Oluyimba 26
Tambulanga ne Katonda!
Printed Edition
1. Tambulanga ne Katonda;
Beera mwetoowaze.
Kuuma obugolokofu;
Akuwe amaanyi.
Kuumanga amazima ge,
Tobuzaabuzibwa;
K’akukwate ku mukono,
Ng’omwana omuto.
2. Tambula mu bulongoofu;
Togwanga mu kibi.
Genda ng’okulaakulana,
Omusanyusenga.
Buli kintu kirongoofu
Kirowoozengako,
Beera mugumiikiriza,
Weesige Katonda.
3. Tambulanga n’obwesigwa,
Olyoke ofune
Essanyu ery’amazima,
Ery’omuganyulo.
Tambulanga ne Katonda,
Mutenderezenga.
’Mulimu gw’Obwakabaka
Guleeta essanyu.
(Era laba Lub. 5:24; 6:9; Baf. 4:8; 1 Tim. 6:6-8.)