EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MALAKI 1-4
Obufumbo Bwammwe Busanyusa Yakuwa?
Mu kiseera kya Malaki, Abayisirayiri bangi baagattululwanga ne bannaabwe mu bufumbo nga beekwasa obusongasonga. Yakuwa yali tasanyukira kusinza kw’abo abaakuusakuusanga bannaabwe
Abo abaayisanga obulungi bannaabwe mu bufumbo, Yakuwa yabawanga emikisa
Leero abafumbo bayinza batya okusigala nga beesigwa eri bannaabwe . . .
mu birowoozo?
mu ngeri gye bakozesaamu amaaso gaabwe?
mu njogera?