LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 11/1 lup. 27-31
  • Okussa Ekitiibwa mu Nkuŋŋaana Zaffe Entukuvu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okussa Ekitiibwa mu Nkuŋŋaana Zaffe Entukuvu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Enkuŋŋaana Zaffe Ntukuvu
  • Engeri gye Tuyinza Okussa Ekitiibwa mu Nkuŋŋaana Zaffe
  • Enneeyisa Egwanira mu Nnyumba ya Katonda
  • Ekintu eky’Enkalakkalira mu Kusinza Kwaffe
  • Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa Ziyinza Kukuganyula Zitya?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Lwaki Tusaanidde Okukuŋŋaananga Awamu Okusinza?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Engeri Yakuwa gy’Atukulemberamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Olina ky’Okola Okulaba Nti Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo Zizimba?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 11/1 lup. 27-31

Okussa Ekitiibwa mu Nkuŋŋaana Zaffe Entukuvu

‘Abo ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey’okusabirangamu.’​—ISAAYA 56:7.

1. Ebyawandiikibwa biraga bitya nti tulina okussa ekitiibwa mu nkuŋŋaana zaffe?

YAKUWA akuŋŋaanyizza abantu be, Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ab’endiga endala, okumusinziza ku ‘lusozi lwe olutukuvu.’ Abasanyusa mu ‘nnyumba ye ey’okusabirangamu,’ eweema ye ey’eby’omwoyo, kwe kugamba, ‘ennyumba ey’okusabirangamu amawanga gonna.’ (Isaaya 56:7; Makko 11:17) Ebyo biraga nti okusinza kwaffe eri Yakuwa kutukuvu, kulongoofu, era kugulumiziddwa. Bwe tussa ekitiibwa mu nkuŋŋaana zaffe ezikwata ku kuyiga n’okusinza, tuba tulaga nti tulina endowooza Yakuwa gy’alina ku bintu ebitukuvu.

2. Kiki ekiraga nti Yakuwa yali atwala ekifo kye yalonda okumusinzizaamu nga kitukuvu, era ne Yesu yalaga atya nti akitwala nga kitukuvu?

2 Mu Isiraeri ey’edda, ekifo Yakuwa kye yalonda okumusinzizaamu kyali kirina okutwalibwa nga kitukuvu. Ebintu ebyali mu weema ebyakozesebwanga era ne weema yennyini byali birina okufukibwako amafuta n’okutukuzibwa bisobole ‘okubeera ebintu ebitukuvu ennyo.’ (Okuva 30:26-29) Ebisenge ebibiri ebyali mu weema ekimu kyali kiyitibwa “Awatukuvu” n’ekirala kyali kiyitibwa ‘Awasinga obutukuvu.’ (Abaebbulaniya 9:2, 3) Oluvannyuma yeekaalu eyali e Yerusaalemi yadda mu kifo kya weema. Olw’okuba kyali kifo eky’okusinzizaamu Yakuwa, Yerusaalemi kyali kiyitibwa “ekibuga ekitukuvu.” (Nekkemiya 11:1; Matayo 27:53) Mu buweereza bwe obw’oku nsi, Yesu yalaga nti assa ekitiibwa mu yeekaalu. Yanyiigira abantu abatassa kitiibwa mu yeekaalu nga basuubulira mu luggya lwayo era ne bakolamu ekkubo lye bayitangamu nga batwala ebintu mu kitundu ekirala ekya Yerusaalemi.​—Makko 11:15, 16.

3. Kiki ekiraga nti enkuŋŋaana z’Abaisiraeri zaali ntukuvu?

3 Abaisiraeri baakuŋŋaananga obutayosa okusinza Yakuwa era n’okuwuliriza Amateeka ge nga gasomebwa. Ennaku ezimu ez’embaga zaabwe zaayitibwanga enkuŋŋaana entukuvu, nga kiraga obutukuvu bw’enkuŋŋaana ezo. (Eby’Abaleevi 23:2, 3, 36, 37) Mu lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu nnaku za Ezera ne Nekkemiya, abaleevi ‘baategeeza abantu amateeka.’ Okuva ‘abantu bonna bwe baakaaba nga bawulidde ebigambo eby’omu mateeka,’ Abaleevi ‘baagambanga abantu nti musirike, kubanga olunaku luno lutukuvu.’ Oluvannyuma, ku lunaku olw’omusanvu Abaisiraeri baakwata Embaga ey’Ensiisira era baalina “essanyu lingi nnyo.” Ate era, ‘buli lunaku nga basookera ku lunaku olw’olubereberye ne bamalira ku lunaku olw’enkomerero baasomanga mu kitabo eky’amateeka ga Katonda. Ne bakwatira embaga ennaku musanvu; ne ku lunaku olw’omunaana ne wabaawo okukuŋŋaana okutukuvu, ng’ekiragiro bwe kiri.’ (Nekkemiya 8:7-11, 17, 18) Mazima ddala zino zaali nkuŋŋaana ntukuvu era bonna abaaliwo baali basaana okuzissaamu ekitiibwa.

