso g’omuliro, ng’amazzi agayiikira awali ebbanga.” (Mi. 1:4) Kiki ekinaatuuka ku bantu abataweereza Yakuwa? Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Abo Mukama b’alitta baliva ku nkomerero y’ensi [oku]tuuka ku nkomerero yaayo.”—Yer. 25:33.
N’olwekyo, emitwe gy’amaka—nga bangi ku bo bazadde abali obwannamunigina—basaanidde okwebuuza, ‘Abaana bange abatuuse okwawulawo ekirungi n’ekibi banaawonawo ku lutalo olwo Kalumagedoni?’ Baibuli ekiraga nti bajja kuwonawo bwe banaasangibwa nga balina enkolagana ennungi ne Yakuwa.—Mat. 24:21.
Obukulu bw’Okuba n’Ekiseera eky’Okusinza ng’Amaka
Ng’omuzadde, fuba okukuza abaana bo ‘mu kukangavvula kwa Yakuwa n’okubateekamu endowooza ye.’ (Bef. 6:4) Okuyiga Baibuli n’abaana bo kintu kikulu nnyo. Twandyagadde abaana baffe babe ng’Abakristaayo b’omu Firipi Pawulo be yasiima olw’okugondera Yakuwa. Yawandiika nti: “Abaagalwa, nga bulijjo bwe mubadde abawulize, si olwo lwokka nga ndi nammwe, naye kaakano n’okusingawo nga siri nammwe, mweyongere okukolerera obulokozi bwammwe nga mutya era nga mukankana.”—Baf. 2:12.
Abaana bo bagondera amateeka ga Yakuwa nga toli nabo? Kiba kitya nga bali ku ssomero? Oyinza otya okuyamba abaana bo okukiraba nti amateeka ga Yakuwa malungi, kibakubirize okugagoberera ne bw’oba nga toli nabo?
Okusinza kw’Amaka kukuwa akakisa ak’enjawulo okuyamba abaana bo okulaba obukulu bw’okugondera Yakuwa. Kati ka tulabe ebintu bisatu by’osobola okukola okusoma Baibuli okw’amaka kubeere kwa muganyulo.
Fuba Okulaba nti Temwosa
Baibuli eraga nti waliwo ebiseera ebigereke bamalayika we bakuŋŋaanira mu maaso ga Katonda. (Yob. 1:6) Beera n’enteekateeka ng’eyo n’abaana bo. Teekawo olunaku n’ekiseera we mubeerera n’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka era ekiseera ekyo mukinywerereko. Tegekawo n’ekiseera ekirala kye muyinza okukozesa singa muba temusobodde kusomera mu ekyo ekya bulijjo.
Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, kyangu okujjamu endowooza nti obw’olumu bwe mutasoma tekiba kibi. Naye jjukira nti abayizi bo aba Baibuli abasingayo okuba ab’omuwendo be baana bo, ate nga Sitaani yandyagadde okubatta mu by’omwoyo. (1 Peet. 5:8) Singa ekiseera ky’Okusinza kw’Amaka mukikozesa okulaba ttivi oba okukola ebintu ebirala ebitali bikulu, Sitaani aba awangudde.—Bef. 5:15, 16; 6:12; Baf. 1:10.
Somesa Ebibaganyula mu Bulamu
Laga engeri ebyo bye musoma mu Kusinza kw’Amaka gye bibaganyula mu bulamu obwa bulijjo. Kino oyinza kukikola otya? Oluusi oyinza okusalawo ne musoma ebintu ebikwata ku mbeera omwana gy’agenda okwolekagana nayo. Ng’ekyokulabirako, muyinza okwegezaamu mu nnyanjula ze mugenda okukozesa mu buweereza bw’ennimiro. Abaana beesunga nnyo okukola ekintu singa baba bawulira nti bakisobola. N’olwekyo, okwegezaamu mu nnyanjula n’okuyiga engeri y’okuddamu abantu abalina endowooza ezitali zimu kibayamba obutabaamu kutya nga babuulira amawulire g’Obwakabaka mu ngeri ez’enjawulo.—2 Tim. 2:15.
Osobola n’okuyamba abaana bo okumanya eky’okukola nga bapikirizibwa bannaabwe. Musobola okuyiga ku biri mu ssuula 15 ey’akatabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 2. Ekipande ekirina omutwe “Okwetegekera Okupikirizibwa” ekiri ku lupapula 132 ne 133 kiraga eky’okukola era kiyamba omwana okulowooza ku kiki ky’ayinza okukola mu mbeera ng’eyo. Olunyiriri olusembayo wansi ku lupapula 133 lukubiriza omuvubuka nti: “Weegezeemu ng’oli n’omuzadde oba omuntu omukulu mu by’omwoyo.” Buli luvannyuma lwa kiseera, muyinza okwegezaamu nga muli mu Kusinza kw’Amaka.
Mu kusinza kw’amaka abazadde baba n’akakisa ak’enjawulo okwogera ku miganyulo egiri mu kuba n’ebiruubirirwa eby’omwoyo. Ku nsonga eno, waliwo amagezi amalungi agali mu ssuula 38 ey’akatabo Young People Ask, Omuzingo 2, wansi w’omutwe “Nnyinza Kukozesa Ntya Obulamu Bwange?” Nga musoma essuula eyo, yamba omwana wo okukiraba nti okukozesa obulamu bwe okuweereza Yakuwa kye kintu ekisingayo obulungi. Muyambe okulaba nti kirungi okuweereza nga payoniya, okuweereza ku Beseri, okugenda mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza, oba okuyingira mu buweereza obw’ekiseera kyonna obulala.
