Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Nekkemiya
KATI wayise emyaka 12 kasookedde ebyo ebisembayo okwogerwako mu kitabo kya Ezera bibaawo. Ekiseera kinaatera okutuuka “[Ekiragiro kiweebwe] okuzzaawo n’okuzimba Yerusaalemi.” Ekiragiro ekyo bwe kyandiyisiddwa, ye yandibadde entandikwa ya wiiki 70 ez’emyaka ezitutuusa ku Masiya. (Danyeri 9:24-27) Ekitabo kya Nekkemiya kyogera ku byafaayo by’abantu ba Katonda nga mw’otwalidde n’ebikwata ku kuzimbibwa kwa bbugwe wa Yerusaalemi. Ebikirimu byaliwo mu bbanga lya myaka egisukka mu 12 okuva mu 456 B.C.E. okutuuka mu 443 B.C.E.
Ekitabo kino kyawandiikibwa Gavana Nekkemiya. Kyogera ku ngeri okusinza okw’amazima gye kwagulumizibwamu abantu bwe baalaga obumalirivu, era ne bassa obwesige mu Yakuwa Katonda. Kiraga engeri Yakuwa gy’ayinza okubaako ky’akolawo okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye. Ate era kyogera ku mukulembeze eyali omuvumu. Ekitabo kya Nekkemiya kirimu eby’okuyiga eri abaweereza ba Katonda abaliwo leero “kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi.”—Abaebbulaniya 4:12.
‘BBUGWE AMALIRIZIBWA’
Nekkemiya ali mu lubiri lw’e Susani era akola ng’omusenero wa Kabaka Alutagizerugizi Longimanusi. Ng’ali eyo, afuna amawulire nti baganda be ‘bali mu nnaku nnyingi n’okuvumibwa: era buggwe wa Yerusaalemi amenyesemenyese, n’emiryango gyakyo gyokeddwa omuliro.’ Ekyo kimunakuwaza nnyo era asaba Katonda amuyambe alabe engeri gy’anaayambamu baganda be abo. (Nekkemiya 1:3, 4) Kabaka alaba nti Nekkemiya munakuwavu. Bw’ategeera ensonga emunakuwazizza, amukkiriza okugenda e Yerusaalemi.
Bw’atuuka mu Yerusaalemi, Nekkemiya agenda mu kiro n’alambula bbugwe waakyo. Oluvannyuma abuulira Abayudaaya ku kigendererwa kye eky’okuddamu okuzimba bbugwe oyo. Bwe batandika omulimu gw’okuzimba, abalabe baabwe batandika okubaziyiza. Wadde kiri kityo, Nekkemiya agumya abantu era ‘bbugwe aggwa okuzimbibwa.’—Nekkemiya 6:15.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:1; 2:1—Ennyiriri zino zombi bwe zoogera ku “mwaka ogw’amakumi abiri” ziba zoogera ku kiseera kye kimu? Yee. Ennyiriri zino zombi zoogera ku mwaka gw’obufuzi bwa kabaka Alutagizerugizi ogw’abiri. Kyokka, engeri gye baabalamu okutuuka ku mwaka ogwo ye y’enjawulo. Ebyafaayo biraga nti Alutagizerugizi yatandika okufuga mu 475 B.C.E. Olw’okuba Abababulooni baabalanga emyaka gy’obufuzi bwa bakabaka Abaperusi nga batandikira mu mwezi gwa Nisani (wakati wa Maaki ne Apuli ku kalenda yaffe) okutuuka ku Nisani w’omwaka oguddako, kino kitegeeza nti Alutagizerugizi yatandika okufuga mu Nisani wa 474 B.C.E. Bwe kityo, omwaka gw’obufuzi bwe ogw’abiri ogwogerwako mu Nekkemiya 2:1 gwatandika mu Nisani 455 B.C.E. Omwezi gwa Kisulevu (wakati wa Noovemba ne Ddesemba ku kalenda yaffe) ogwogerwako mu Nekkemiya 1:1 gwali gwa 456 B.C.E. Kyokka, mu lunyiriri olwo Nekkemiya agamba nti mu omwezi ogwo Alutagizerugizi yali awezezza emyaka abiri ng’afuga nga kabaka. Mu kwogera bw’atyo, oboolyawo yali abala okuva mu mwaka kabaka oyo lwe yatuuzibwa ku ntebe. Ate era Nekkemiya ayinza okuba yakozesa embala y’Abayudaaya abaliwo mu kiseera kino ng’atandikira mu mwezi gwa Tishri, nga kino kye kiseera wakati wa Ssebutemba ne Okitobba ku kalenda yaffe. Kye tumanyi kiri nti, ekiragiro eky’okuddamu okuzimba Yerusaalemi kyayisibwa mu 455 B.C.E.
