LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 46 lup. 244-lup. 245 kat. 4
  • Ebyokulabirako eby’Ebintu Ebimanyiddwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebyokulabirako eby’Ebintu Ebimanyiddwa
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Okukozesa Obulungi Ebintu Ebirabwako
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okussa Ekitiibwa mu Balala
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • “Awatali Lugero Teyabagamba Kigambo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Ebyokulabirako Ebiyigiriza
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 46 lup. 244-lup. 245 kat. 4

ESSOMO 46

Ebyokulabirako eby’Ebintu Ebimanyiddwa

Kiki ky’osaanidde okukola?

Kozesa ebyokulabirako eby’ebintu abakuwuliriza bye bamanyi obulungi.

Lwaki Kikulu?

Bw’okozesa ebyokulabirako eby’ebintu ebimanyiddwa ojja kutuuka ku mitima gy’abawuliriza.

KIKULU nnyo okukozesa ebyokulabirako ebituukagana n’ebyo by’oyogerako. Kyokka, ebyokulabirako ebyo okusobola okuba eby’omugaso, birina okuba nga bituukana bulungi n’abakuwuliriza.

Oyinza otya okulonda ebyokulabirako ng’olowooza ku bagenda okukuwuliriza? Ekyo Yesu Kristo yakikola atya? K’abeere nga yali ayogera eri ebibiina by’abantu oba eri abayigirizwa be, Yesu teyakozesa byakulabirako Abaisiraeri bye batandisobodde kutegeera. Ng’ekyokulabirako, Yesu teyayogera ku bulamu bw’abalangira ab’e Misiri oba ku ddiini y’Abayindi. Naye era, ebyokulabirako bye yakozesa byali bikwata ku bintu ebimanyiddwa abantu mu nsi yonna. Yayogera ku kuddaabiriza engoye, okuddukanya bizineesi, okubulwako ekintu eky’omuwendo, n’okugenda ku mbaga. Yali amanyi engeri abantu gye beeyisamu mu mbeera ez’enjawulo, era n’akozesa okumanya okwo. (Mak. 2:21; Luk. 14:7-11; 15:8, 9; 19:15-23) Olw’okuba okubuulira kwa Yesu okusingira ddala kwali kukwata ku Baisiraeri, ebyokulabirako bye yakozesanga byali bituukana n’emirimu gye baakolanga mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. Bwe kityo, yayogera ku bintu ng’okulima, engeri endiga gye zigonderamu omusumba waazo, n’okutereka omwenge mu maliba. (Mak. 2:22; 4:2-9; Yok. 10:1-5) Era yayogera ne ku bintu ebyaliwo edda bye baali bamanyi obulungi, gamba ng’okutondebwa kw’abantu ababiri abaasooka, Amataba agaaliwo mu nnaku za Nuuwa, okuzikirizibwa kwa Sodomu ne Ggomola, okufa kwa muka Lutti, n’ebirala bingi. (Mat. 10:15; 19:4-6; 24:37-39; Luk. 17:32) Naawe osooka kulowooza ku bakuwuliriza bye bamanyi obulungi oba n’obuwangwa bwabwe ng’olonda ebyokulabirako eby’okukozesa?

Kiba kitya singa oba toyogera eri ekibinja ekinene eky’abantu, wabula ng’oyogera na muntu omu oba abantu batonotono? Gezaako okulonda ekyokulabirako ekituukagana n’abantu abo. Yesu bwe yali abuulira omukazi Omusamaliya eyali ku luzzi okumpi ne Sukali, yayogera ku “mazzi ag’obulamu,” ‘obutaddamu kulumwa nnyonta nate,’ era “n’ensulo y’amazzi agakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo”​—era ng’ebigambo ebyo byonna byali bituukagana n’ekyo omukazi oyo kye yali akola. (Yok. 4:7-15) Ate era bwe yali ayogera n’abantu abaali bayoza obutimba bwabwe, ebigambo bye yakozesa byali bituukagana n’omulimu gw’okuvuba. (Luk. 5:2-11) Mu mbeera ezo zombi ezoogeddwako waggulu, yandibadde asobola okwogera ku by’obulimi, okuva ekitundu kye baalimu bwe kyali eky’abalimi. Naye nga kyali kituukirawo bulungi okwogera ku ebyo byennyini bye baali bakola ne kibayamba okutegeerera ddala obulungi! Naawe ofuba okukola bw’otyo?

