Apuli 16-22
MAKKO 1-2
- Oluyimba 130 n’Okusaba 
- Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera) 
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
- “Osonyiyiddwa Ebibi Byo”: (Ddak. 10) - [Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo kya Makko.] 
- Mak 2:3-5—Yesu yakwatirwa omusajja eyasannyalala ekisa, n’amusonyiwa ebibi bye (jy lup. 67 ¶3-5) 
- Mak 2:6-12—Yesu yalaga nti alina obuyinza okusonyiwa ebibi bwe yawonya omusajja eyasannyalala (“Kiki ekisinga obwangu“ awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 2:9, nwtsty) 
 
- Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8) - Mak 1:11—Ebigambo Yakuwa bye yagamba Yesu ebiri mu lunyiriri luno birina makulu ki? (“eddoboozi ne liva mu ggulu,“ “Ggwe Mwana wange,“ “nkusanyukira“ awannyonnyolerwa ebiriri mu Mak 1:11, nwtsty) 
- Mak 2:27, 28—Lwaki Yesu yagamba nti ye “Mukama wa Ssabbiiti”? (“Mukama wa Ssabbiiti“ awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 2:28, nwtsty) 
- Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa? 
- Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno? 
 
- Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Mak 1:1-15 
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
- Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Tandika n’ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. 
- Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebyo ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. 
- Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo. 
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
- “Sajja Kuyita Batuukirivu Wabula Aboonoonyi”: (Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo erina omutwe, Nnava mu Kkomera ne Nfuuka Omuntu ow’Omugaso. Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Kiki ekyayamba Donald okufuna essanyu erya nnamaddala? Tuyinza tutya okukoppa Yesu nga tubuulira?—Mak 2:17. 
- Yakuwa ‘Asonyiyira Ddala’: (Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo erina omutwe, Yakuwa, Nja Kukukulembeza mu Bulamu Bwange. Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Kiki ekyayamba Anneliese okudda eri Yakuwa? (Is 55:6, 7) Oyinza otya okukozesa ekyokulabirako kye okuyamba abo abavudde ku Yakuwa? 
- Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 17 
- Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3) 
- Oluyimba 86 n’Okusaba