4:17, 18—Abantu baasobola batya okuzimbisa omukono ogumu? Kino tekyali kizibu n’akamu eri abeetissi b’emigugu. Bwe beetikanga omugugu ku mutwe oba ku kibegabega, omukono gumu gwali gusobola okuguwanirira ate “ogw’okubiri nga gukutte eky’okulwanyisa.” Olw’okuba abazimbi kyali kibeetaagisa okukozesa emikono gyombi, ‘buli muntu ekitala kye kyali kisibiddwa mu kiwato kye ng’azimba.’ Bonna baali beetegefu okwerwanako singa wabaawo omulabe abalumbye.
5:7—Mu ngeri ki Nekkemiya gye ‘yayomba n’abakungu n’abakulu’? Abakungu abo bwe baawolanga Bayudaaya bannaabwe ssente oba ekintu ekirala kyonna, baabasabanga amagoba, ekintu ekyali kimenya Amateeka ga Musa. (Eby’Abaleevi 25:36; Ekyamateeka 23:19) Ng’oggyeko ekyo, amagoba ge baasabanga gaali mangi nnyo. Singa ‘ekitundu eky’ekikumi’ eky’ebintu bye baabawolanga baakisabanga buli mwezi, omwaka we gwandigwereddeko bandibadde babafunyemu amagoba ga bitundu 12 ku buli kikumi. (Nekkemiya 5:11) Tekyali kikolwa kya kisa okusaba baganda baabwe amagoba ago gonna kubanga baalina okusasula emisolo mingi ate nga waliwo n’ebbula ly’emmere. Nekkemiya yayomba n’abagagga mu ngeri nti yakozesa Amateeka ga Katonda n’abalaga nti kye baali bakola kyali kikyamu.
6:5—Bwe kiba nti ebbaluwa ezaalingamu ebyama baaziteekanga mu bbaasa, lwaki ate Sanubalaati yaweereza Nekkemiya ebbaluwa “etezingiddwa” mu bbaasa? Olw’okuba ebbaluwa eyo yalimu emisango egyali gijwetekeddwa ku Nekkemiya, kirabika Sanubalaati yayagala abantu bonna bagisome basobole okulaba obubi bwa Nekkemiya. Oboolyawo, ayinza okuba yalowooza nti bw’anaakola bw’atyo, Nekkemiya ajja kuva mu mbeera ave ku mulimu gw’okuzimba agende yeewozeeko. Ate era Sanubalaati ayinza okuba yalowooza nti ebyali mu bbaluwa byandireetedde Abayudaaya okulekera awo okuzimba. Wadde kyali kityo, Nekkemiya teyatya wabula yeeyongera okukola omulimu Katonda gwe yali amuwadde.
Bye Tuyigamu:
1:4; 2:4; 4:4, 5. Bwe tuba n’ekizibu eky’amaanyi oba nga twolekaganye n’okusalawo okw’amaanyi, tusaanidde ‘okunyiikirira okusaba’ n’okukolera ku bulagirizi bwe tufuna mu Kigambo kya Katonda n’obwo bwe tufuna okuyitira mu kibiina kye.—Abaruumi 12:12.
1:11–2:8; 4:4, 5, 15, 16; 6:16. Yakuwa addamu okusaba kw’abaweereza be singa kuba kuviira ddala ku mutima.—Zabbuli 86:6, 7.
1:4; 4:19, 20; 6:3, 15. Ng’oggyeko okuba nti Nekkemiya yali musajja wa kisa, yatuteerawo eky’okulabirako ekirungi kubanga yanywerera ku misingi egy’obutuukirivu.
1:11–2:3. Eky’okuba nti Nekkemiya yali akola ng’omusenero wa kabaka, si kye kyamuleetera essanyu. Essanyu lye lyali mu kulaba ng’okusinza okw’amazima kugenda mu maaso. Naffe tetwandifunye ssanyu mu kuweereza Yakuwa n’okwenyigira mu mirimu egitumbula okusinza okw’amazima?
2:4-8. Yakuwa yaleetera Alutagizerugizi okuwa Nekkemiya olukusa okugenda e Yerusaalemi asobole okuddamu okuzimba bbugwe waakyo. Kino kyatuukiriza ebigambo ebiri mu Engero 21:1 awagamba nti: “Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng’emigga. Agukyusa gy’ayagala yonna.”
3:5, 27. Tetusaanidde kukitwala nti emirimu gy’emikono egikolebwa okuwagira okusinza okw’amazima gya wansi, nga “abakungu” b’Abatekowa bwe baakola. Mu kifo ky’okuba n’endowooza ng’eyo tusaanidde okukoppa Abatekowa abataali bakungu abaakola emirimu egyo n’amaanyi gaabwe gonna.
