EBYONGEREZEDDWAKO
1 YAKUWA
Erinnya lya Katonda ye Yakuwa era litegeeza nti “Aleetera Ebintu Okubaawo.” Yakuwa ye Katonda omuyinza w’ebintu byonna, era ye yatonda ebintu byonna. Alina obuyinza okukola kyonna ky’aba asazeewo.
Mu Lwebbulaniya, erinnya lya Katonda lyawandiikibwa mu nnukuta nnya. Mu Lungereza, ennukuta ezo ziwandiikibwa bwe ziti: YHWH oba JHVH. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyasooka, erinnya lya Katonda lisangibwamu emirundi nga 7,000. Abantu okwetooloola ensi yonna baatula erinnya Yakuwa mu ngeri za njawulo okusinziira ku nnimi ze boogera.
2 BAYIBULI ‘YALUŊŊAMIZIBWA KATONDA’
Bayibuli Kigambo kya Katonda, naye Katonda yakozesa bantu okugiwandiika. Kino tuyinza okukigeraageranya ku maneja wa kampuni agamba omuwandiisi we okuwandiika ebbaluwa. Ebirowoozo ebiba mu bbaluwa eyo biba bya maneja so si bya muwandiisi we. Katonda yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okuluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli ne bawandiika ebirowoozo bye. Omwoyo gwa Katonda gwabaluŋŋamyanga mu ngeri za njawulo; ebiseera ebimu baafunanga okwolesebwa oba baalootanga ebirooto, oluvannyuma ne bawandiika ebyo bye baayolesebwanga oba bye baalootanga.
3 EMISINGI
Ze njigiriza eziri mu Bayibuli ezituyamba okusalawo obulungi. Ng’ekyokulabirako, omusingi ogugamba nti “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi” gutuyigiriza nti abantu be tukolagana nabo basobola okutuleetera okweyisa obulungi oba okweyisa obubi. (1 Abakkolinso 15:33) Ate omusingi ogugamba nti “ekyo omuntu ky’asiga, era ky’alikungula” gutuyigiriza nti tetusobola kwewala biva mu ebyo bye tuba tukoze.—Abaggalatiya 6:7.
4 OBUNNABBI
Buno buba bubaka obuva eri Katonda. Buyinza okuba nga bunnyonnyola ekigendererwa kya Katonda, enjigiriza ekwata ku mpisa, ekiragiro, oba omusango Katonda gw’asaze. Buyinza n’okuba obubaka obukwata ku ebyo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Waliwo obunnabbi bungi obuli mu Bayibuli obumaze okutuukirira.
5 OBUNNABBI OBUKWATA KU MASIYA
Yesu ye yatuukiriza obunnabbi obukwata ku Masiya. Laba akasanduuko “Obunnabbi Obukwata ku Masiya.”
▸ Sul. 2, kat. 17, obugambo obuli wansi.
6 EKIGENDERERWA YAKUWA KYE YALINA OKUTONDA ENSI
Yakuwa yatonda ensi ng’ayagala ebeere ekifo ekirabika obulungi ebeeremu abantu abamwagala. Ekigendererwa kye tekikyukanga. Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kuggyawo ebintu ebibi byonna era awe abantu be obulamu obutaggwaawo.
7 SITAANI OMULYOLYOMI
Sitaani ye malayika eyasooka okujeemera Katonda. Ayitibwa Sitaani, ekitegeeza “Omuziyiza,” kubanga aziyiza Yakuwa. Ate era ayitibwa Omulyolyomi, ekitegeeza “Oyo Awaayiriza Abalala.” Erinnya lino lyamuweebwa olw’okuba ayogera eby’obulimba ku Katonda era alimba abantu.