Enkuŋŋaana Zaffe Ntukuvu

4, 5. Bintu ki ebibeera mu nkuŋŋaana zaffe ebiraga nti ntukuvu?

4 Kyo kituufu nti leero Yakuwa talina kibuga kitukuvu ku nsi, ekirimu yeekaalu ey’enjawulo ey’okumusinzizaamu. Wadde kiri kityo, tetulina kukyerabira nti enkuŋŋaana ze tuba nazo ez’okusinza Yakuwa ntukuvu. Emirundi essatu buli wiiki tukuŋŋaana okusoma Ebyawandiikibwa. Ekigambo kya Yakuwa “kinnyonnyolebwa,” era nga bwe kyali mu nnaku za ­Nekkemiya, ‘kiteekebwamu amakulu.’ (Nekkemiya 8:8, NW) Enkuŋŋaana zaffe zonna zitandika era ne zikomekkerezebwa n’okusaba era ezisinga obungi ku zo tuyimbiramu ennyimba ezitendereza Yakuwa. (Zabbuli 26:12) Mazima ddala enkuŋŋaana ez’ekibiina kitundu kya kusinza kwaffe n’olwekyo kitwetaagisa okussaayo omwoyo nga tukuŋŋaanye.

5 Yakuwa awa omukisa abantu be nga bakuŋŋaanye wamu okumusinza, okusoma Ekigambo kye, oba nga bakuŋŋaanye okusanyukira awamu ne Bakristaayo bannaabwe. Ekiseera bwe kituuka okugenda mu nkuŋŋaana, tusobola okuba abakakafu nti eyo gye tugenda ‘Yakuwa gye yalagirira omukisa okubeera.’ (Zabbuli 133:1, 3) Naffe tufuna omukisa ogwo bwe tubeerawo mu nkuŋŋaana ezo era ne tuwuliriza bulungi programu ey’eby’omwoyo. Okugatta ku ekyo, Yesu yagamba: “We baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe.” Okusinziira ku nnyiriri eziriraanyewo, ebigambo ebyo bikwata ku bakadde abatudde okugonjoola ekizibu eky’amaanyi ekiriwo wakati w’ab’oluganda ababiri, naye omusingi oguli mu kyawandiikibwa ekyo gukwata ne ku nkuŋŋaana zaffe. (Matayo 18:20) Bwe kiba nti okuyitira mu mwoyo omutukuvu Kristo abeerawo ng’Abakristaayo bakuŋŋaanye mu linnya lye, enkuŋŋaana ezo tezanditwaliddwa nga ntukuvu?

6. Kiki ekiyinza okwogerwa ku nkuŋŋaana zaffe ennene n’entono?

6 Kyo kituufu nti Yakuwa tabeera mu yeekaalu ezizimbiddwa abantu. Wadde kiri bwe kityo, Ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka bifo awabeera okusinza okw’amazima. (Ebikolwa 7:48; 17:24) Tukuŋŋaanirayo okusoma Ekigambo kya Yakuwa, okumusaba n’okuyimba ennyimba ezimutendereza. Era bwe kityo bwe kibeera ne mu nkuŋŋaana zaffe ennene. Ebifo ebigazi, gamba ng’ebizimbe omubeera emizannyo, emyoleso oba ebisaawe by’omupiira, bwe bipangisibwa okubaamu enkuŋŋaana ennene bifuuka bifo bitukuvu. Enkuŋŋaana ng’ezo ez’okusinza, ka zibe nnene oba ntono, tugwanidde okuzissaamu ekitiibwa era ekyo kirina okweyolekera mu ngeri gye tuzitwalamu ne mu nneeyisa yaffe.