3:10, 23, 28-30. Wadde ng’abamu baasobola okugenda mu bitundu eby’ewala awali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingako, bangi ku ffe tuwagira omulimu gw’Obwakabaka nga tusinziira mu bitundu gye tubeera. Kino tukikola nga twenyigira mu mirimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, nga tuyamba ababa batuukiddwako obutyabaga, n’okusingira ddala, nga tubuulira amawulire g’Obwakabaka.
4:14. Naffe bwe tuba twolekaganye n’okuziyizibwa, ekiyinza okutuyamba okuggwaamu okutya kwe kujjukira nti Katonda ‘mukulu era wa ntiisa.’
5:14-19. Gavana Nekkemiya yateerawo abakadde b’omu kibiina Ekikristaayo ekyokulabirako ekirungi kubanga yali mwetoowaze, teyeerowoozaako era yakwatanga ensonga mu ngeri ey’amagezi. Wadde yafubanga nnyo okulaba ng’abantu bakwata Amateeka ga Katonda, teyakozesa bubi buyinza bwe. Mu kifo ky’ekyo yafaangayo ku baavu n’abo abaanyigirizibwanga. Mu kukola kino, Nekkemiya yateerawo abantu ba Katonda bonna ekyokulabirako ekirungi.
“ONJIJUKIRANGA, AI KATONDA WANGE, OKUNKOLA OBULUNGI”
Amangu ddala nga bbuggwe wa Yerusaalemi awedde okuzimbibwa, Nekkemiya ateekako enzigi n’abakuumi. Oluvannyuma akola enkalala eziraga ennyiriri z’obuzaale bw’abantu. Ng’abantu bonna bakuŋŋaanidde mu “kifo ekigazi ekyayolekera omulyango ogw’amazzi,” kabona Ezera asoma ekitabo ky’Amateeka ga Musa era Nekkemiya n’Abaleevi bannyonnyola abantu amakulu agali mu Mateeka ago. (Nekkemiya 8:1) Abantu bwe bakitegeera nti balina okukwata Embaga ey’Ensiisira, bakola ensiisira era ne bakwata embaga eyo.
Oluvannyuma lw’ekyo, Abaisiraeri baddamu okukuŋŋaana okukwata embaga endala. Ku mbaga eyo, “ezzadde lya Isiraeri” baatula ebibi byabwe, Abaleevi ne babajjukiza engeri Katonda gy’abadde akolaganamu n’abo okuviira ddala emabega, era abantu beeyama “okutambuliranga mu mateeka ga Katonda.” (Nekkemiya 9:1, 2; 10:29) Olw’okuba mu Yerusaalemi mulimu abantu batono, bakuba akalulu okulonda omusajja omu ku buli basajja kkumi ababeera ebweru w’ekibuga, agende abeera mu kibuga. Ng’ekyo kiwedde, bawaayo buggwe wa Yerusaalemi nga bajaganya era “essanyu ery’e Yerusaalemi n’okuwulirwa ne liwulirirwa wala.” (Nekkemiya 12:43) Ng’amaze emyaka 12 mu Yerusaalemi, Nekkemiya addayo mu lubiri okuweereza kabaka Alutagizerugizi. Wayita akaseera katono Abayudaaya ne baddamu okwenyigira mu bikolwa ebikyamu. Nekkemiya bw’akomawo mu Yerusaalemi, abaako ky’akolawo okusobola okulongoosa embeera. Asaba Katonda ng’agamba nti: “Onjijukiranga, ai Katonda wange, okunkola obulungi.”—Nekkemiya 13:31.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
7:6-67—Lwaki olukalala lwa Nekkemiya olulaga emiwendo gy’abantu aba buli nnyumba abaddayo mu Yerusaalemi ne Zerubbaberi lwa njawulo ku lwa Ezera? (Ezera 2:1-65) Ekiyinza okuba nga kye kyaviirako enkalala zino okwawukana kwe kuba nti, ebyo Ezera ne Nekkemiya bye baawandiika baabikoppolola mu nkalala za njawulo. Ng’ekyokulabirako, abamu ku abo abeewandiisa okuddayo mu Yerusaalemi tebaddayo. Ate era ekiyinza okuba nga kye kyaviirako enkalala ezo okwawukana, kwe kuba nti omu we yawandiikira Abayudaaya abamu baali tebamanyi nnyiriri za buzaale bwabwe, ate omulala we yawandiikira baali bazitegedde. Kyokka, enkalala zino zombi zirina ekintu kimu kye zifaanaganya: Zombi ziraga nti abo abaddayo baali 42,360, nga tobaliddeko baddu n’abayimbi.
