LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jl essomo 2
  • Lwaki Tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa?
  • Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Similar Material
  • Ssa Ekitiibwa mu Linnya lya Yakuwa Ekkulu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Erinnya lya Katonda y’Ani?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Katonda Alina Erinnya
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • “Mmwe Muli Bajulirwa Bange”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
jl essomo 2

ESSOMO 2

Lwaki Tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa?

Nuuwa

Nuuwa

Ibulayimu ne Saala

Ibulayimu ne Saala

Musa

Musa

Yesu Kristo

Yesu Kristo

Abantu bangi balowooza nti eddiini y’Abajulirwa ba Yakuwa mpya. Kyokka emyaka egisukka mu 2,700 emabega, abaweereza ba Katonda omu ow’amazima baayogerwako nga ‘abajulirwa’ be. (Isaaya 43:10-12) Mu kusooka twali tuyitibwa Bayizi ba Bayibuli, naye okuva mu 1931 twatandika okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Lwaki?

Erinnya eryo liraga Katonda gwe tusinza. Okusinziira ku biwandiiko eby’edda, erinnya lya Katonda, Yakuwa, lisangibwa mu Bayibuli emirundi egisukka mu kasanvu. Mu Bayibuli nnyingi erinnya lino lyaggibwamu, era we lyali ne wateekebwawo ebitiibwa gamba nga Mukama oba Katonda. Kyokka Katonda yagamba Musa nti ye Yakuwa, era n’agattako nti: “Eryo lye linnya lyange emirembe n’emirembe.” (Okuva 3:15) Bw’atyo Katonda ow’amazima yeeyawula ku bakatonda abalala bonna. Twenyumiririza mu kuyitibwa erinnya lya Katonda ettukuvu.

Erinnya eryo liraga omulimu gwe tukola. Abantu bangi mu biseera eby’edda, okuviira ddala ku Abbeeri omusajja eyali omutuukirivu, baakyoleka nti baali Bajulirwa ba Yakuwa olw’okukkiriza kwabwe. Mu byasa ebyaddirira, Nuuwa, Ibulayimu, Saala, Musa, Dawudi, n’abalala, nabo beegatta ku ‘kibinja ekinene eky’abajulirwa.’ (Abebbulaniya 11:4–12:1) Ng’omuntu bw’awa obujulizi mu kkooti ng’alina gw’awolereza, naffe tuli bamalirivu okutegeeza abantu amazima agakwata ku Katonda waffe.

Tukoppa Yesu. Bayibuli emuyita “omujulirwa omwesigwa era ow’amazima.” (Okubikkulirwa 3:14) Yesu kennyini yagamba nti ‘yamanyisa erinnya lya Katonda,’ era nti ‘yategeezanga amazima agakwata ku Katonda.’ ( Yokaana 17:26; 18:37) N’olwekyo, abagoberezi ba Kristo ab’amazima balina okuyitibwa erinnya lya Yakuwa era balina okulimanyisa abalala. Kino Abajulirwa ba Yakuwa kye bafuba okukola.

  • Lwaki Abayizi ba Bayibuli baatandika okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa?

  • Yakuwa amaze bbanga ki ng’alina abajulirwa ku nsi?

  • Mujulirwa wa Yakuwa ki asinga abalala bonna?

MANYA EBISINGAWO

Bw’osanga Abajulirwa ba Yakuwa ababeera mu kitundu kyo, fuba okweyongera okubamanya. Babuuze ensonga lwaki baafuuka Abajulirwa ba Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share