Engeri gye Tuyinza Okussa Ekitiibwa mu Nkuŋŋaana Zaffe

7. Mu ngeri ki erabikako mwe tuyinza okulagira nti tussa ekitiibwa mu nkuŋŋaana zaffe?

7 Waliwo engeri ezirabikako mwe tuyinza okulagira nti tussa ekitiibwa mu kuŋŋaana zaffe. Engeri emu kwe kubaawo ng’ennyimba z’Obwakabaka ziyimbibwa. Nnyingi ku nnyimba ezo ziri mu ngeri ya kusaba, n’olwekyo zirina okuyimbibwa mu ngeri ey’ekitiibwa. Bwe yali ajuliza Zabbuli 22, omutume Pawulo yayogera ku Yesu nti: “Ndibuulira baganda bange erinnya lyo, Ndikuyimb[ir]a wakati mu kkuŋŋaaniro.” (Abaebbulaniya 2:12) N’olwekyo tulina okukakasa nti tutudde mu bifo byaffe nga ssentebe tannaba kwanjula luyimba era n’oluvannyuma ne tuyimba nga tutadde ebirowoozo byaffe ku makulu agali mu bigambo. Ka engeri gye tuyimbamu eyoleke enneewulira omuwandiisi wa Zabbuli gye yalina bwe yagamba nti: “Neebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna, Mu kibiina eky’abatuukirivu abateesa, ne mu Kkuŋŋaaniro.” (Zabbuli 111:1) Mazima ddala, okuyimba ennyimba ezitendereza Yakuwa y’emu ku ­nsonga ­ennungi ennyo eyandituleetedde okutuuka nga bukyali mu nkuŋŋaana zaffe era ne ­tubeerawo okutuukira ddala ku nkomerero yaazo.

8. Kyakulabirako ki ekiri mu Baibuli ekiraga nti tulina okussaayo omwoyo nga basaba mu nkuŋŋaana zaffe?

8 Ekintu ekirala ekyongera okuleetera enkuŋŋaana zaffe okubeera enkulu ennyo kwe kusaba ku lw’abantu bonna abakuŋŋaanye. Olumu, Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka abaali mu Yerusaalemi baakuŋŋaana era “ne bayimusa eddoboozi lyabwe n’omwoyo gumu eri Katonda” nga bamusaba. N’ekyavaamu, beeyongera okubuulira “ekigambo kya Katonda n’obuvumu” wadde nga baali bayigganyizibwa. (Ebikolwa 4:24-31) Olowooza waaliwo n’omu ku abo abaaliwo atassaayo mwoyo nga basaba? Nedda, bonna baasaba “n’omwoyo gumu.” Okusaba okubaawo mu nkuŋŋaana zaffe kwoleka enneewulira ez’omunda ez’abo ababa bakuŋŋaanye. N’olwekyo tulina okussaayo omwoyo nga basaba.

9. Tusobola tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu nkuŋŋaana entukuvu okuyitira mu nnyambala n’enneeyisa yaffe?

9 Ate era, engeri gye twambalamu eyinza okulaga nti enkuŋŋaana zaffe tuzitwala nga ntukuvu. Engoye ze twambala n’emisono gy’enviiri gye tusiba oba gye tukola nabyo byongera okuwa ekitiibwa enkuŋŋaana zaffe. Omutume Pawulo yatubuulirira nti: “Kyenva njagala abasajja basabenga mu buli kifo, nga bayimusa emikono emitukuvu, awatali busungu na mpaka. Bwe batyo n’abakazi beeyonjenga mu byambalo ebisaana, n’okukwatibwa ensonyi n’okwegendereza; si mu kulanganga enviiri, ne zaabu oba luulu oba engoye ez’omuwendo omungi; naye (nga bwe kisaanira abakazi abeeyita abatya Katonda).” (1 Timoseewo 2:8-10) Bwe tubeera n’enkuŋŋaana ennene mu bisaawe by’omupiira, tusaanidde okwambala mu ngeri esaanidde era ng’etuukagana n’embeera y’obudde. Ate era, olw’okuba tussa ekitiibwa mu nkuŋŋaana zaffe, tetujja kulya oba okugaaya swiiti owa gaamu ng’enkuŋŋaana zigenda mu maaso. Bwe twambala obulungi era ne tweyisa bulungi nga tuli mu nkuŋŋaana zaffe, kiweesa ekitiibwa Yakuwa Katonda, okusinza kwe, ne basinza bannaffe.

Enneeyisa Egwanira mu Nnyumba ya Katonda

10. Omutume Pawulo yalaga atya nti kitwetaagisa okweyisa obulungi nga tuli mu nkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo?

