Oluyimba 121
Tuzziŋŋanemu Amaanyi
Printed Edition
1. Bwe tuzziŋŋanamu amaanyi
Okuweereza Yakuwa,
Tweyongera okwagalana
N’okuba obumu ffenna.
O kwagala okuli mu ffe
Kutuyamba okunywera.
Ekibiina bwe buddukiro,
Era ffe kye kitukuuma.
2. ’Kigambo ekituukirawo
Ddala kitusanyusa nnyo!
Tuwulira ’bigambo ng’ebyo
Okuva mu b’emikwano.
Kirungi ’kukolera wamu
Ne baganda baffe bonna.
Buli omu azimba munne;
Ffenna ne tuyambagana.
3. Nga bwe lugenda lusembera
Olunaku lwa Yakuwa,
Tulina okukuŋŋaananga
Olwo tuleme kuwaba.
Ffenna ng’abantu ba Yakuwa,
Tuweererezenga wamu.
Ka tuzziŋŋanemu amaanyi,
Tukuume ’bugolokofu.
(Era laba Luk. 22:32; Bik. 14:21, 22; Bag. 6:2; 1 Bas. 5:14.)