LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 12/1/07 lup. 12-15
  • Yigiriza Omwana Wo Okubeera ow’Emirembe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yigiriza Omwana Wo Okubeera ow’Emirembe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Balage nti Kirungi Okusanyusa “Katonda ow’Emirembe”
  • Beera Muzadde wa Mirembe
  • Tosunguwala Mangu
  • Balage nti Kirungi Okusonyiwa
  • Yambanga Omwana Wo Okuba ow’Emirembe
  • Emirembe—Oyinza Otya Okugifuna?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • ‘Noonya Emirembe era Ogigoberere’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Muyigirize Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • 8 Ekyokulabirako
    Zuukuka!—2018
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 12/1/07 lup. 12-15

Yigiriza Omwana Wo Okubeera ow’Emirembe

Nicole ow’emyaka omunaana yali musanyufu nnyo okuba nti baali bagenda kusengukira mu kitundu eky’ewala era ng’eteekateeka zonna ezikolebwa azibuulirako mukwano gwe ennyo Gabrielle. Lumu, Gabrielle yagamba Nicole nti eby’okugenda kwe byali tebimukwatako. Mu busungu obungi, Nicole yagamba maama we nti, “Ssaagala kuddamu kulaba ku Gabrielle!”

BWE wabaawo obutategeeragana wakati w’abaana nga bwe kyali ku Nicole ne Gabrielle, kitera okwetaagisa abazadde okubugonjoola​—si kubawooyawoya kyokka naye n’okubalaga engeri ensonga gye zirina okukwatibwamu. Bulijjo abaana abato bakola ‘eby’ekito,’ era tebatera kumanya kabi kayinza kuva mu bintu ebimu bye bakola ne bye boogera. (1 Abakkolinso 13:11) Beetaga okuyigirizibwa engeri ennungi ezibasobozesa okuba ab’emirembe mu maka n’awalala wonna.

Abazadde Abakristaayo bafaayo nnyo okuyigiriza abaana baabwe ‘okunoonyanga emirembe n’okugigobereranga.’ (1 Peetero 3:11) Olw’okuba essanyu eriva mu kuba ow’emirembe lingi nnyo twandikoze buli ekisoboka okwewala obuteesiga balala, obusungu, n’obukyayi. Bw’oba ng’oli muzadde, oyinza otya okuyigiriza abaana bo okuba ab’emirembe?

Balage nti Kirungi Okusanyusa “Katonda ow’Emirembe”

Yakuwa ayitibwa “Katonda ow’emirembe” era amanyiddwa ng’oyo “awa emirembe.” (Abafiripi 4:9; Abaruumi 15:33, NW) N’olwekyo, abazadde ab’amagezi bakozesa bulungi Ekigambo kya Katonda, Baibuli, okuyigiriza abaana baabwe okwagala Katonda n’okukoppa engeri ze. Ng’ekyokulabirako, yamba abaana bo okulowooza ku ekyo omutume Yokaana kye yayolesebwa​—musoke alabika obulungi ennyo nga yeetoolodde entebe ya Yakuwa.a (Okubikkulirwa 4:2, 3) Bannyonnyole nti musoke oyo akiikirira emirembe n’obutebenkevu ebyetoolodde Yakuwa era nti abo bonna abamugondera bajja kufuna emikisa ng’egyo.

Yakuwa era awa obulagirizi okuyitira mu Mwana we, Yesu, ayitibwa “Omukulu ow’emirembe.” (Isaaya 9:6, 7) N’olwekyo, soma era mukubaganye ebirowoozo n’abaana bo ku ebyo ebiri mu Baibuli ebyogera ku Yesu ng’ayigiriza abalala okwewala okuyomba n’obutakaanya. (Matayo 26:51-56; Makko 9:33-35) Bannyonnyole lwaki Pawulo eyali ‘omukambwe’ yakyusa engeri ze era n’awandiika nti “omuddu wa Mukama waffe tekimugwanira kulwananga, wabula okubeeranga omukkakkamu eri bonna, . . . omugumiikiriza.” (1 Timoseewo 1:13; NW; 2 Timoseewo 2:24) Kiyinza okukwewuunyisa okulaba ng’omwana wo akolera ku by’omuyigiriza.

Evan ajjukira bwe yali nga wa myaka musanvu engeri omulenzi gye yamujeregamu nga bali mu bbaasi y’essomero. Evan agamba nti: “Omulenzi oyo yankwasa obusungu ne mpulira nga njagala mbeeko kye mukola! Naye nnajjukira kye nnayiga eka ku abo abataanuula entalo. Nnali nkimanyi nti Yakuwa tayagala muntu ‘kuwalana muntu kibi olw’ekibi’ era ayagala ‘tutabaganenga n’abantu bonna.’” (Abaruumi 12:17, 18) Evan yasobola okufuna obuvumu n’atereeza embeera eyali eyinza okuvaamu akabi ng’ayogera n’obukkakkamu. Yali ayagala kusanyusa Katonda ow’emirembe.