10:34—Lwaki abantu baagambibwa okuleetanga enku? Mu Mateeka ga Musa temwalimu tteeka liragira kuwaayo nku. Wadde kyali kityo, eteeka eryo lyateekebwawo olw’obwetaavu obwaliwo. Baali beetaaga enku nnyingi okusobola okwokya ebiweebwayo ebyateekebwanga ku kyoto. Kirabika n’Abanesinimu, nga be bantu abataali Baisiraeri abaalinanga okuleeta enku baali batono. Bwe kityo, baakuba akalulu basobole okufunayo abantu abalala abanaaleetanga enku.
13:6—Nekkemiya yali amaze bbanga ki nga tali mu Yerusaalemi? Baibuli ky’etubuulira kyokka kiri nti, Nekkemiya we yagendera ewa kabaka okumusaba addeyo e Yerusaalemi, waali “wayiseewo ennaku” nga taliiyo. N’olwekyo, si kyangu kumanya banga ki Nekkemiya lye yali amaze nga tali mu Yerusaalemi. Bwe yatuuka e Yerusaalemi, yasanga bakabona tebakyakola bulungi mirimu gyabwe era ng’abantu tebakyakwata Ssabbiiti. Bangi baali bawasizza abakazi ab’amawanga era nga n’abaana be babazaddemu tebamanyi lulimi lw’Abayudaaya. Olw’okuba embeera yali eyonoonese nnyo bw’etyo, kiraga nti Nekkemiya ateekwa okuba yali amaze ebbanga ddene nga tali mu Yerusaalemi.
13:25, 28—Ng’oggyeko ‘okubawakanya’ kiki ekirala Nekkemiya kye yakola okusobola okutereeza Abayudaaya abaali boonoonese? Nekkemiya ‘yabakolimira’ mu ngeri nti yabalaga ebibonerezo bye bandifunye okusinziira ku Mateeka ga Katonda. Ate era ‘yakubako abamu,’ oboolyawo ng’ekyo kye kibonerezo kye yabawa. Okusobola okulaga nti kye baali bakoze kyali kimunyizizza nnyo, ‘yabakuunyuula enviiri.’ Oluvannyuma n’agoba muzukulu wa Eriyasibu wa Kabona Asinga Obukulu olw’okuba yali awasizza muwala wa Sanubalaati Omukoloni.
Bye Tuyigamu:
8:8. Ng’ababuulizi b’Ekigambo kya Katonda, ‘tuleeta amakulu’ mu Byawandiikibwa nga tubisoma bulungi, nga tubiggumiza, nga tubinnyonnyola era nga tulaga abantu engeri gye bayinza okubikozesaamu mu bulamu bwabwe.
8:10. Okusobola okufuna “essanyu lya Mukama,” tuba tulina okufaayo ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo, n’okugoberera obulagirizi obuva eri Katonda. N’olwekyo kiba kikulu nnyo okunyiikirira okusoma Baibuli, okubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, n’okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira amawulire g’Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa.
11:2. Kyali kyetaagisa okwerekereza, omuntu okuva ku butaka n’agenda okubeera mu Yerusaalemi. Abo abakkiriza okugenda baalaga omwoyo gw’okwerekereza. Naffe tusobola okulaga omwoyo gwe gumu singa wabaawo obwetaavu obw’okukola nga bannakyewa gamba nga ku nkuŋŋaana ennene n’awalala wonna.
12:31, 38, 40-42. Okuyimba y’emu ku ngeri gye tuyinza okutenderezaamu Yakuwa n’okumusiima. N’olwekyo, kiba kirungi ne tuyimba n’omutima gwaffe gwonna nga tuli mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo.
13:4-31. Tuteekwa okwewala omwoyo gw’okwagala ebintu, empisa embi n’okusinza okw’obulimba.
13:22. Nekkemiya yali akimanyi bulungi nti avunaanyizibwa eri Katonda mu buli ky’akola. Naffe tusaanidde okukijjukiranga nti tuvunaanyizibwa eri Yakuwa mu buli kye tukola.
Twetaaga Obuwagizi bwa Yakuwa
Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Mukama bw’atazimba nnyumba, abagizimba bakolera bwereere.” (Zabbuli 127:1) Ng’ekitabo kya Nekkemiya kiraga bulungi obutuufu bw’ebigambo ebyo!
Kye tuyigamu kiri nti, okusobola okutuuka ku buwanguzi mu buli kimu, twetaaga obuwagizi bwa Yakuwa. Naye, Yakuwa ayinza okutuwa obuwagizi bwe nga tetukulembezza kusinza kwa mazima? Okufaananako Nekkemiya, naffe ka tuteeke okusinza Yakuwa mu kifo ekisooka.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
“Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng’emigga”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Nekkemiya—omusajja ow’ekisa—akomawo e Yerusaalemi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 30, 31]
Omanyi engeri gy’oyinza ‘okuleeta amakulu’ mu Kigambo kya Katonda?