ESSOMO 2
Katonda y’Ani?
1. Lwaki tusaanidde okusinza Katonda?
Katonda ow’amazima ye yatonda ebintu byonna. Talina ntandikwa wadde enkomerero. (Zabbuli 90:2) Ye nsibuko y’amawulire amalungi agali mu Bayibuli. (1 Timoseewo 1:11) Olw’okuba Katonda ye yatuwa obulamu, ye yekka gwe tusaanidde okusinza.—Soma Okubikkulirwa 4:11.
2. Engeri za Katonda ze ziruwa?
Tewali muntu eyali alabye Katonda kubanga Katonda Mwoyo era asinga ebitonde byonna ebiri ku nsi. (Yokaana 1:18; 4:24) Naye tusobola okutegeera ebimukwatako bwe tutunuulira ebintu bye yatonda. Okugeza, ebibala n’ebimuli eby’enjawulo biraga nti alina okwagala n’amagezi. Ebintu ebingi ennyo bye yatonda mu bwengula biraga nti wa maanyi.—Soma Abaruumi 1:20.
Tusobola okuyiga ebirala ebikwata ku Katonda nga tusoma Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli etubuulira ebyo Katonda by’ayagala n’ebyo by’atayagala. Etutegeeza engeri gy’ayisaamu abantu, ne gy’akwatamu ensonga mu mbeera ezitali zimu.—Soma Zabbuli 103:7-10.
3. Katonda alina erinnya?
Yesu yagamba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.” (Matayo 6:9) Wadde nga Katonda alina ebitiibwa bingi, alina erinnya limu lyokka. Mu buli lulimi lyatulwa mu ngeri ya njawulo. Mu Luganda ye “Yakuwa.”—Soma Zabbuli 83:18.
Mu Bayibuli ezisinga obungi erinnya lya Katonda lyaggibwamu era mu kifo kyalyo ne muteekebwamu ebitiibwa Mukama oba Katonda. Naye Bayibuli bwe yawandiikibwa erinnya lya Katonda lyalimu emirundi nga 7,000. Yesu yategeeza abantu erinnya lya Katonda bwe yali abayigiriza ebikwata ku Katonda.—Soma Yokaana 17:26.
Laba vidiyo Katonda Alina Erinnya?
4. Yakuwa atufaako?
Nga taata ono bw’afaayo, Katonda naye ayagala tuganyulwe emirembe gyonna
Okubonaabona okungi okuliwo leero kulaga nti Yakuwa Katonda tatufaako? Abantu abamu bagamba nti Katonda atuleetera okubonaabona asobole okutugezesa, naye ekyo si kituufu.—Soma Yakobo 1:13.
Katonda yawa abantu eddembe ery’okwesalirawo. Tetuli basanyufu okukimanya nti Katonda yatuwa eddembe okwesalirawo okumuweereza? (Yoswa 24:15) Naye abantu bangi bakola bannaabwe ebintu ebibi ne kiviirako abantu okubonaabona. Yakuwa anakuwala nnyo bw’alaba abantu nga bakola bannaabwe ebintu ebibi.—Soma Olubereberye 6:5, 6.
Yakuwa Katonda atufaako nnyo. Ayagala tunyumirwe obulamu. Mu kiseera ekitali kya wala ajja kuggyawo okubonaabona kwonna n’abo abakuleeta. Naye ng’ekyo tannakikola, waliwo ensonga lwaki akyaleseewo okubonaabona okumala akaseera. Mu Ssomo 8, tujja kumanya ensonga eyo.—Soma 2 Peetero 2:9; 3:7, 13.
5. Tuyinza tutya okweyongera okusemberera Katonda?
Yakuwa ayagala tumusemberere nga twogera naye okuyitira mu kusaba. Atufaako kinnoomu. (Zabbuli 65:2; 145:18) Mwetegefu okusonyiwa. Akiraba nga tufuba okumusanyusa wadde ng’oluusi tulemererwa. N’olwekyo, wadde nga tetutuukiridde, tusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.—Soma Zabbuli 103:12-14; Yakobo 4:8.
Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye yatuwa obulamu, tusaanidde okumwagala okusinga bwe twagala omuntu omulala yenna. (Makko 12:30) Ojja kweyongera okusemberera Katonda ng’oyiga ebisingawo ebimukwatako era ng’okola by’ayagala.—Soma 1 Timoseewo 2:4; 1 Yokaana 5:3.