Oluyimba 123
Abasumba—Birabo mu Bantu
Printed Edition
1. Yakuwa ’taddewo ’basumba,
Balunde ’ndiga ze.
Tulabira ku bo ne tuba
N’obukulembeze.
(CHORUS)
Tubataddemu obwesige,
Beesigwa; ba mazima.
Ekisibo bakifaako nnyo;
Tusiime bye bakola.
2. ’Basumba abo batwagala;
Batulumirirwa.
Bwe tubaako n’ekituluma,
Batubudaabuda.
(CHORUS)
Tubataddemu obwesige,
Beesigwa; ba mazima.
Ekisibo bakifaako nnyo;
Tusiime bye bakola.
3. Batuyamba; batuwabula
Tuleme kuwaba,
’Kuva mu kkubo lya Katonda;
Tubeere beesigwa.
(CHORUS)
Tubataddemu obwesige,
Beesigwa; ba mazima.
Ekisibo bakifaako nnyo;
Tusiime bye bakola.
(Era laba Is. 32:1, 2; Yer. 3:15; Yok. 21:15-17; Bik. 20:28.)