LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 41 lup. 226-lup. 229 kat. 1
  • Ebitegeerekeka eri Abalala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebitegeerekeka eri Abalala
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Ebitegeerekeka eri Abalala
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Ebiganyula Abakuwuliriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okutegeka Emboozi ya Bonna
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Yigiriza mu Ngeri Ennyangu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 41 lup. 226-lup. 229 kat. 1

ESSOMO 41

Ebitegeerekeka eri Abalala

Kiki ky’osaanidde okukola?

Yogera mu ngeri eneesobozesa abakuwuliriza okutegeera obulungi by’oyogera.

Lwaki Kikulu?

By’oyogera bwe biba nga byangu okutegeera, abakuwuliriza bajja kubiganyulwamu nnyo.

BW’OBA oyogera n’abantu, kola ekisingawo ku kubategeeza obutegeeza obubaka bwo. Fuba okulaba nti bategeera bulungi by’oyogera. Kino kijja kukusobozesa okutuuka ku mitima gy’abantu, k’obeere ng’owa mboozi mu kibiina oba ng’oyogera n’abantu abatali Bajulirwa.

Waliwo ebintu bingi ebisobola okukuyamba okwogera mu ngeri etegeerekeka obulungi. Ebimu ku byo byogerwako mu Ssomo 26, “Okusengeka Obulungi Ensonga Zo.” Ebirala byogerwako mu Ssomo 30, “Okufaayo ku Oyo gw’Oyogera Naye.” Mu ssomo lino, tugenda kwogera ku bintu ebirala ebiyinza okutuyamba.

Kozesa Ebigambo Ebyangu Okutegeera. Okukozesa ebigambo ebyangu ne sentensi ennyimpimpi kiyamba nnyo bwe tuba ab’okwogera ebitegeerekeka obulungi eri abalala. Okubuulira kwa Yesu okw’Oku Lusozi kyakulabirako kirungi nnyo eky’okwogera ebitegeerekeka eri abantu bonna. Bye yayigiriza biyinza okuba nga bippya eri abo ababa babisoma. Naye, basobola okubitegeera kubanga yayogera ku nsonga ezitukwatako ffenna gamba nga, engeri y’okufunamu essanyu, okulongoosaamu enkolagana yaffe n’abalala, okuvvuunukamu okweraliikirira, n’okuba n’ekigendererwa mu bulamu. Ate era yakozesa ebigambo buli muntu yenna by’asobola okutegeera. (Mat., essuula 5-7) Kya lwatu, Baibuli erimu ebyokulabirako ebirala bingi mwe tusanga sentensi ez’ebika ebitali bimu. K’obeere ng’okozesezza sentensi za ngeri ki, ekigendererwa kyo ekikulu kyandibadde okwogera mu ngeri etegeerekeka obulungi.

Ne bw’oba ng’oyogera ku bintu ebizibu okutegeera, abakuwuliriza bajja kusobola okubitegeera singa engeri gy’oyogeramu eba nnyangu ya kugoberera. Osobola otya okwogera mu ngeri ennyangu okutegeera? Tokaluubiriza bakuwuliriza ng’obategeeza kalonda ateetaagisa. Sengeka bulungi by’oyogera ensonga enkulu zibe nga zivaayo bulungi. Londa n’obwegendereza ebyawandiikibwa ebikulu. Buli Kyawandiikibwa ky’osoma sooka kukinnyonnyola nga tonnagenda ku kirala. Weewale okwogera ebigambo ebingi oleme kubuutikira nsonga nkulu.

Bw’oba oyigiriza omuntu Baibuli, kola kye kimu. Togezaako kumunnyonnyola kalonda yenna. Yamba omuyizi okutegeera obulungi ensonga enkulu. Oluvannyuma lw’ekiseera, bw’anaaba nga yeesomesa yekka oba ng’ali mu nkuŋŋaana z’ekibiina, ajja kutegeera ebisingawo.