Beera Muzadde wa Mirembe

Mu maka go mulimu emirembe? Bwe kiba kityo, abaana bo bayinza okuyiga okuba ab’emirembe ne bw’oba nga tolina ky’oyogedde. Okusobola okuyigiriza obulungi abaana bo okuba ab’emirembe, kisinziira nnyo ku ngeri gwe gy’oyolekamu engeri za Katonda ne Kristo ez’emirembe.​—Abaruumi 2:21.

Russ ne Cindy bafuba nnyo okutendeka batabani baabwe ababiri, nga babakubiriza okuyisa abalala obulungi nga babanyiizizza. Cindy agamba, “Engeri nze ne Russ gye tuyisaamu batabani baffe n’abantu abalala nga batunyiizizza erina kinene ky’ekola ku ngeri batabani baffe nabo gye bakwatamu embeera ezifaananako ng’ezo.”

Bw’oba ng’okoze ensobi​—nga bwe watali muzadde atasobya​—osobola okukozesa akakisa ako okuyigiriza abaana bo ebintu ebikulu. Stephen agamba nti: “Oluusi nze ne mukyala wange, Terry, twabonerezanga abaana baffe abasatu nga tetumaze kwetegereza bulungi nsonga. Ekyo bwe kyabangawo, twabetonderanga.” Terry agattako nti: “Abaana baffe tubalaga nti naffe tetutuukiridde era nti tukola ensobi. Tuwulira nti kino tekikomye ku kuleetawo mirembe mu maka gaffe kyokka, naye kiyambye n’abaana baffe okuyiga okuba ab’emirembe.”

Abaana bo bayiga okuba ab’emirembe nga balabira ku ngeri gy’obayisaamu? Yesu yagamba nti: “Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo.” (Matayo 7:12) Wadde nga naawe okola ensobi, ba mukakafu nti okwagala kw’olaga abaana bo kujja kuvaamu ebirungi. Abaana bo kijja kubanguyira okukolera ku bulagirizi bwo singa obubawa mu kwagala.

Tosunguwala Mangu

Engero 19:11 wagamba: “[Okutegeera] kw’omuntu kwe kumulwisaawo okusunguwala.” Oyinza otya okuyamba abaana bo okuba n’okutegeera ng’okwo? David annyonnyola engeri ye ne mukyala we, Mariann, gye basobodde okuyambamu mutabani waabwe ne muwala waabwe. Agamba nti: “Bwe wabaawo ayogedde oba akoze ekintu ekibanyiiza, tugezaako okubayamba okutegeera ensonga kw’avudde okukola bw’atyo. Tubabuuza ebibuuzo nga bino: ‘Kyandiba nti omuntu oyo olunaku terumugendedde bulungi? Yandiba nti alina obujja? Waliwo amunyiizizza?’” Mariann agattako nti: “Kino kitera okuyamba abaana baffe okukkakkana mu kifo ky’okubaleka ne basigala nga banyiikaavu oba ne badda mu kuwakana ani mutuufu oba ani mukyamu.”

Okutendeka abaana mu ngeri eyo kuvaamu emiganyulo mingi. Weetegereze engeri Nicole, eyayogeddwako ku ntandikwa, gye yayambibwamu maama we, Michelle, okumalawo obutategeeragana obwali wakati we ne mukwano gwe Gabrielle. Michelle agamba: “Nnasoma ne Nicole essuula 14 ey’ekitabo Learn From the Great Teacher.”b “Oluvannyuma nnamunnyonnyola Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti tulina okusonyiwa omuntu ‘okutuusa emirundi nsanvu mu musanvu.’ Bwe nnamala okuwuliriza Nicole ky’agamba, ne muyamba okuteegera ennaku n’ekiwuubaalo Gabrielle bye yali awulira olw’okuba mukwano gwe nfiirabulago yali agenda kusengukira mu kifo eky’ewala ennyo.”​—Matayo 18:21, 22.

Nicole bwe yategeera ensonga eyinza okuba nga ye yaleetedde Gabrielle okwogera obubi, yamukwatirwa ekisa era n’akuba essimu n’amwetondera. Michelle agamba nti: “Okuva olwo, Nicole afaayo nnyo ku nneewulira y’abalala era kimusanyusa okubaako ebirungi by’abakolera basobole okuwulira obulungi.”​—Abafiripi 2:3, 4.

Yamba abaana bo okwewala okusunguwala nga waliwo abakoze ekibi oba nga bafunye obutategeeragana n’abalala. Bw’okola bw’otyo ojja kuyamba abaana bo okuyiga okuba ab’ekisa n’okufaayo ku balala.​—Abaruumi 12:10; 1 Abakkolinso 12:25.

