OLUYIMBA 110
“Essanyu lya Yakuwa”
1. Ebiriwo biranga ’Bwakabaka.
Tutegeeza ’bantu bonna.
Muyimuse mmwenna emitwe gyammwe;
Tunaater’o kununulwa!
(CHORUS)
’Ssanyu lya Yakuwa kigo kyaffe.
Yimba; kuba emizira.
Sanyukira nnyo essuubi ly’olina
Era tendereza Yakuwa.
’Ssanyu lya Yakuwa kigo kyaffe.
Tumanyise erinnya lye.
N’essanyu lingi, ka tunyiikirire
’Kuweereza Katonda waffe.
2. Mumwesige nnyo Yakuwa Katonda.
Ye wa maanyi; temutyanga.
Muyimuke mwogerere waggulu;
Tumutendereze ffenna!
(CHORUS)
’Ssanyu lya Yakuwa kigo kyaffe.
Yimba; kuba emizira.
Sanyukira nnyo essuubi ly’olina
Era tendereza Yakuwa.
’Ssanyu lya Yakuwa kigo kyaffe.
Tumanyise erinnya lye.
N’essanyu lingi, ka tunyiikirire
’Kuweereza Katonda waffe.
(Laba ne 1 Byom. 16:27; Zab. 112:4; Luk. 21:28; Yok. 8:32.)