Abasumba Abateekawo ‘Ekyokulabirako eri Ekisibo’
“Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe . . . , lwa kwagala . . . , nga mubeeranga byakulabirako eri ekisibo.”—1 PEETERO 5:2, 3.
1, 2. (a) Buvunaanyizibwa ki Yesu bwe yawa omutume Peetero era lwaki y’alina ensonga ennungi okumussaamu obwesige? (b) Yakuwa atwala atya abasumba abalondeddwa okulunda ekisibo?
NG’OLUNAKU lwa Pentekoote 33 C.E. lunaatera okutuuka, Peetero n’abayigirizwa abalala mukaaga baali ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya nga balya eky’enkya Yesu kye yali abategekedde. Guno si gwe gwali omulundi gwa Peetero ogusooka okulaba Yesu eyali azuukidde. Awatali kubuusabuusa, ateekwa okuba yasanyuka nnyo bwe yakimanya nti Yesu mulamu. Kyokka, ate ayinza okuba yali mweraliikirivu kubanga mu nnaku ntono emabega yali yeegaana Yesu mu lujjudde. (Lukka 22:55-60; 24:34; Yokaana 18:25-27; 21:1-14) Yesu yanenya Peetero olw’obutaba na kukkiriza? Nedda. Mu kifo ky’ekyo, yamuwa obuvunaanyizibwa obw’okuliisa n’okulunda ‘endiga’ ze. (Yokaana 21:15-17) Ng’ebyafaayo by’ekibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka bwe biraga, Yesu yalina ensonga ennungi okussa obwesige mu Peetero. Ng’akolera wamu n’abatume abalala era n’abakadde abaali e Yerusaalemi, Peetero yalabirira ekisibo mu kiseera ekizibu ennyo era yayamba ekibiina Ekikristaayo okukulaakulana.—Ebikolwa 1:15-26; 2:14; 15:6-9.
2 Mu ngeri y’emu leero, Yakuwa ng’ayitira mu Yesu Kristo alonze abasajja abalina ebisaanyizo okulabirira endiga Ze mu by’omwoyo mu biseera bino ebizibu ennyo mu byafaayo by’omuntu. (Abaefeso 4:11, 12; 2 Timoseewo 3:1) Yakuwa alina ensonga ennungi okusa obwesige mu basumba bano? Emirembe egiriwo mu luganda olw’Ekikristaayo bujulizi obulaga nti alina ensonga ennungi okubassaamu obwesige. Kyo kituufu nti abasumba bano tebatuukiridde nga ne Peetero bwe yali. (Abaggalatiya 2:11-14; Yakobo 3:2) Wadde kiri kityo, Yakuwa abakwasizza obuvunaanyizibwa obw’okulabirira endiga “ze yagula n’omusaayi gw’Omwana we.” (Ebikolwa 20:28, NW) Yakuwa ayagala nnyo abakadde bano, era ayagala baweebwe “ekitiibwa emirundi ebiri.”—1 Timoseewo 5:17.
3. Kiki ekiyamba abasumba ab’eby’omwoyo okulunda ekisibo n’okwagala?
3 Abasumba ab’eby’omwoyo bayinza batya okulunda ekisibo mu ngeri ey’okwagala era ne baba kyakulabirako eri endiga? Okufaananako Peetero n’abakadde ab’omu kyasa ekyasa ekyasooka, abasumba bano beesiga omwoyo gwa Katonda omutukuvu okubayamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. (2 Abakkolinso 4:7) Omwoyo omutukuvu era gubasobozesa okubala ebibala byagwo—okwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, n’okwegendereza. (Abaggalatiya 5:22, 23) Ka twetegereze engeri abasumba gye basobola okussaawo ekyokulabirako mu kwoleka ebibala eby’omwoyo nga balabirira ekisibo kya Katonda.
Mwagale Ekisibo n’Endiga Kinneemu
4, 5. (a) Yakuwa ne Yesu balaga batya okwagala eri ekisibo? (b) Abasumba ab’eby’omwoyo balaga batya okwagala eri ekisibo?
4 Ekibala ky’omwoyo gwa Katonda ekisingira ddala obukulu, kwe kwagala. Yakuwa ayoleka okwagala kwe eri ekisibo kyonna awamu ng’akiwa emmere ey’eby’omwoyo mu bungi. (Isaaya 65:13, 14; Matayo 24:45-47) Takoma ku kuliisa buliisa kisibo, wabula afaayo ku buli ndiga kinneemu. (1 Peetero 5:6, 7) Yesu naye ayagala ekisibo. Yawaayo obulamu bwe okukinunula era buli ndiga agimanyi ‘erinnya.’—Yokaana 10:3, 14-16.
5 Abasumba ab’eby’omwoyo bakoppa Yakuwa ne Yesu. Balaga okwagala eri ekisibo kya Katonda kyonna awamu nga ‘banyiikira okuyigiriza’ ekibiina. Baliisa ekisibo era ne bakikuuma okuyitira mu mboozi ze bawa, era kino kyeyoleka kaati eri bonna. (1 Timoseewo 4:13, 16) Ab’oluganda bano bawaayo ebiseera bingi nga bakola ku biwandiiko by’ekibiina, nga baddamu amabaluwa agaba gaweerezeddwa, nga bakola enteekateeka z’ekibiina, n’ebintu ebirala bingi okusobola okulaba nti enkuŋŋaana z’ekibiina n’emirimu emirala ‘bikolebwa mu ngeri etegekeddwa obulungi.’ (1 Abakkolinso 14:40, NW) Abalala mu kibiina tebamanya biseera byenkana wa ab’oluganda bano bye bamala nga bakola emirimu gino. Emirimu gino ab’oluganda bagikola mu kwagala.—Abaggalatiya 5:13.
6, 7. (a) Kiki ekiyinza okuyamba abasumba okumanya obulungi buli ndiga eri mu kibiina? (b) Lwaki kirungi okubuulirako abakadde ku mbeera yaffe?
6 Abasumba Abakristaayo bafaayo ku buli ndiga eri mu kibiina. (Abafiripi 2:4) Emu ku ngeri abasumba gye bayinza okumanyamu obulungi abo abali mu kibiina, kwe kubuulira nabo. Yesu yabuuliranga n’abagoberezi be, era yakozesanga ebiseera ng’ebyo okubazzaamu amaanyi. (Lukka 8:1) Omusumba omu alina obumanyirivu yagamba nti: “Nkizudde nti, ekintu ekisingira ddala okuyamba abakadde okumanya ab’oluganda n’okubazzaamu amaanyi, kwe kubuulira nabo.” Bw’oba obadde tonnafuna mukisa kubuulirako n’omu ku bakadde, lwaki tokola enteekateeka n’obuulirako naye?
7 Olw’okuba Yesu yalina okwagala, abagoberezi be bwe baasanyukanga, naye yasanyukiranga wamu nabo era bwe baanakuwalanga, naye yanakuwaliranga wamu nabo. Ng’ekyokulabirako, abayigirizwa be 70 bwe baakomawo nga bava okubuulira era nga bonna basanyufu, Yesu naye ‘yasanyuka.’ (Lukka 10:17-21) Ate bwe yalaba Malyamu n’ab’omu maka ge wamu n’emikwano gyabwe nga banakuwavu olw’okufa kwa Lazaro, ‘Yesu yakaaba amaziga.’ (Yokaana 11:33-35) Okufaananako Yesu, n’abasumba b’omu kiseera kino bafaayo nnyo ku ndiga. Olw’okuba balina okwagala nabo ‘basanyukira wamu n’abo abasanyuka’ era ‘bakaabira wamu n’abo abakaaba.’ (Abaruumi 12:15) Bw’oba olina ekikusanyusizza oba ekikunakuwazizza, totya kubuulirako basumba Bakristaayo. Bwe banaawulira ku ebyo ebikusanyusizza, kijja kubazzaamu nnyo amaanyi. (Abaruumi 1:11, 12) Ate bwe banaategeera nti olina ebizibu bajja kukuzzaamu amaanyi.—1 Abasessaloniika 1:6; 3:1-3.
8, 9. (a) Omukadde omu yalaga atya mukyala we okwagala? (b) Lwaki kikulu omusumba okulaga ab’omu maka ge okwagala?
8 Okwagala omusumba kw’alina eri ekisibo kweyolekera mu ngeri gy’ayisaamu ab’omu maka ge. (1 Timoseewo 3:1, 4) Bw’aba mufumbo, ateerawo abaami abalala ekyokulabirako ng’alaga mukyala we okwagala era ng’amuwa ekitiibwa. (Abaefeso 5:25; 1 Peetero 3:7) Weetegereze omukyala Omukristaayo ayitibwa Linda kye yagamba. Omwami we bwe yali tannafa, yamala emyaka egisukka mu 20 ng’aweereza ng’omukadde. Linda agamba bw’ati: “Bulijjo, omwami wange yabanga n’emirimu gy’ekibiina mingi naye yansimanga olw’okumuwagira era yanfissizangayo ebiseera ne tubeerako ffenna. N’ekyavaamu, nnawulira ng’anjagala nnyo era saawuliranga bubi bwe yabanga akola emirimu gy’ekibiina.”
9 Omusumba Omukristaayo bw’aba alina abaana, asobola okuteerawo abazadde abalala ekyokulabirako ekirungi ng’akangavvula abaana be mu ngeri ey’okwagala era ng’abasiima olw’ebyo bye bakola. (Abaefeso 6:4) Bw’alaga ab’omu maka ge okwagala okw’engeri eyo, kiba kyoleka bulungi nti atuukiriza obuvunaanyizibwa obwamuweebwa omwoyo omutukuvu.—1 Timoseewo 3:4, 5.
Tumbula Emirembe n’Essanyu ng’Ossaawo Empuliziganya Ennungi
10. (a) Kiki ekiyinza okumalawo essanyu n’okutabangula emirembe gy’ekibiina? (b) Nsonga ki eyali egenda okutabangula emirembe gy’ekibiina eky’omu kyasa ekyasooka, era yagonjoolebwa etya?
10 Omwoyo omutukuvu gusobola okuyamba Abakristaayo kinnoomu, akakiiko k’abakadde, n’ekibiina kyonna awamu okufuna essanyu n’emirembe. Kyokka, bwe watabaawo mpuliziganya nnungi, kiyinza okumalawo essanyu n’okutabangula emirembe gy’ekibiina. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Awatali magezi okuteesa kufa.” (Engero 15:22) Ku luuyi olulala, bwe wabaawo empuliziganya ennungi, wabaawo essanyu n’emirembe. Ng’ekyokulabirako, ensonga ekwata ku kukomolebwa bwe yali egenda kutabangula emirembe gy’ekibiina eky’omu kyasa ekyasooka, abakadde abaali ku kakiiko akafuzi ak’omu Yerusaalemi baanoonya obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Buli yawa endowooza ye ku nsonga eno, ne bakubaganya ebirowoozo era oluvannyuma ne baatuuka ku kukkaanya. Bwe baabuulira ebibiina ku ekyo kye baali basazeewo, ab’oluganda ‘baasanyuka olw’okubuulirirwa okwo.’ (Ebikolwa 15:6-23, 25, 31; 16:4, 5) Mu ngeri eyo, abakadde baatumbula emirembe n’essanyu mu kibiina.
11. Abakadde basobola kukola ki okutumbula essanyu n’emirembe mu kibiina?
11 Ne leero, abasumba batumbula emirembe n’essanyu mu kibiina nga baba n’empuliziganya ennungi. Bwe wabaawo ebizibu ebiba byagala okutabangula emirembe gy’ekibiina, abakadde batuula buli omu n’awa endowooza ye. Bwe baba bakubaganya ebirowoozo, buli omu awuliriza munne. (Engero 13:10; 18:13) Oluvannyuma lw’okusaba obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, basalawo nga basinziira ku misingi gya Baibuli n’obulagirizi obutuweebwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Matayo 24:45-47; 1 Abakkolinso 4:6) Bwe basalawo nga basinziira ku Byawandiikibwa, buli mukadde agoberera obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu ng’awagira ekiba kisaliddwawo ka kibe nti ekirowoozo kye tekiyiseemu. Bwe booleka obwetoowaze ng’obwo, kiviirako ekibiina okubaamu emirembe n’essanyu, era baba bateereddewo ab’oluganda ekyokulabirako ekirungi ku ngeri gye basobola okutambulamu ne Katonda. (Mikka 6:8) Oyoleka obwetowaaze ng’okkiriza ebiba bisaliddwawo abasumba b’ekibiina?