Balage nti Kirungi Okusonyiwa

Engero 19:11, NW, wagamba nti: ‘Okusonyiwa ekyonoono kintu kirungi.’ Mu kaseera ke akaasingayo okuba akazibu, Yesu yakoppa Kitaawe ng’ayolesa omwoyo gw’okusonyiwa. (Lukka 23:34) Abaana bo bayinza okuyiga nti kirungi okusonyiwa singa naawe obasonyiwa nga balina ensobi gye bakoze.

Ng’ekyokulabirako, Willy ow’emyaka ettaano anyumirwa okusiiga ebifaananyi ng’ali ne jjajja we omukazi. Lumu, jjajja we oyo yamukayukira era n’atambula n’amuviira. Kino Willy kyamuyisa bubi. Taata we, Sam, yagamba nti: “Jjajja wa Willy alina obulwadde bw’obwongo obuyitibwa Alzheimer. Kino twakinnyonnyola Willy mu ngeri ennyangu okutegeera.” Sam kyamwewuunyisa okulaba Willy kye yakola bwe yamujjukiza nti emirundi mingi yali asonyiyiddwa era nti naye asaanidde okusonyiwa abalala. Sam agamba: “Teeberezaamu engeri nze ne mukazi wange gye twawuliramu nga katabani kaffe akato keetondera jjajja waako ow’emyaka 80 era ne kamukwata ku mukono ne kamukomyawo ku mmeeza!”

Mazima ddala kiba kirungi abaana bwe bayiga ‘okuzibiikiriza’ ensobi z’abalala n’okubasonyiwa. (Abakkolosaayi 3:13) Abantu ne bwe bakola ebintu ebinyiiza mu bugenderevu, omwana wo mukakase nti okukuuma emirembe kye kisinga obulungi kubanga ‘amakubo g’omuntu bwe gasanyusa Mukama, asobola okumutabaganya n’abalabe be.’​—Engero 16:7.

Yambanga Omwana Wo Okuba ow’Emirembe

Abazadde bwe bayigiriza abaana baabwe “mu mirembe” okubeera “abo abaleeta emirembe,” kiganyula nnyo abaana. (Yakobo 3:18) Bwe bakola batyo baba bayigiriza abaana baabwe okugonjoola obutategeeragana n’okuba ab’emirembe. Kino kireetera abaana abo okubeera abasanyufu era abamativu mu bulamu bwabwe bwonna.

Dan ne Kathy balina abaana abali mu myaka egy’obutiini basatu abakola obulungi mu by’omwoyo. Dan agamba nti: “Wadde nga tekyali kyangu okubatendeka nga bakyali bato, tuli basanyufu okulaba ng’abaana baffe bakola bulungi mu buweereza bwabwe. Bakolagana bulungi n’abalala, era banguwa okusonyiwa abo ababa babanyiizizza.” Kathy agamba nti, “Kino kituzzaamu amaanyi kubanga emirembe kye kimu ku bibala by’omwoyo omutukuvu.”​—Abaggalatiya 5:22, 23.

N’olwekyo, abazadde Abakristaayo mulina ensonga ennungi ‘obutaddirira’ mu kusomesa baana bammwe okuba ab’emirembe​—wadde nga mu kusooka balwawo okuyiga. Bw’okola bw’otyo, ba mukakafu nti ‘Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabeera naawe.’​—Abaggalatiya 6:9; 2 Abakkolinso 13:11.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba ekifaananyi ekiri ku lupapula 75 mu kitabo Revelation​—Its Grand Climax At Hand! ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

b Kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

KYA KULABIRAKO KIRUNGI?

Ekitongole ekiyitibwa Media Awareness Network kyafulumya ekiwandiiko ekirina omutwe “Ettemu Eriri mu Firimu” ekigamba nti: “Endowooza nti ettemu liyamba mu kugonjoola ebizibu ekubirizibwa nnyo mu firimu ezirimu abantu abenyigira mu bikolwa eby’ettemu.” Ku programu za ttivi, firimu, ne vidiyo z’ennyimba ezeekenneenyezebwa, kkumi ku kikumi zokka ze zaalaga nti ettemu lya kabi. Ekiwandiiko ekyo kigamba nti ezisigadde zonna “zaalaga nti ettemu kintu ekya bulijjo, ekiteewalika, era nti abo abeenyigira mu bikolwa eby’ettemu bakitwala nti eno ye ngeri ennyangu ey’okugonjoola ebizibu.”

Kikwetaagisa okukyusaamu ku bintu bye mulaba ku ttivi mu maka go? Tokkiriza firimu kukulemesa kuyigiriza baana bo kuba ab’emirembe.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Kubiriza abaana bo okwagala okusanyusa “Katonda ow’emirembe”

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Fuba okutereeza enjogera embi n’ebikolwa ebibi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Abaana bo basaanidde okuyiga okwetonda n’okusonyiwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share