Kristo, Ekyokulabirako Kyaffe
Printed Edition
	1. Mazima Katonda
Waffe wa kwagala,
Yawaayo ’Mwana we ku lw’abantu.
Kristo n’aba mmere,
Ffenna tuliisibwe,
Tulyoke tufune obulamu.
2. Yatuyigiriza,
Ffe okusabanga,
Linnya Yakuwa litukuzibwe.
Era tusabenga
’Bwakabaka bujje.
N’emmere ya leero tugisabe.
3. Amazima gonna
Yagayigiriza
N’abudaabuda nnyo endiga ze.
Ka tusige ’nsigo
Ez’Obwakabaka.
Tujja kufuna essanyu lingi.
(Era laba Mat. 6:9-11; Yok. 3:16; 6:31-51; Bef. 5:2.)