Beera Mugumiikiriza era wa Kisa
12. Lwaki Yesu kyali kimwetaagisa okwoleka obugumiikiriza n’ekisa ng’akolagana n’abatume be?
12 Wadde abatume baalinanga obunafu obutali bumu, Yesu yabagumiikiriza era n’abalaga ekisa. Ng’ekyokulabirako, emirundi mingi yabalaganga obukulu bw’okuba abeetoowaze. (Matayo 18:1-4; 20:25-27) Kyokka, mu kiro ekyasembayo ng’anaatera okufa, nga yakabayigiriza obwetoowaze ng’abanaaza ebigere, ‘wabalukawo empaka mu bo nti ani ku bo alowoozebwa okuba omukulu.’ (Lukka 22:24; Yokaana 13:1-5) Yesu yabakambuwalira? Nedda. Mu kifo ky’ekyo yayogera nabo mu ngeri ey’ekisa n’abagamba nti: “Omukulu ani, atuula ku mmere, oba aweereza? si oyo atuula ku mmere? Naye nze wakati mu mmwe nninga aweereza.” (Lukka 22:27) Bwe kityo, obugumiikiriza bwa Yesu, ekisa kye, awamu n’ekyokulabirako ekirungi kye yabateerawo, byabaviirako okukyusa mu nneeyisa yaabwe.
13, 14. Okusingira ddala, ddi omusumba lw’alina okuba ow’ekisa?
13 Mu ngeri y’emu, singa ow’oluganda aba n’obunafu obutali bumu, kiyinza okwetaagisa omusumba ow’eby’omwoyo okubuulirira ow’oluganda oyo enfunda n’enfunda. Singa ow’oluganda oyo aba takyusaamu, kino kiyinza okuggya omusumba mu mbeera. Kyokka, omusumba bw’akijjukira nti naye alina obunafu obutali bumu, bw’anaaba ‘anenya atatambula bulungi’ ajja kwoleka obugumiikiriza n’ekisa. Mu ngeri eyo, ajja kuba akoppye Yesu ne Yakuwa abooleka engeri zino eri Abakristaayo bonna nga mw’otwalidde n’abasumba bennyini.—1 Abasessaloniika 5:14; Yakobo 2:13.
14 Ebiseera ebimu, abasumba kiyinza okubeetaagisa okukangavvula omuntu aba akoze ekibi eky’amaanyi. Singa omuntu oyo teyeenenya, abasumba baba balina okumugoba mu kibiina. (1 Abakkolinso 5:11-13) Wadde kiri kityo, engeri gye bamukwatamu erina okulaga nti ye si gwe bakyaye wabula ekibi ky’akoze. (Yuda 23) Abasumba bwe babeera n’ekisa kiyinza okuleetera endiga eba ebuze okudda mu kisibo.—Lukka 15:11-24.
Okukkiriza Kuleetera Omuntu Okukola Ebirungi
15. Engeri emu abasumba gye boolekamu obulungi bwa Yakuwa y’eruwa, era kiki ekibakubiriza okukikola?
15 “Mukama mulungi eri bonna” nga mw’otwalidde n’abo abatasiima by’abakolera. (Zabbuli 145:9; Matayo 5:45) Obulungi bwe okusingira ddala bweyolekera mu kuba nti atuma abantu be okubuulira abalala “amawulire amalungi ag’obwakabaka.” (Matayo 24:14) Abasumba booleka obulungi bwa Katonda nga bawoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira. Kiki ekibaleetera okukola omulimu guno n’obunyiikivu? Okukkiriza okw’amaanyi kwe balina mu Yakuwa n’ebisuubizo kwe kubaleetera okukikola.—Abaruumi 10:10, 13, 14.
16. Abasumba bayinza batya ‘okukolera endiga ebirungi’?
16 Ng’oggyeko ‘okukolera bonna ebirungi’ nga babuulira, abasumba ‘okusingira ddala’ balina obuvunaanyizibwa obw’okukolera “abali mu nnyumba ey’okukkiriza” ebirungi. (Abaggalatiya 6:10) Kino bakikola nga babakyalira okubazzaamu amaanyi. Omukadde omu yagamba nti:“Nyumirwa nnyo okukyalira ab’oluganda. Bwe mbakyalira, kimpa omukisa okubasiima n’okubalaga nti bye bakola bya mugaso nnyo.” Ebiseera ebimu, abasumba bayinza okuwa omuntu amagezi ku ngeri gy’ayinza okulongoosaamu obuweereza bwe eri Yakuwa. Mu kukola kino, abasumba baba bakoppa omutume Pawulo. Weetegereze engeri gye yakubirizaamu ab’oluganda ab’omu Ssesaloniika. Yabagamba nti: “Twesiga Mukama waffe mu bigambo byammwe, nga mukola bye tulagira era munaabikolanga.” (2 Abasessaloniika 3:4) Ebigambo ng’ebyo ebiraga nti omuntu omutaddemu obwesige bisobola okukubiriza ab’oluganda ‘okuwulira abo ababafuga.’ (Abaebbulaniya 13:17) Singa abakadde bakukyalira okukuzzaamu amaanyi, lwaki tobasiima olw’ebiseera bye bawaddeyo?