Kuno kulabula: Nga bafuba okuyamba abaana baabwe, abazadde abamu beemalira nnyo ku kubakubiriza okutuuka ku kye babaagaliza, ne beerabira okubasiima olw’ebirungi bye by’akola. Kirungi nnyo okukubiriza abaana bo okuba n’ebiruubirirwa, gamba ng’okuweereza ku Beseri oba okuweereza ng’abaminsani. Naye weegendereze obutabaleetera kwenyiwa ng’ogezaako okulaba nti bakola ky’obasuubiramu. (Bak. 3:21) Kijjukire nti omwana wo alina okuweereza Yakuwa olw’okwagala, okuva mu mutima gwe, so si mu gugwo. (Mat. 22:37) Siima omwana wo olw’ebyo by’akola obulungi era weewale okwogera ennyo ku ebyo by’atakola. Muyambe okulaba ebirungi Yakuwa by’atukoledde. Olwo omwana wo ajja kulaba obulungi bwa Yakuwa era ajja kwagala okumuweereza.
Fuba Okulaba nti Bonna Banyumirwa
Ekintu eky’okusatu ekijja okuyamba Okusinza kw’Amaka okuba okw’omuganyulo kwe kulaba nti bonna banyumirwa bye musoma. Kino oyinza kukikola otya? Oluusi muyinza okuwuliriza emizannyo egiri ku butambi oba okulaba n’okukubaganya ebirowoozo ku emu ku vidiyo zaffe. Musobola n’okubaako ekitundu kye musoma mu Baibuli, nga buli omu aweebwa akatundu ak’okusoma.
Mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! mulimu ebintu ebirungi bye muyinza okusoma ng’amaka. Ng’ekyokulabirako, muyinza okukozesa ebyo ebibeera mu Awake! ku lupapula 31, wansi w’omutwe “Wandizzeemu Otya?” Mu Omunaala gw’Omukuumi oluusi mubaamu ekitundu ekirina omutwe “Eri Abavubuka Baffe.” Ate oluusi mubaamu ekitundu ekirina omutwe “Yigiriza Abaana Bo.”
Ebitundu ebirina omutwe “Abavubuka Bye Babuuza” ebiba mu Awake! era n’akatabo Young People Ask, Omuzingo 2, biyamba nnyo abazadde n’abavubuka. Bwe muba musoma akatabo ako, akabokisi akalina omutwe “Olowooza Otya?” akasangibwa ku nkomerero ya buli ssuula tokayitako buyisi. Ebikalimu tebiba bya kwejjukanya kwokka naye era bisobola okukozesebwa mu kuyiga kw’amaka.
Weegendereze okulaba nti ekiseera ky’okusoma kw’amaka tokifuula kya kubuuza baana bibuuzo bya kumukumu. Ng’ekyokulabirako, towaliriza mwana wo kubabuulira bye yawandiika ku lupapula okuli ekitundu ekigamba nti: “We Mpandiika Ebyange,” oba bye yawandiika awalala wonna mu katabo ako. Ku Iupapula 3 awawandiikiddwa nti “Eri Abazadde,” akatabo ako kagamba: “Bw’oba oyagala abavubuka okuwandiika n’obwesimbu mu katabo kaabwe, tobalingiriza nnyo. Oluvannyuma lw’ekiseera, bo bennyini bayinza okusalawo okukubuulira bye baawandiika.”
Bw’onoofuba okulaba nga musoma ng’amaka obutayosa, nga bye musoma biganyula buli omu era nga bimunyumira, okufuba kwo Yakuwa ajja kukuwa omukisa. Ekiseera kino eky’enjawulo eky’okubeerako awamu ng’amaka kijja kukuyamba okukuuma abaagalwa bo nga banywevu mu by’omwoyo.
[Akasanduuko akali ku lupapula 31]
Beera Muyiiya
“Bwe twabanga tusoma ne bawala baffe abato, nze n’omwami wange twategekanga ebyo bye tugenda okusoma mu nkuŋŋaana, oluvannyuma ne tugamba bawala baffe ne bakuba ekifaananyi ekiraga bye tuyize. Oluusi twazannyanga emizannyo egyesigamiziddwa ku biri mu Baibuli, oba ne twegezaamu mu nnyanjula ez’okukozesa mu buweereza bw’ennimiro. Twafubanga okulaba nga bye basoma bituukana n’emyaka gyabwe, nga bibanyumira, era nga bibaganyula.”—J.M., Amerika.
“Okusobola okulaga mutabani w’omuyizi wange omu owa Baibuli engeri abantu b’edda gye baasomangamu omuzingo, twakuba ekitabo kya Isaaya ku mpapula mu kyapa, naye ng’ennamba z’essuula n’ez’ennyiriri tuziggyemu. Oluvannyuma empapula zonna twaziyunga wamu ne zivaamu olupapula lumu oluwanvu, ne tuluzingirira ku buti bubiri okuva ku buli ludda. Kati olwo omulenzi yagezaako okukola ekyo Yesu kye yakola ng’ali mu kkuŋŋaaniro e Nazaaleesi. Lukka 4:16-21 wagamba nti Yesu ‘yabikkula omuzingo gwa Isaaya, n’atuuka’ ku kitundu kye yali ayagala. (Is. 61:1, 2) Kyokka omulenzi yazibuwalirwa okulaba essuula 61 mu muzingo ogwo olw’okuba ennamba z’essuula n’ez’ennyiriri tezaalimu. Yakiraba nti Yesu ateekwa okuba nga yalina obumanyirivu bwa maanyi mu kubikkula emizingo era yagamba nti: ‘Ee, Yesu ateekwa okuba nga yali mussufu!’”—Y.T., Japan.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Okwegezaamu kiyamba abaana bo okumanya eky’okukola nga bapikirizibwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Fuba okulaba nti abaana bo banyumirwa akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka