Oluyimba 135
Okugumiikiriza Okutuuka ku Nkomerero
Printed Edition
1. Ekigambo kya Katonda
Kitugumya ffenna.
Ebyo byonna bye wayiga
Bikakafu nnyo ddala.
Olunaku lwa Yakuwa
Lulowoozengako nnyo.
Sigala ng’oli munywevu;
Kuuma obwesigwa bwo.
2. Kuuma nnyo okwagala kwo,
Kuleme ’kkendeera.
Bw’ofunanga ebigezo,
Ba mugumiikiriza.
Ka bibeere bya ngeri ki,
Toterebukanga ggwe.
Yakuwa anaakuyamba,
Ali kumpi nnyo naawe.
3. Abagumiikiriza be
Balirokolebwa.
Mu kitabo ky’obulamu
Bo mwe bawandiikiddwa.
Okugumiikiriza kwo,
Kweyongere mu maaso.
Yakuwa ajja kkusiima,
Libe lingi ’ssanyu lyo.
(Era laba Beb. 6:19; Yak. 1:4; 2 Peet. 3:12; Kub. 2:4.)