OLUYIMBA 141
Obulamu Kyamagero
Printed Edition
	- 1. ’Musana gwaka, ’Nkuba etonnya, - Omwana azaalibwa, ’Mmere ’mera— - Byonna biva wa Katonda waffe. - Byamagero by’akola tubeerewo ffe. - (CHORUS) - ’Bulamu kirabo kya muwendo nnyo; - Oyo eyabutuwa tumwagalenga nnyo, - Bwe kityo tulage nti ffe tusiima nnyo - Ekirabo kino kye yatuw’o buwa. 
- 2. Wadde ng’eriyo Abatasiima - Katonda eyatuwa Obulamu. - Tetuli ng’abo. Ffe tumutenda. - Tumwebaza ’lw’obulamu bwe tulina. - (CHORUS) - ’Bulamu kirabo kya muwendo nnyo. - Bantu bannaffe bonna tubaagalenga nnyo. - Bwe kityo tulage nti ffe tusiima nnyo - Ekirabo kino kye yatuw’o buwa. 
(Laba ne Yob. 2:9; Zab. 34:12; Mub. 8:15; Mat. 22:37-40; Bar. 6:23.)