Yigiriza mu Ngeri Ennyangu
1. Kintu ki ekikulu ennyo ekisobola okutuyamba okuba abayigiriza abalungi?
1 Okusobola okuyamba abantu okutegeera bye tuyigiriza kitwetaagisa okuyigiriza mu ngeri ennyangu. Okwekenneenya engeri Omuyigiriza Omukulu, Yesu, gye yayigirizaamu, kisobola okutuyamba okulongoosa mu ngeri gye ‘tuyigirizaamu.’—2 Tim. 4:2; Yok. 13:13.
2. Biki ebizingirwa mu kuyigiriza mu ngeri ennyangu, era kino kirimu miganyulo ki?
2 Kozesa Ebigambo Ebyangu Okutegeera: Okubuulira okw’oku Lusozi kulimu ebimu ku bintu ebisingayo okuba eby’amakulu ebyali byogeddwa omuntu, kyokka nga byonna byayogerwa mu ngeri ennyangu okutegeera. (Mat., sul. 5-7) Ebibiina by’abantu abaali bawuliriza Yesu ‘byawuniikirira olw’engeri gye yayigirizaamu.’ Abakungu abaali batumiddwa okumukwata batuuka n’okugamba nti: “Tewali muntu eyali ayogedde ng’ono.” (Mat. 7:28, 29; Yok. 7:46) Tetulina kukozesa bigambo ebiwuniikiriza, ebizibu okutegeera, oba ebyokulabirako ebiwanvu ennyo okusobola okuyamba abantu okutegeera obulungi amazima. Amazima gasobola okunnyonnyolwa mu ngeri etegeerekeka nga tukozesa ebigambo ebyangu okutegeera.
3. Lwaki abamu batera okuyigiriza abantu ebintu bingi, era kino tuyinza tutya okukyewala?
3 Manya Obungi bw’Ebyo by’Olina Okuyigiriza: Yesu yalowoozanga ku bamuwuliriza okusobola okumanya obungi bw’ebyo bye yalina okubayigiriza. (Yok. 16:12) Tulina okutegeera ebyetaago by’abo be twogera n’abo era ne tubituukanya n’ekyo kye tuba twogerako, naddala nga tubuulira ab’eŋŋanda zaffe, abapya, oba abaana abato. Tetusaanidde kubayigiriza bintu bingi nnyo ne bwe kiba nti balabika ng’abawuliriza obulungi. Abo abaagala amazima bajja kweyongera okufuna okumanya okukwata ku Yakuwa Katonda ow’amazima.—Yok. 17:3; 1 Kol. 3:6.
4. Lwaki kya muganyulo okussa essira ku nsonga enkulu mu kifo ky’okulandagga?
4 Ssa Essira ku Nsonga Enkulu: Yesu bwe yabanga ayigiriza yeewalanga okwogera ku bintu bingi ebiteetaagisa. Bwe yagamba nti: ‘Bonna abali mu ntaana balivaamu,’ ekyo si kye kyali ekiseera okuwa kalonda yenna akwata ku ebyo ebyandituuse ku bantu ab’emirundi ebiri abandizukiziddwa. (Yok. 5:28, 29) Bwe tuba tuyigiriza abantu Baibuli, tusaanidde okussa essira ku nsonga enkulu era ne twewala okwogera ku bintu ebirala ebiteetaagisa.
5. Mukisa ki gwe tuyinza okufuna bwe tuyigiriza mu ngeri ennyangu?
5 Nga tusiima nnyo Yakuwa olw’okutuyigiriza amazima mu ngeri ennyangu! (Mat. 11:25) Ka tufube okuyigiriza mu ngeri eyo tusobole okufuna essanyu eriva mu buweereza obuvaamu ebibala.