10 Mu 1 Abakkolinso, essuula 14, omutume Pawulo yawa amagezi ku ngeri y’okukubirizaamu enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Yafundikira ng’agamba nti: “Byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu mpisa ennungi [oba “ngeri entegeke obulungi,” NW].” (1 Abakkolinso 14:40) Enkuŋŋaana zaffe kye kimu ku bintu ebikulu ennyo mu kibiina Ekikristaayo, era zitwetaagisa ­okweyisa ­mu ngeri esaanira ennyumba ya Yakuwa.

11, 12. (a) Abaana ababeerawo mu nkuŋŋaana zaffe bandibadde bayigirizibwa ki? (b) Mu ngeri ki abaana gye bayinza okwolekamu okukkiriza kwabwe nga bali mu nkuŋŋaana?

11 Okusingira ddala abaana abato balina okuyigirizibwa engeri gye basaanidde okweyisaamu nga bali mu nkuŋŋaana. Abazadde Abakristaayo basaanidde okutegeeza abaana baabwe nti Ekizimbe ky’Obwakabaka n’awabeera Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina si bifo bya kuzannyiramu. Bifo we tusinzizza Yakuwa era gye tusomera Ekigambo kye. Kabaka Sulemaani ow’amagezi yagamba: ‘Okuumanga ekigere kyo bw’ogendanga mu nnyumba ya Katonda okusembera okuwulira.’ (Omubuulizi 5:1) Musa yayigiriza Abaisiraeri abakulu ‘n’abato’ okukuŋŋaananga awamu. Yagamba: ‘Okuŋŋaanyanga abantu, . . . bawulire, era bayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bakwatenga ebigambo byonna eby’amateeka gano okubikola. Era abaana baabwe, abatannamanya, bawulire era bayige okutyanga Mukama Katonda.’​—Ekyamateeka 31:12, 13.

12 Mu ngeri y’emu leero, abaana abato bagenda mu nkuŋŋaana ne bazadde baabwe okusingira ddala okuwuliriza n’okuyiga. Kasita batandika okussaayo omwoyo n’okutegeera enjigiriza ezisookerwako, abaana nabo basobola ‘okwatula mu lujjudde’ okukkiriza kwabwe nga babaako bye baddamu mu nkuŋŋaana. (Abaruumi 10:10) Omwana omuto ayinza okutandika ng’akozesa ebigambo bitono okuddamu ebibuuzo by’ategeera obulungi. Mu kusooka, ayinza okusoma obusomi eby’okuddamu, naye oluvannyuma lw’ekiseera, ajja kutandika okuddamu mu bigambo bye. Kino kiganyula era kisanyusa omwana era eby’okuddamu ng’ebyo ebiviira ddala ku mutima bisanyusa n’abakulu ababaawo. Kya lwatu, abazadde bassaawo ekyokulabirako ekirungi nga nabo babaako bye baddamu. Era kiba kirungi abaana ne babeera ne Baibuli zaabwe, obutabo bw’ennyimba, n’ekitabo ekiba kisomebwa. Basaanidde okukwata obulungi ebitabo ng’ebyo. Bino byonna bijja kulaga abaana nti enkuŋŋaana zaffe ntukuvu.

13. Kiki kye twagala abo ababadde mu nkuŋŋaana zaffe omulundi ogusooka bagambe?

13 Kya lwatu, tetwagala nkuŋŋaana zaffe zifaananeko ezo eza Kristendomu. Enkuŋŋaana ng’ezo ziyiza obutabaamu bbugumu oba ziyinza okubaamu endongo ng’ez’omu nsi. Twagala enkuŋŋaana zaffe eziba ku Kizimbe ky’Obwakabaka zibeemu ebbugumu era nga zisikiriza naye tetwagala zifaanane ebifo ebya lukale abantu gye bagenda okwesanyusaamu. Tukuŋŋaana okusinza Yakuwa, n’olwekyo enkuŋŋaana zaffe bulijjo zandibadde za kitiibwa. Oluvannyuma lw’okuwuliriza ebyogerwa mu nkuŋŋaana n’okwekenneenya enneeyisa yaffe n’ey’abaana baffe, twagala abo ababaddewo mu nkuŋŋaana zaffe omulundi ogusooka bagambe nti: ‘Ddala Katonda ali mu mmwe.’​—1 Abakkolinso 14:25.

