EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 11-15
Yobu Yali Akkiririza mu Kuzuukira
Yobu yali akkiriza nti Katonda asobola okumuzuukiza
Yobu yakozesa ekyokulabirako ky’omuti, oboolyawo omuzeyituuni, okulaga nti yali mukakafu nti Katonda asobola okumuzuukiza
Omuzeyituuni gulina emirandira mingi era gusobola okuddamu okuloka emirandira gyagwo bwe giba gikyali miramu
Ekyeya ne bwe kiba kiwanvu nnyo ne kikaza ekikolo ky’omuzeyituuni, enkuba bw’etonnya emirandira gyagwo gisobola okuloka “ne gussaako amatabi ng’ekimera ekiggya”