EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MAKKO 1-2
“Osonyiyiddwa Ebibi Byo”
Ekyamagero kino kituyigiriza ki?
- Ekibi kye twasikira kye kituviirako okulwala 
- Yesu alina obuyinza okusonyiwa ebibi, era alina amaanyi agasobola okuwonya abalwadde 
- Bwe tuliba tufugibwa Obwakabaka bwa Katonda, Yesu ajja kuggirawo ddala obutali butuukirivu n’endwadde 
Ebiri mu Makko 2:5-12 biyinza bitya okuŋŋumya nga ndi mulwadde?