8 BAMALAYIKA
Yakuwa yatonda bamalayika nga tannaba kutonda nsi. Baatondebwa nga ba kubeera mu ggulu. Bamalayika basukka mu bukadde kikumi. (Danyeri 7:10) Balina amannya n’engeri ez’enjawulo, ate era bamalayika abeesigwa tebakkiriza bantu kubasinza. Balina ebitiibwa bya njawulo era baweebwa emirimu egy’enjawulo. Emirimu gye bakola gizingiramu okuweereza mu maaso g’entebe ya Yakuwa ey’obwakabaka, okutegeeza abantu obubaka bwa Katonda, okulwanirira abaweereza ba Katonda n’okubawa obulagirizi, okutuukiriza emisango Katonda gy’aba asaze, n’okuwagira omulimu gw’okubuulira. (Zabbuli 34:7; Okubikkulirwa 14:6; 22:8, 9) Mu kiseera eky’omu maaso, bajja kuba wamu ne Yesu mu kulwana olutalo Amagedoni.—Okubikkulirwa 16:14, 16; 19:14, 15.
▸ Sul. 3, kat. 5; Sul. 10, kat. 1
9 EKIBI
Kye kintu kyonna kye tulowooza oba kye tukola ekikontana n’ebyo Yakuwa by’ayagala oba n’ekigendererwa kye. Olw’okuba ekibi kyonoona enkolagana yaffe ne Katonda, Katonda atuwadde ebiragiro n’emisingi ebisobola okutuyamba okwewala okwonoona mu bugenderevu. Ku lubereberye, Yakuwa yatonda buli kintu nga kituukiridde, naye Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Yakuwa, baayonoona ne bafuuka abantu abatatuukiridde. Baakaddiwa era ne bafa. Olw’okuba twasikira ekibi okuva ku Adamu, naffe tukaddiwa era tufa.
▸ Sul. 3, kat. 7; Sul. 5, kat. 3
10 AMAGEDONI
Lwe lutalo Katonda mw’agenda okuzikiririza enteekateeka ya Sitaani n’okuggyawo ebintu ebibi byonna.
▸ Sul. 3, kat. 13; Sul. 8, kat. 18
11 OBWAKABAKA BWA KATONDA
Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti Yakuwa gye yateekawo mu ggulu. Yesu Kristo afuga nga Kabaka mu gavumenti eyo. Mu biseera eby’omu maaso, Yakuwa ajja kukozesa Obwakabaka obwo okuggyawo ebintu ebibi byonna. Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuga ensi yonna.
12 YESU KRISTO
Katonda yasooka kutonda Yesu nga tannatonda kintu kirala kyonna. Yakuwa yatuma Yesu ku nsi okufiirira abantu bonna. Yesu yattibwa, naye Yakuwa n’amuzuukiza. Yesu kati afuga nga Kabaka mu ggulu mu Bwakabaka bwa Katonda.
13 OBUNNABBI OBUKWATA KU WIIKI 70
Bayibuli yalaga ekiseera Masiya lwe yandirabise. Yalaga nti yandirabise ku nkomerero y’ekiseera ekya wiiki 69, ekyatandika mu mwaka 455 E.E.T. era ne kiggwaako mu mwaka 29 E.E.a
Tumanya tutya nti ekiseera ekyo kyaggwaako mu mwaka 29 E.E.? Wiiki 69 zaatandika mu mwaka 455 E.E.T., omwaka Nekkemiya gwe yatuukiramu mu Yerusaalemi n’addamu okuzimba ekibuga ekyo. (Danyeri 9:25; Nekkemiya 2:1, 5-8) Bwe tuwulira ekigambo “wiiki,” tutera okulowooza ku nnaku musanvu. Naye wiiki ezoogerwako mu bunnabbi buno si za nnaku musanvu, wabula za myaka musanvu. Kino kituukagana bulungi n’engeri ennaku gye zitera okubalibwamu mu bunnabbi bwa Bayibuli, nga “buli lunaku lubalwamu mwaka.” (Okubala 14:34; Ezeekyeri 4:6) Kino kitegeeza nti buli wiiki erimu emyaka musanvu era nti wiiki 69 zenkanankana emyaka 483 (69 x 7). Bwe tubala emyaka 483 okuva mu mwaka 455 E.E.T., tutuuka ku mwaka 29 E.E. Guno gwe mwaka gwennyini Yesu gwe yabatirizibwamu era n’afuuka Masiya!—Lukka 3:1, 2, 21, 22.
