OLUYIMBA 14
Okutendereza Kabaka w’Ensi Omuggya
Printed Edition
	- 1. Ekibiina ’kinene kiva - mu mawanga gonna; - Yesu Kristo n’abalonde - be bakikuŋŋaanyizza. - ’Bwakabaka bwa Katonda - Buzaaliddwa era bujja. - Essuubi lino litugumya; - Mazima lya muwendo nnyo. - (CHORUS) - Tendanga Yakuwa, Tenda n’Omwana we - Gw’alonze nga Kabaka waffe. - Ka tube bawulize bulijjo - Wansi w’obufuzi bwe. 
- 2. Kabaka waffe, Yesu Kristo, - tumutendereza. - Agenda kutuukiriza - Katonda by’ayagala. - Essanyu lingi gye bujja: - Ensi teribaamu kutya; - Abafu balizuukizibwa. - ’Ssanyu lijjule ’nsi yonna! - (CHORUS) - Tendanga Yakuwa, Tenda n’Omwana we - Gw’alonze nga Kabaka waffe. - Ka tube bawulize bulijjo - Wansi w’obufuzi bwe.