OLUYIMBA 68
Okusiga Ensigo y’Obwakabaka
Printed Edition
1. Mujje tukole omulimu
Gwa Mukama waffe Yesu.
Guno ’mulimu gwa kusiga
Ensigo y’Obwakabaka.
Omutima gw’omuntu bwe guba
Mulungi ’nsigo ekula.
Kal’o mulimu gwa Mukama waffe
Gukolenga n’obunyiikivu.
2. Bonna b’otuusaako ’bubaka
Beetaaga obuyambi bwo
Okusobola okuyiga
N’okwagala amazima.
Bafengako nnyo; baddiŋŋanenga
Basobole okunywera.
Ojja kusanyuk’o kulab’e nsigo
Ezo nga zigenda zimera.
(Laba ne Mat. 13:19-23; 22:37.)