OLUYIMBA 15
Tendereza Omwana wa Yakuwa Omubereberye!
Printed Edition
1. Tendereza Yesu
Omwana wa Yakuwa.
Ye Kabaka kaakano;
Afuga na bwenkanya.
Wa kitiibwa, wa ttendo;
Wa kugulumiza
Erinnya lya Yakuwa,
Kuba alyagala.
(CHORUS)
Tendereza Yesu
Omwana wa Katonda.
Yatuuzibwa ku ntebe
Era kati afuga.
2. Tendereza Yesu
Oy’e yatufiirira
Tufune obulamu.
Twasaasirwa Katonda.
Omugole wa Kristo
Ayambadde byeru;
Awundiriddwa bbaawe;
Mbaga ya mu ggulu.
(CHORUS)
Tendereza Yesu
Omwana wa Katonda.
Yatuuzibwa ku ntebe
Era kati afuga.