ESSOMO 43
Okukozesa Ebikuweereddwa
BAIBULI egeraageranya ekibiina Ekikristaayo ku mubiri gw’omuntu. Buli kitundu kya mugaso, naye ‘byonna birina emirimu gya njawulo.’ Bwe kityo nno, tuba tulina okutuukiriza obulungi buli nkizo yonna eba etuweereddwa. Kino kiba kitwetaagisa okutegeera n’okutegeka obulungi buli mboozi eba etuweereddwa mu kifo ky’okubuusa amaaso ensonga ezimu nga tulowooza nti tezinyuma. (Bar. 12:4-8) Omuddu omwesigwa era ow’amagezi alina obuvunaanyizibwa okutuwa emmere ey’eby’omwoyo ‘mu kiseera ekituufu.’ (Mat. 24:45) Bwe tufuba okutegeka emboozi nga tugoberera obulagirizi obuba butuweereddwa, tuba tulaga nti tusiima enteekateeka omuddu omwesigwa z’akoze. Kino kiviirako ekibiina kyonna okutambula obulungi.
By’Oyinza Okukozesa. Bw’oweebwa omutwe ogw’okwogerako mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, kakasa nti omutwe ogwo gw’ozimbirako emboozi yo so si ekintu ekirala. Emirundi egisinga obungi, ojja kuweebwa aw’okuggya emboozi yo. Singa toweebwa wakugiggya, oyinza okunoonyereza wonna w’oba oyagadde. Kyokka, bw’oba oteekateeka emboozi yo, kakasa nti byonna by’onooyogera bikwatagana n’omutwe ogukuweereddwa. Ate era bw’oba olonda by’onooyogera mu mboozi yo, kiba kikwetaagisa okulowooza ku abo abanaakuwuliriza.
Soma n’obwegendereza ekitundu ky’ogenda okuggyamu emboozi yo, era weekenneenye ebyawandiikibwa ebikirimu. Oluvannyuma lowooza ku ngeri gy’oyinza okubikozesaamu okuganyula abakuwuliriza. Mu ebyo by’onoonyerezaako londamu ensonga bbiri oba ssatu z’onookozesa mu mboozi ng’ensonga enkulu. Ate era, londamu n’ebyawandiikibwa by’onookozesa.
Mu ebyo ebikuweereddwa okuggyamu emboozi yo, onookozesaako byenkana wa? Kozesako ebyo byokka ebinaakuyamba okuggyayo obulungi ensonga. Okusobola okuyigiriza obulungi, tolonda bintu bingi. Singa ebimu ku ebyo ebiri mu bikuweereddwa tebikwatagana na mboozi yo, essira liteeke ku ebyo byokka ebinaakuyamba okutuukiriza ekigendererwa ekyo. Kozesa ebyo byokka ebinaaganyula abakuwuliriza. Ekiruubirirwa kyo ng’okola ku ssomo lino, si kwe kukozesa byonna ebikuweereddwa, wabula kwe kumanya engeri gy’onoobikozesaamu okutegeka emboozi yo.
Ekigendererwa ky’emboozi yo si kwe kuwumbawumbako ebyo ebikuweereddwa okuggyamu emboozi. Olina okunnyonnyola ensonga ezimu, okuzigaziyako, okuwa ebyokulabirako, era n’okulaga engeri gye ziyinza okukozesebwamu. Osobola okukozesaayo ebirala okukulaakulanya ensonga enkulu eziri mu bikuweereddwa, kyokka ebyo by’okozesa tebirina kudda mu kifo ky’ebyo ebikuweereddwa.
Ab’oluganda abalina ebisaanyizo bayinza okuweebwa enkizo ey’okuyigiriza mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza. Bamanyi bulungi nti baba balina kukozesa ebyo ebiba bibaweereddwa. N’ab’oluganda abawa emboozi za bonna, baweebwa ekiwandiiko okuli ensonga emboozi kw’ezimbirwa. Ekiwandiiko ekyo kirambika bulungi ensonga enkulu ze balina okuggyayo, n’ebyawandiikibwa eby’okukozesa mu mboozi eyo. Bw’oyiga okuyigiriza ng’okozesa ebikuweereddwa, ofuna obumanyirivu obunaakuyamba okuwa emboozi endala obulungi.
Ate era, okutendekebwa kuno kusobola okukuyamba okuyigiriza obulungi abayizi ba Baibuli. Ojja kuyiga okugoberera ebiri mu katabo ke musomamu mu kifo ky’okuleeta ebirala ebitakwatagana na nsonga gye muliko wadde nga biyinza okuba nga binyuma. Ate era, singa otegeera bulungi ekiruubirirwa ky’essomo lino, tojja kwemalira ku ebyo byokka ebiri mu katabo naye era oyinza n’okukozesa ebirala ebyetaagisa okunnyonnyola omuyizi.