Oluyimba 138
Erinnya Lyo Ggwe Yakuwa
Wanula:
Ggwe Katonda omu
Yekka ow’amazima
Nnyini butonde bwonna—
’Linnya lyo Yakuwa.
Twesiimye nnyo ddala
’Kuba nti tuli babo.
Tulangirira wonna,
’Kitiibwa ky’olina.
(CHORUS)
Yakuwa, Yakuwa,
Tewali Katonda
Afaanana ggwe mu ggulu
Oba wano ku nsi.
Ggwe wekka Ayinza Byonna;
Bonna ka bamanye.
Yakuwa, Yakuwa,
Ggwe Katonda waffe wekka.
Otufuula kyonna
Ggwe ky’oba oyagadde,
Tukole by’oyagala—
’Linnya lyo Yakuwa.
Otuwadde ’nkizo
’Kuba ’Bajulirwa bo.
Tukyenyumirizaamu—
Okuba ’bantu bo.
(CHORUS)
Yakuwa, Yakuwa,
Tewali Katonda
Afaanana ggwe mu ggulu
Oba wano ku nsi.
Ggwe wekka Ayinza Byonna;
Bonna ka bamanye.
Yakuwa, Yakuwa,
Ggwe Katonda waffe wekka.
(Era laba 2 Byom. 6:14; Zab. 72:19; Is. 42:8.)