OLUYIMBA 30
Kitange, Katonda Wange era Mukwano Gwange
Printed Edition
	- 1. Obulamu si bwangu. - Ensi eno ejjudde ’nnaku. - Naye nga bwo obwange - Si bwa butaliimu. - (CHORUS) - Katonda ajjukira - Okwagala kwe njolesezza. - Andi ku lusegere, - N’olwekyo nze siri nzekka. - Yakuwa ye Kitange, - Katonda wange ankuuma nze. - Yee, Yakuwa ye Mukwano - Gwange ddala. 
- 2. Sikyali muvubuka; - ’Biseera ebibi bituuse. - Naye essuubi lyange - Linywevu nnyo ddala. - (CHORUS) - Katonda ajjukira - Okwagala kwe njolesezza. - Andi ku lusegere, - N’olwekyo nze siri nzekka. - Yakuwa ye Kitange, - Katonda wange ankuuma nze. - Yee, Yakuwa ye Mukwano - Gwange ddala. 
(Laba ne Zab. 71:17, 18.)