Ekintu eky’Enkalakkalira mu Kusinza Kwaffe

14, 15. (a) Tuyinza tutya ‘obutalagajjalira nnyumba ya Katonda waffe’? (b) Isaaya 66:23 lutuukirizibwa lutya?

14 Nga bwe kyayogeddwako, Yakuwa akuŋŋaanya abantu be era abasanyusa “mu nnyumba [ye] ey’okusabirangamu,” yeekaalu ye ey’eby’omwoyo. (Isaaya 56:7) Omusajja omwesigwa Nekkemiya yajjukiza Bayudaaya banne nti basaanidde okussa ekitiibwa mu yeekaalu nga bawaayo ku bintu byabwe okuwagira emirimu gya yeekaalu. Yagamba: ‘Tetulagajjaliranga nnyumba ya Katonda waffe.’ (Nekkemiya 10:39) Ate era, tetwandiganye nga Yakuwa atuyise okugenda okumusinza ‘mu nnyumba ye ey’okusabirangamu.’

15 Ng’alaga obwetaavu obw’okukuŋŋaananga obutayosa okusinza Yakuwa, Isaaya yagamba nti: “Awo olulituuka, okuva ku mwezi okutuusa ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuusa ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange, bw’ayogera Mukama.” (Isaaya 66:23) Kino kye kiriwo leero. Abakristaayo abeewaayo eri Yakuwa bakuŋŋaana buli wiiki okumusinza obutayosa. Kino bakikola nga bagenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo era nga beenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Oli omu ku abo abatoosa ‘kujja kusinza mu maaso ga Yakuwa’?

16. Lwaki twandikifudde kya lubeerera okubeerangawo mu nkuŋŋaana zaffe mu kiseera kino?

16 Isaaya 66:23 lujja kutuukirizibwa mu bujjuvu mu nsi ya Katonda empya gye yasuubiza. Mu kiseera ekyo, “bonna abalina omubiri,” ‘banajjanga okusinza,’ Yakuwa buli wiiki, buli mwezi okutuusa emirembe gyonna. Okuva bwe kiri nti okukuŋŋaana awamu okusinza Yakuwa kijja kuba kintu kya lubeerera mu nteekateeka y’ebintu empya, tetwandikifudde kya lubeerera okubeerangawo mu nkuŋŋaana zaffe entukuvu mu kiseera kino?

17. Lwaki twetaaga okubeerangawo mu nkuŋŋaana zaffe ‘nga bwe tulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka’?

17 Ng’enkomerero egenda esembera, twandyeyongedde okuba abamalirivu n’okusinga bwe kyali kibadde okubeerangawo mu nkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo okusinza Yakuwa. Olw’okuba twagala okussa ekitiibwa mu nkuŋŋaana zaffe entukuvu, tetukkiriza mulimu, ebiba bituweereddwa ku ssomero okukolera awaka, oba okweyongera okusoma mu biseera eby’olweggulo okutulemesa okubeerangawo mu nkuŋŋaana ne bakkiriza bannaffe. Twetaaga okuzzibwamu bannaffe amaanyi. Enkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo zituwa akakisa ak’okumanya bakkiriza bannaffe, okubazzaamu amaanyi, era na buli omu okukubiriza munne okuba ‘n’okwagala n’ebikolwa ebirungi.’ Twetaaga okukola kino “nga bwe [t]ulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.” (Abaebbulaniya 10:24, 25) N’olwekyo, ka tweyongere okussa ekitiibwa mu nkuŋŋaana zaffe entukuvu nga tuzibeeramu obutayosa, nga twambala bulungi, era nga tweyisa bulungi. Bwe tukola bwe tutyo, tulaga nti tulina endowooza ya Yakuwa ku bintu ebitukuvu.

Okwejjukanya

• Kiki ekiraga nti enkuŋŋaana z’abantu ba Yakuwa zirina okutwalibwa nga ntukuvu?

• Bintu ki ebibaawo mu nkuŋŋaana zaffe ebiraga nti ntukuvu?

• Abaana abato bayinza batya okulaga nti bassa ekitiibwa mu nkuŋŋaana zaffe entukuvu?

• Lwaki twandikifudde kya lubeerera okubeerangawo mu nkuŋŋaana zaffe?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 28]

Enkuŋŋaana ez’okusinza Yakuwa ziba ntukuvu ka zibe mu kifo ki

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Abaana baffe abato bajja mu nkuŋŋaana okuwuliriza n’okuyiga

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share