Ate era obunnabbi obwo bwayogera ne ku wiiki endala emu, era nga wiiki eyo gye myaka emirala musanvu. Mu kiseera ekyo eky’emyaka emirala omusanvu, mu mwaka 33 E.E., Masiya yandittiddwa, era okuva mu mwaka 36 E.E., amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda gandibuuliddwa mu mawanga gonna, so si eri Abayudaaya bokka.—Danyeri 9:24-27.
14 ENJIGIRIZA YA TIRINITI
Bayibuli eyigiriza nti Yakuwa Katonda ye Mutonzi era nti yasooka kutonda Yesu nga tannatonda bintu birala. (Abakkolosaayi 1:15, 16) Yesu si ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Tewali mulundi na gumu Yesu lwe yagamba nti yenkanankana ne Katonda. Mu butuufu yagamba nti: “Kitange ansinga obuyinza.” (Yokaana 14:28; 1 Abakkolinso 15:28) Naye amadiini agamu gayigiriza nti Katonda Tiriniti oba nti ali mu busatu: Katonda Kitaffe, Katonda Mwana, ne Katonda mwoyo mutukuvu. Ekigambo “Tiriniti” tekiri mu Bayibuli. Enjigiriza eyo ya bulimba.
Omwoyo omutukuvu ge maanyi ga Katonda agatalabika g’akozesa okutuukiriza ekigendererwa kye. Omwoyo omutukuvu si muntu. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo abaasooka ‘bajjula omwoyo omutukuvu,’ ate era Yakuwa yagamba nti: “Ndifuka omwoyo gwange ku bantu aba buli ngeri.”—Ebikolwa 2:1-4, 17.
▸ Sul. 4, kat. 12; Sul. 15, kat. 17
15 OMUSAALABA
Abakristaayo ab’amazima bwe baba basinza Katonda, tebakozesa musaalaba. Lwaki?
Amadiini ag’obulimba gamaze ekiseera kiwanvu nga gakozesa omusaalaba. Mu biseera eby’edda, abantu baakozesanga omusaalaba nga basinza ebitonde ebitali bimu era ne mu bulombolombo bw’ekikaafiiri obukwata ku kwegatta. Mu myaka 300 egyasooka nga Yesu amaze okufa, Abakristaayo tebaakozesanga musaalaba nga basinza Katonda. Naye bwe waayitawo ekiseera, Empula Konsitantiini Omuruumi yafuula omusaalaba akabonero k’eddiini y’Ekikristaayo. Omusaalaba gwakozesebwa okusikiriza abantu okufuuka Abakristaayo. Kyokka omusaalaba tegwalina kakwate konna na Yesu Kristo. Ekitabo ekiyitibwa New Catholic Encyclopedia kigamba nti: “Omusaalaba gwakozesebwanga nga n’Obukristaayo tebunnatandika era n’abantu abatali Bakristaayo baali bagukozesa.”
Yesu teyafiira ku musaalaba. Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “omusaalaba” kitegeeza “ekikondo,” “olubaawo,” oba “omuti.” Enkyusa ya Bayibuli eyitibwa The Companion Bible egamba nti: “Mu lulimi Oluyonaani olwakozesebwa mu [Ndagaano Empya] ekigambo ekyakozesebwa tekitegeeza mbaawo bbiri [ng’olumu lukiikiddwa ku lulala].” Yesu yafiira ku kikondo.
Yakuwa tayagala tukozese bifaananyi oba obubonero nga tumusinza.—Okuva 20:4, 5; 1 Abakkolinso 10:14.