Okusobola okwogera mu ngeri ennyangu okutegeera, olina okutegeka obulungi. Ggwe kennyini oteekwa okuba ng’otegeera bulungi ensonga gy’oyogerako okusobola okuyamba abalala okugitegeera. Bw’omala okugitegeera obulungi, ojja kusobola okuginnyonnyola omuntu omulala. Ate era oba osobola okuginnyonnyola mu bigambo byo.

Nnyonnyola Ebigambo Bye Batamanyi. Emirundi egimu okusobola okuyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga gy’oyogerako, kiba kyetaagisa okubannyonnyola ebigambo bye batamanyi. Tokitwala nti abakuwuliriza bamanyi buli kimu, ate era tokitwala nti bamanyi kitono nnyo. Olw’okuba oyize Baibuli, ebigambo ebimu by’okozesa abalala bayinza obutabitegeera. Bw’otonnyonnyola bigambo nga “ensigalira,” “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” “ab’endiga endala,” ne “ekibiina ekinene” abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa tebajja kutegeera nti birina ebibiina by’abantu bye bikiikirira. (Bar. 11:5; Mat. 24:45; Yok. 10:16; Kub. 7:9) Ate era, okuggyako ng’omuntu amaze ebbanga ng’akolagana n’ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa, ayinza okuzibuwalirwa okutegeera amakulu g’ebigambo nga “omubuulizi,” “payoniya,” “omulabirizi w’ekitundu,” ne “Ekijjukizo.”

Ate era kiyinza okwetaagisa okunnyonnyola ebigambo ebimu ebiri mu Baibuli ebikozesebwa n’abo abatali Bajulirwa. Abantu bangi balowooza nti ekigambo “Kalumagedoni” kitegeeza olutalo nnamuzisa olw’eby’okulwanyisa eby’amaanyi ga nukuliya. Bayinza okukitwala nti “Obwakabaka bwa Katonda” mbeera eri mu mutima gw’omuntu oba nti lye ggulu so si gavumenti. Bw’oyogera ku “mmeeme” abamu bayinza okulowooza nti otegeeza ekyo kye batwala okuba nga kye kiwonawo ng’omuntu afudde. Okusinziira ku ekyo obukadde n’obukadde bw’abantu kye bayigirizibwa, “omwoyo omutukuvu” muntu, era kitundu kya Tiriniti. Olw’okuba abantu bangi tebagoberera misingi gya Baibuli egikwata ku mpisa, bayinza n’okwetaaga okuyambibwa okutegeera Baibuli ky’etegeeza bw’egamba nti: “Muddukenga obwenzi.”​—1 Kol. 6:18, NW.

Okuggyako abo abatera okusoma Baibuli, abantu bangi tebajja kutegeera singa ogamba nti, “Pawulo yawandiika . . . ” oba nti “Lukka yagamba . . . ” Bayinza okubeera ne mikwano gyabwe oba baliraanwa abayitibwa amannya ago. Kiyinza okukwetaagisa okubaako ebigambo by’oyongerako okusobola okulaga abantu ng’abo nti omuntu gw’oyogerako mutume Omukristaayo oba muwandiisi wa Baibuli.

Abo be twogera nabo leero, bayinza okwetaaga okuyambibwa okusobola okutegeera obulungi ebyawandiikibwa ebyogera ku bipimo oba ebyo ebikwata ku mpisa z’omu biseera eby’edda. Ng’ekyokulabirako, okugamba nti eryato lya Nuuwa lyali emikono 300 obuwanvu, emikono 50 obugazi, n’emikono 30 obugulumivu, kiyinza okuzibuwalira abakuwuliriza okutegeera obulungi ebipimo ebyo kye bitegeeza. (Lub. 6:15) Naye singa obagereza ku bipimo bye bamanyi, bajja kutegeera mangu eryato eryo bwe lyali lyenkana.

Nnyonnyola. Okusobola okuyamba abakuwuliriza okutegeera obulungi ensonga, kiyinza okukwetaagisa okukola ekisingawo ku kubategeeza amakulu g’ebigambo ebimu. Amateeka gaasomebwanga era ne gannyonnyolebwa mu Yerusaalemi mu biseera bya Ezera. Okusobola okuyamba abantu okugategeera obulungi, Abaleevi bannyonnyolanga era ne balaga engeri Amateeka ago gye gaali gakwata ku mbeera z’abantu mu kiseera ekyo. (Nek. 8:8, 12) Naawe, twala obudde okunnyonnyola ebyawandiikibwa n’okulaga engeri gye biyinza okweyambisibwamu.

