Oluyimba 101
Okubunyisa Amazima g’Obwakabaka
Printed Edition
	1. Ffenna twali tetumanyi
Kkubo ttuufu lya kukwata.
Twalaba omusana
Oguva eri Yakuwa.
Twategeera by’ayagala:
’Kuweereza ’Bufuzi bwe,
’Kutenda erinnya lye,
N’okuli weesanga ekitiibwa.
Tubuulira ’bantu bonna,
Mu mayumba ne ku nguudo.
Tubalaga amazima,
Ne gabafuula ba ddembe.
Ka tufube ’kugaziya
Okusinza kwa Yakuwa,
’Kutuusa lw’anaagamba
Nty’omulimu tugumalirizza.
(Era laba Yos. 9:9; Is. 24:15; Yok. 8:12, 32.)