OLUYIMBA 103
Abasumba Birabo
Printed Edition
	- 1. Yakuwa ’taddewo ’basumba - Balunde ’ndiga ze. - Bafuba nnyo ’kututeerawo - ’Kyokulabirako. - (CHORUS) - Tubataddemu obwesige; - Beesigwa; ba mazima. - Ekisibo bakifaako nnyo; - Tusiime bye bakola. 
- 2. ’Basumba abo batwagala; - Batulumirirwa. - Bwe tubaako n’ekituluma, - Batubudaabuda. - (CHORUS) - Tubataddemu obwesige; - Beesigwa; ba mazima. - Ekisibo bakifaako nnyo; - Tusiime bye bakola. 
- 3. Batuyamba; batuwabula - Tuleme kuwaba - ’Kuva mu kkubo lya Katonda; - Tubeere beesigwa. - (CHORUS) - Tubataddemu obwesige; - Beesigwa; ba mazima. - Ekisibo bakifaako nnyo; - Tusiime bye bakola. 
(Laba ne Is. 32:1, 2; Yer. 3:15; Yok. 21:15-17; Bik. 20:28.)