Oluyimba 52
Kuumanga Omutima Gwo
Printed Edition
1. Kuumanga omutima gwo;
Weesambe ekibi.
Katonda ’laba ebiri
Munda mu mutima.
Omutima gusobola
Okutulimba ffe.
Gukuume onywerere ku
Kkubo lya Yakuwa.
2. Tegeka omutima gwo,
Ng’osaba Katonda.
Mwebaze, mutendereze;
Mutegeeze byonna.
Yakuwa by’atulagira
Tubikolereko,
’Mutima gwaffe gunywere;
Tumusanyusenga.
3. Weewale ’ndowooza embi;
Ssa ’ssira ku nnungi.
Ekigambo kya Katonda,
Kikuluŋŋamyenga.
Abantu be abeesigwa,
Yakuwa ’baagala.
Musinzenga mu bwesimbu
Emirembe gyonna.
(Era laba Zab. 34:1; Baf. 4:8; 1 Peet. 3:4.)