Oluyimba 115
Okutuuka ku Buwanguzi mu Bulamu
1. Ekigambo kya Yakuwa.
Ka tukisomenga.
Tukifumiitirizeeko;
Tukigonderenga.
Kitulagenga ekkubo
Ly’okugoberera.
(CHORUS)
Bw’osoma, n’ossa mu nkola,
’Mikisa gy’ofuna.
Tambulanga ne Yakuwa,
Ojja kuwangula.
2. Bakabaka mu Isiraeri,
Kinnoomu baalina
’Kukoppolola ’Mateeka
Ga Katonda gonna;
Ssaako n’okugasomanga,
Baleme kuwaba.
(CHORUS)
Bw’osoma, n’ossa mu nkola,
’Mikisa gy’ofuna.
Tambulanga ne Yakuwa,
Ojja kuwangula.
3. Bwe tusoma Ekigambo
Kya Katonda waffe,
Tuguma era tunyweza
’Kukkiriza kwaffe.
Bwe tukyettanira ennyo,
Tukulaakulana.
(CHORUS)
Bw’osoma, n’ossa mu nkola,
’Mikisa gy’ofuna.
Tambulanga ne Yakuwa,
Ojja kuwangula.
(Era laba Ma. 17:18; 1 Bassek. 2:3, 4; Zab. 119:1; Yer. 7:23.)