16 EKIJJUKIZO
Yesu yalagira abayigirizwa be okujjukiranga okufa kwe. Kino bakikola nga Nisaani 14 buli mwaka, ku lunaku lwe lumu Abayisirayiri lwe baakwatirangako Embaga ey’Okuyitako. Omugaati n’envinnyo ebikiikirira omubiri n’omusaayi gwa Yesu biyisibwa ku mukolo gw’Ekijjukizo. Abo abanaafugira awamu ne Yesu mu ggulu balya ku mugaati era banywa ku nvinnyo. Ate abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna babaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo naye bo tebalya ku mugaati era tebanywa ku nvinnyo.
17 OMUZIMU
Abantu bangi balowooza nti omuntu bw’afa, afuuka muzimu. Ate era abamu balowooza nti emizimu gisobola okuyamba abantu abalamu oba okubatuusaako akabi.
Kyokka Bayibuli tegamba nti omuntu bw’afa afuuka muzimu, wabula egamba nti omuntu bw’afa aba takyaliwo. Ebyawandiikibwa bigamba nti: ‘Abalamu bamanyi nga balifa, naye abafu tebaliiko kye bamanyi, kubanga beerabirwa; tebakyajjukirwa. Era okwagala kwabwe, n’obukyayi bwabwe, n’obuggya bwabwe, byaggwaawo, era tebakyenyigira mu kintu kyonna ekikolebwa wansi w’enjuba. Emagombe gy’ogenda teriiyo mulimu, wadde okukola enteekateeka, wadde okumanya, wadde amagezi.’ (Omubuulizi 9:5, 6, 10) Ate era Bayibuli egamba nti omuntu bw’afa, ‘addayo mu ttaka, era ku lunaku olwo ebirowoozo bye bisaanawo.’ Aba takyaliwo. (Zabbuli 146:4; Olubereberye 3:19)
N’olwekyo, Bayibuli teyigiriza nti omuntu bw’afa afuuka muzimu. Tegamba nti abafu baba bakyali balamu nga baliko gye bali. Bwe kityo tebasobola kutuyamba oba okututuusaako akabi.
▸ Sul. 6, kat. 5; Sul. 15, kat. 17
18 OMWOYO
Ebigambo by’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebivvuunulwa “omwoyo” mu Nkyusa ey’Ensi Empya bisobola okutegeeza ebintu eby’enjawulo, naye nga byonna bitegeeza ebintu abantu bye batasobola kulaba, gamba ng’empewo oba omukka abantu gwe bassa n’ensolo gwe zissa. Ate era ebigambo ebyo bisobola okutegeeza ebitonde eby’omwoyo oba omwoyo omutukuvu, nga gano ge maanyi ga Katonda. Bayibuli teyigiriza nti omuntu bw’afa waliwo ekintu ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu.—Okuva 35:21; Zabbuli 104:29; Matayo 12:43; Lukka 11:13.
▸ Sul. 6, kat. 5; Sul. 15, kat. 17
19 GGEYEENA
Ggeyeena linnya lya kiwonvu mwe baayokeranga kasasiro, ekyali okumpi ne Yerusaalemi. Tewali bukakafu bulaga nti mu kiseera kya Yesu abantu oba ebisolo byabonyaabonyezebwanga oba byayokebwanga nga biramu mu kiwonvu ekyo. N’olwekyo, Ggeyeena si kifo ekitalabika abantu abafudde gye babonyaabonyezebwa oba gye bookerwa emirembe n’emirembe. Yesu bwe yayogera ku kusuulibwa mu Ggeyeena, yali ategeeza okuzikirira nga tewali ssuubi lya kuddamu kuba mulamu.—Matayo 5:22; 10:28.
20 ESSAALA YA MUKAMA WAFFE
Eno ye ssaala Yesu gye yayigiriza abayigirizwa be bwe yali abalaga engeri y’okusabamu. Ate era essaala eno eyitibwa Essaala ya Kitaffe Ali mu Ggulu oba essaala ey’okulabirako. Ng’ekyokulabirako, Yesu yatuyigiriza tusabe bwe tuti:
“Erinnya lyo litukuzibwe”
Bwe twogera ebigambo ebyo, tuba tusaba Yakuwa aggye ekivume ku linnya lye olw’okuba lyogeddwako eby’obulimba. Ekyo kijja kusobozesa bonna abali mu ggulu ne ku nsi okussa ekitiibwa mu linnya lya Katonda.
