Okukola Erinnya Eddungi mu Maaso ga Katonda
Printed Edition
1. Buli lunaku, Twagal’o kukola
’Linnya eddungi ’Maaso ga Katonda.
Yakuwa by’asiima Bwe tubikola ffe,
Tusanyusa nnyo ’Mutima gwe.
2. Okwekolera Erinnya mu nsi eno,
’Kuganja gy’eri, N’okusiimibwa yo
Buba butaliimu. Bwe tutagyesamba,
Katonda waffe Tatusiima.
3. Erinnya lyaffe Twagala libeere
Mu kitabo kye Emirembe gyonna.
Era ye mwesigwa; Ka tumuweereze
’Linnya eddungi Tulikole.
(Era laba Lub. 11:4; Nge. 22:1; Mal. 3:16; Kub. 20:15.)