Okusobola Okuba Omukkakkamu Kyetaagisa Okwefuga
17. Kiki Peetero kye yayigira ku Yesu?
17 Yesu yasigala mukkakkamu ne bwe baamunyizanga. (Matayo 11:29) Ng’ekyokulabirako, bwe baamulyamu olukwe era ne bamukwata, yeefuga n’asigala nga mukkakkamu. Ate ye Peetero, olw’okuba teyasooka kufumiitiriza, yasowolayo ekitala kye n’awoolera eggwanga. Yesu yamubuuza nti: “Olowooza nti ssiyinza kwegayirira Kitange, naye n’ampeereza kaakano bamalayika okusinga liigyoni ekkumi n’ebbiri?” (Matayo 26:51-53; Yokaana 18:10) Peetero yafunamu eky’okuyiga era oluvannyuma yajjukiza Bakristaayo banne nti: “Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng’abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye . . . bwe yavumibwa, ataavuma nate; bwe yabonyaabonyezebwa, ataakanga.”—1 Peetero 2:21-23.
18, 19. (a) Okusingira ddala, ddi abasumba lwe balina okwoleka obwetoowaze n’okwefuga? (b) Bibuuzo ki bye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
18 Mu ngeri y’emu, abasumba abalungi nabo basigala nga bakkakkamu ne bwe baba bayisiddwa bubi. Ng’ekyokulabirako, bayinza okugezaako okuyamba omuntu naye n’atabawuliriza. Singa omuntu aba mulwadde mu by’omwoyo, ayinza ‘okwogera ng’ayanguyiriza ng’okufumita okw’ekitala.’ (Engero 12:18) Kyokka, okufaananako Yesu, abasumba nabo tebawolera ggwanga nga bakozesa ebigambo ebisongovu oba okukola ekintu kyonna olw’okwesasuza. Mu kifo ky’ekyo, beefuga ne basigala nga balumirirwa omuntu oyo, ekiyinza okumuyamba okuwuliriza singa baddamu okumukyalira. (1 Peetero 3:8, 9) Naawe okoppa ekyokulabirako ky’abakadde n’oba mukkakkamu era ne weefuga bwe bakubuulirira?
19 Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ne Yesu basiima nnyo omulimu ogukolebwa enkumi n’enkumi z’abasumba okwetooloola ensi. Ate era, basiima nnyo enkumi n’enkumi z’abaweereza abayamba ku bakadde mu ‘kuweereza abatukuvu.’ (Abaebbulaniya 6:10) Naye, lwaki ab’oluganda abamu ababatize balonzalonza okuluubirira enkizo eno ey’okukola ‘omulimu guno omulungi’? (1 Timoseewo 3:1) Yakuwa atendeka atya abo b’alonda okuweereza ng’abasumba? Ebibuuzo bino tujja kubyekenneenya mu kitundu ekiddako.
Ojjukira?
• Mu ngeri ki abakadde gye balagamu okwagala eri ekisibo?
• Abo abali mu kibiina bayinza batya okutumbula emirembe n’essanyu?
• Lwaki abasumba basaanidde okwoleka obugumiikiriza n’ekisa nga babuulirira ab’oluganda?
• Abakadde bayinza batya okwoleka okukkiriza n’obulungi?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 19]
Okwagala kwe kukubiriza abakadde okulabira ekibiina
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 19]
Ate era bafissaawo ebiseera ne bagendera wamu n’ab’omu maka gaabwe okwesanyusaamu . . .
. . . n’okubuulira
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Abakadde bwe babeera n’empuliziganya ennungi, baba basobola okutumbula emirembe n’essanyu mu kibiina