Wadde nga Yesu yeemalira ku kunoonya “endiga ezaabula ez’omu nnyumba ya Isiraeri,” ye omutume Pawulo yatumibwa eri Bannamawanga. (Mat. 15:24; Bik. 9:15) Ekyo kyaleetera Pawulo okwogera mu ngeri ey’enjawulo? Yee. Bwe yali awandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolinso, yayogera ku mpaka z’embiro, ku kuliira emmere mu yeekaalu omusinzibwa ebifaananyi, era n’ayogera ne ku kuyisa ebivvulu olw’obuwanguzi, nga bino bye bintu Ab’amawanga bye baali bamanyi obulungi.​—1 Kol. 8:1-10; 9:24, 25; 2 Kol. 2:14-16.

Okufaananako Yesu ne Pawulo, naawe weegendereza ng’olonda ebyokulabirako eby’okukozesa ng’oyigiriza? Olowooza ku mirimu gye bakola bulijjo? Kya lwatu, ebintu bikyuse nnyo mu nsi okuva bwe byali mu kyasa ekyasooka. Abantu bangi basobola okulaba amawulire ku ttivi agava mu bitundu byonna eby’ensi. Emirundi mingi baba bamanyi ebiri mu nsi endala. Bwe kibeera bwe kityo mu kitundu kyammwe, oba osobola okufuna ebyokulabirako okuva mu bibaddewo mu mawulire. Kyokka, ebintu ebisinga okusikiriza ennyo abantu byebyo ebibakwatako, gamba amaka gaabwe, emirimu gye bakola, emmere gye balya, n’embeera y’obudde mu kitundu kyabwe.

Bwe kiba ng’ekyokulabirako ky’okozesa kikwetaagisa okukinnyonnyola ennyo, kiba kitegeeza nti ky’oyogerako abakuwuliriza tebakimanyi. Ekyokulabirako ng’ekyo kiyinza obutaggyayo nsonga nkulu. N’ekivaamu, abakuwuliriza bayinza okujjukira ekyokulabirako kye wakozesezza kyokka ne batajjukira nsonga gye wabadde ogezaako okubategeeza.

Mu kifo ky’okukozesa ebyokulabirako ebizibu, Yesu yakozesa ebyokulabirako ebyekuusa ku bintu ebya bulijjo era ebyangu okutegeera. Yakozesanga obuntu obutono okusobola okunnyonnyola ebintu ebinene era n’akozesa ebintu ebyangu okusobola okunnyonnyola ebintu ebizibu. Ng’akwataganya ebyo ebyabangawo mu bulamu obwa bulijjo n’amazima ag’eby’omwoyo, Yesu yayamba abantu okutegeera amangu amazima ge yali abayigiriza era ne kibayamba n’okugajjukira. Nga kyakulabirako kirungi nnyo kye twandigoberedde!

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

  • Tolowooza ku by’ogenda kwogerako byokka naye era lowooza ne ku bakuwuliriza.

  • Weetegereze ebintu ebikwetoolodde.

  • Kifuule kiruubirirwa kyo buli wiiki okukozesaayo waakiri ekyokulabirako kimu ekituukirawo ky’otokozesangako.

EKY’OKUKOLA: Weekenneenye ekyokulabirako ekyakozesebwa mu Matayo 12:10-12. Lwaki kyali kirungi?

Ebyokulabirako bye nnyinza okukozesa nga nkubaganya ebirowoozo n’omutiini ku mitindo gy’empisa

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

Ebyokulabirako bye nnyinza okukozesa nga nkubaganya ebirowoozo n’omuntu omukulu ku mazima ga Baibuli

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share