Oluyimba 43
Tunula, Yimirira Butengerera, Weeyongere Amaanyi
Printed Edition
	1. Tunula, beera wa maanyi,
Era gumiikiriza.
Yolekanga obuvumu,
Obuwanguzi bujja.
Yesu ffenna gwe tugondera,
Era ye gwe tugoberera.
(CHORUS)
Tunula, beeranga wa maanyi!
Totendewalirwanga!
2. Tunula, ba bulindaala,
Beeranga muwulize.
’Bulagirizi bwa Kristo,
Buyita mu muddu we.
Wulirizanga abakadde;
Balabirira endiga ze.
(CHORUS)
Tunula, beeranga wa maanyi!
Totendewalirwanga!
3. Tunula, kuuma obumu.
Tulwanirire ’njiri;
Balabe bagirwanyisa.
Tetuggwangamu maanyi.
Naawe langiriranga wonna.
’Lunaku lwa Yakuwa lujja!
(CHORUS)
Tunula, beeranga wa maanyi!
Totendewalirwanga!
(Era laba Mat. 24:13; Beb. 13:7, 17; 1 Peet. 5:8.)