“Obwakabaka bwo bujje”
Bwe twogera ebigambo ebyo, tuba tusaba nti gavumenti ya Katonda ezikirize enteekateeka ya Sitaani, efuge ensi, era efuule ensi olusuku lwa Katonda.
“By’oyagala bikolebwe mu nsi”
Bwe twogera ebigambo ebyo, tuba tusaba Katonda atuukirize ekigendererwa kye yalina okutonda ensi, abantu abawulize era abatuukiridde basobole okubeera mu lusuku lwe emirembe gyonna, ng’ekigendererwa kye bwe kyali ng’atonda abantu.
21 EKINUNULO
Yakuwa yakola enteekateeka ekinunulo kiweebweyo okulokola abantu okuva mu kibi n’okufa. Ekinunulo kye kintu ekyalina okuweebwayo okusasulira obulamu obutuukiridde omuntu eyasooka, Adamu, bwe yafiiriza abantu era n’okusobozesa abantu okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Katonda yatuma Yesu ku nsi okufiirira abantu bonna. Olw’okuba Yesu yatufiirira, abantu bonna basobola okuba n’essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna era n’okufuuka abatuukiridde.
▸ Sul. 8, kat. 21; Sul. 9, kat. 13
22 LWAKI OMWAKA 1914 MUKULU NNYO?
Obunnabbi obuli mu Danyeri essuula 4 bulaga nti Katonda yanditaddewo Obwakabaka bwe mu 1914.
Obunnabbi: Yakuwa yaloosa Kabaka Nebukadduneeza ekirooto ekyalimu obunnabbi obukwata ku muti omunene ogwatemebwa. Mu kirooto ekyo Nebukadduneeza yalaba olukoba olw’ekyuma n’olw’ekikomo nga zisibiddwa ku kikonge ky’omuti ogwo kireme okuloka okumala ebbanga lya ‘biseera musanvu.’ Ebiseera ebyo bwe byandiweddeeko, omuti ogwo gwandizzeemu okukula.—Danyeri 4:1, 10-16.
Obunnabbi obwo bulina makulu ki gye tuli? Omuti ogwo gukiikirira obufuzi bwa Katonda. Yakuwa yamala emyaka mingi ng’akozesa bakabaka mu Yerusaalemi okufuga eggwanga lya Isirayiri. (1 Ebyomumirembe 29:23) Naye bakabaka abo baamujeemera, era obufuzi bwabwe ne bukoma. Yerusaalemi kyazikirizibwa mu mwaka gwa 607 E.E.T. Eyo ye yali entandikwa ‘y’ebiseera omusanvu’ ebyogerwako mu bunnabbi obwo. (2 Bassekabaka 25:1, 8-10; Ezeekyeri 21:25-27) Yesu bwe yagamba nti, “Yerusaalemi kiririnnyirirwa amawanga okutuusa ebiseera ebigereke eby’amawanga lwe biriggwaako,” yali ayogera ku ‘biseera omusanvu.’ (Lukka 21:24) N’olwekyo ‘ebiseera omusanvu’ tebyaggwaako nga Yesu akyali ku nsi. Yakuwa yasuubiza okussaawo Kabaka ‘ng’ebiseera omusanvu’ biweddeko. Obufuzi bwa Kabaka ono omupya, Yesu, bwandireetedde abantu ba Katonda mu nsi yonna emikisa egy’olubeerera.—Lukka 1:30-33.
“Ebiseera musanvu” byenkana wa? “Ebiseera musanvu” byalimu emyaka 2,520. Bwe tubala emyaka 2,520 okuva mu mwaka 607 E.E.T., tutuuka ku mwaka 1914. Ogwo gwe mwaka Yakuwa gwe yafuuliramu Yesu Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda mu ggulu.
