OLUYIMBA 52
Okwewaayo okw’Ekikristaayo
Printed Edition
1. Nnyini butonde bwonna ye
Yakuwa Katonda.
Ye yatond’e ggulu n’ensi;
Buli kintu kyonna.
Afaayo ku bantu bonna
Era abalaga
Nti y’agwanidd’o kusinzibwa
N’okutenderezebwa.
2. Yesu bwe yabatizibwa
Yagamba Katonda:
‘Nziz’o kkola by’oyagala.’
Yalag’o bwesigwa.
Bwe yava mu Yoludaani
Yakiragirawo
Nti ye yali muwulize nnyo
Ng’oyo eyeewaddeyo.
3. Tuzze ’maaso go Yakuwa,
Tutende ’linnya lyo.
N’emitim’e miwombeefu
Ffe twewaayo gy’oli.
Wawaayo ’Mwana wo omu
Gw’oyagala ennyo.
Ffe tetukyetwala ku lwaffe,
Kati tuli baddu bo.
(Laba ne Mat. 16:24; Mak. 8:34; Luk. 9:23.)