Oluyimba 118
Musembezaganye
Printed Edition
1. Twaniriziddwa mu lukuŋŋaana
’Kuyigirizibwa Yakuwa.
Y’ayigiriza bonna ’mazima;
Tujja gy’ali n’omutima gwaffe gwonna.
2. Twesiimye nnyo ’lwa baganda baffe,
N’essanyu, ’batwaniriza ffe.
Ka tweyongere okubaagala,
Era naffe twanirize abalala.
3. Katonda ky’ayagaliza bonna,
Kwe kutegeera amazima.
Kati ffe tusembezeddwa gy’ali.
Ka tusembezenga ’balala gye tuli.
(Era laba Yok. 6:44; Baf. 2:29; Kub. 22:17.)