OLUYIMBA 143
Weeyongere Okulindirira n’Obugumiikiriza
Printed Edition
1. Katonda akuum’o budde,
Erinnya lye ye Yakuwa.
Ekiseera kisembedde
Atukuze ’linnya lye.
(CHORUS)
Weeyongere okulindirira
’Bulamu obutaggwaawo
Yakuwa bw’asuubiza.
2. Ekiseera kiri kumpi
Omwana we awangule,
Era ’saanyizeewo ddala
Abalabe be bonna.
(CHORUS)
Weeyongere okulindirira
’Bulamu obutaggwaawo
Yakuwa bw’asuubiza.
3. Wadde tuli mu bulumi,
Tulindirira n’essanyu
Olunaku lwa Yakuwa
Lwe tunaanunulibwa.
(CHORUS)
Weeyongere okulindirira
’Bulamu obutaggwaawo
Yakuwa bw’asuubiza.
(Laba ne Mat. 25:13; Luk. 12:36.)