Oluvannyuma lw’okufa kwe n’okuzuukira, Yesu yannyonnyola abayigirizwa be nti ebyali byakabaawo byali bituukiriza Ebyawandiikibwa. Ate era yaggumiza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okuwa obujulirwa ku bintu ebyo ebyali bibaddewo. (Luk. 24:44-48) Bw’oyamba abantu okulaba engeri ebyo by’obayigiriza gye bikwata ku bulamu bwabwe, bajja kutegeera bulungi.

Engeri Omutima gye Guzingirwamu. Ne bwe kiba nti by’onnyonnyola bitegeerekeka bulungi, waliwo ebiyinza okuleetera omuntu okutegeera by’oyogera oba obutabitegeera. Omutima gw’omuntu bwe gubeera omukakanyavu, ekyo ku bwakyo kimulemesa okutegeera by’oyogera. (Mat. 13:13-15) Abo abatunuulira ebintu mu ngeri ey’omubiri, ebintu eby’omwoyo biba bya busirusiru gye bali. (1 Kol. 2:14) Omuntu bw’akiraga nti tasiima bya mwoyo n’akamu, kyandibadde kya magezi n’okomya awo emboozi.

Kyokka, embeera enzibu omuntu gy’aba alimu, eyinza okuleetera omutima gwe okuba omukakanyavu. Singa omuntu ng’oyo ayigirizibwa Baibuli okumala ekiseera, omutima gwe guyinza okugonda. Yesu bwe yagamba abatume be nti yali agenda kubonyaabonyezebwa era attibwe, tebaakitegeera. Lwaki? Kubanga ekyo si kye baali basuubira era si kye baali baagala! (Luk. 18:31-34) Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera, abatume 11 baategeera kye yali agamba, era ekyo baakyoleka nga bakolera ku ebyo Yesu bye yali abayigiriza.

Obukulu bw’Okussaawo Ekyokulabirako Ekirungi. Ebigambo byaffe si bye byokka ebisobozesa abantu okutegeera kye tuba twogerako naye era n’ebikolwa byaffe. Nga boogera ku mulundi lwe baasooka okugenda mu Kizimbe ky’Obwakabaka, abantu bangi bagamba nti bajjukira okwagala kwe baalagibwa, so si ebyo ebyayogerwa. Mu ngeri y’emu, essanyu lye twoleka liyambye abantu be tusanga okukkiriza amazima ga Baibuli. Oluvannyuma lw’okulaba okwagala Abajulirwa ba Yakuwa kwe balagaŋŋana era n’okufaayo buli omu kwalaga munne nga waguddewo ekizibu, abamu bakitegedde nti be bantu abali mu ddiini ey’amazima. N’olwekyo, ng’ofuba okuyamba abantu okutegeera amazima ga Baibuli, lowooza ku ngeri gy’ogannyonnyolamu era n’ekyokulabirako ky’obateerawo.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

  • Kozesa ebigambo ebitegeerekeka era ne sentensi ennyimpimpi osobole okuggyayo obulungi ensonga enkulu.

  • Londa ensonga ntonotono era ziggumize.

  • Nnyonnyola ebigambo abawuliriza bye batamanyi.

  • Nnyonnyola ebyawandiikibwa era olage engeri gye biyinza okweyambisibwa.

  • Lowooza ku ngeri ekyokulabirako ky’oteekawo gye kiyinza okukwata ku abo abakuwuliriza.

EKY’OKUKOLA: Bw’oba olina ekintu ekyakusanyusizza ennyo mu wiiki oba mu lukuŋŋaana, kibuulireko omuntu gw’olinako oluganda atali Mujulirwa, muliraanwa, omuntu gw’okola naye oba basomi banno. Kakasa nti onnyonnyola omuntu mu bigambo ebitegeerekeka obulungi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share