Tumanya tutya nti “ebiseera musanvu” byalimu emyaka 2,520? Bayibuli eraga nti ebiseera bisatu n’ekitundu byenkana ennaku 1,260. (Okubikkulirwa 12:6, 14) N’olwekyo, “ebiseera musanvu” bikubisaamu omuwendo ogwo emirundi ebiri, oba byenkana ennaku 2,520. Ennaku 2,520 zenkana emyaka 2,520. Kino kituukagana bulungi n’engeri ennaku gye zitera okubalibwamu mu bunnabbi bwa Bayibuli, nga “buli lunaku lubalwamu mwaka.”—Okubala 14:34; Ezeekyeri 4:6.
23 MIKAYIRI MALAYIKA OMUKULU
Ebigambo “malayika omukulu” bitegeeza “akulira bamalayika.” Bayibuli eyogera ku malayika omukulu omu yekka, era erinnya lye ye Mikayiri.—Danyeri 12:1; Yuda 9.
Mikayiri ye Mukulembeze w’eggye lya bamalayika abeesigwa. Okubikkulirwa 12:7 wagamba nti: “Mikayiri ne bamalayika be ne balwana n’ogusota . . . ne bamalayika baagwo.” Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti Yesu ye Mukulembeze w’eggye lya Katonda. N’olwekyo, Mikayiri linnya lya Yesu eddala.—Okubikkulirwa 19:14-16.
24 ENNAKU EZ’ENKOMERERO
Ebigambo ebyo byogera ku kiseera ebintu ebikulu ennyo we byandibeereddewo ku nsi ng’Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okuzikiriza ensi ya Sitaani. Bayibuli ekozesa ebigambo ebirala ebifaananako bwe bityo, gamba nga ‘amafundikira g’enteekateeka y’ebintu’ ne ‘okubeerawo kw’Omwana w’omuntu,’ ng’eyogera ku kiseera kye kimu. (Matayo 24:3, 27, 37) ‘Ennaku ez’enkomerero’ zaatandika mu 1914 Obwakabaka bwa Katonda lwe bwatandika okufuga mu ggulu era zijja kuggwaako ng’ensi ya Sitaani ezikiriziddwa ku Amagedoni.—2 Timoseewo 3:1; 2 Peetero 3:3.
25 OKUZUUKIRA
Katonda bw’addamu okuwa omuntu afudde obulamu, ekyo kiyitibwa okuzuukira. Bayibuli eyogera ku kuzuukira kwa mirundi mwenda. Eriya, Erisa, Yesu, Peetero, ne Pawulo bonna baazuukiza abantu. Katonda ye yabawa amaanyi okuzuukiza abantu abo. Yakuwa asuubiza okuzuukiza ‘abatuukirivu n’abatali batuukirivu’ baddemu babeere ku nsi. (Ebikolwa 24:15) Ate era Bayibuli eyogera ku kuzuukira kw’abo abagenda mu ggulu. Kino kibaawo ng’abo abaalondebwa, oba abaafukibwako amafuta, Katonda abazuukiza okugenda mu ggulu okubeera ne Yesu.—Yokaana 5:28, 29; 11:25; Abafiripi 3:11; Okubikkulirwa 20:5, 6.
26 EBY’OBUSAMIZE
Obusamize kwe kugezaako okwogera ne badayimooni butereevu oba okuyitira mu muntu omulala, gamba ng’omulubaale oba omulaguzi. Abantu abeenyigira mu by’obusamize bakikola olw’okuba bakkiririza mu njigiriza ey’obulimba egamba nti omuntu bw’afa omwoyo gumuvaamu ne gufuuka omuzimu. Badayimooni bakozesa eby’obusamize okuleetera abantu okujeemera Katonda. Obusamize buzingiramu okulaguzisa emmunyeenye, obulaguzi, obufuusa, obulogo, n’ebirala ebirina akakwate ne badayimooni. Ebitabo bingi, magazini, firimu, emizannyo, n’ennyimba, bireetera abantu okulowooza nti eby’obusamize tebirina kabi era bisanyusa. Obulombolombo bungi obukolebwa ng’omuntu afudde, gamba ng’okusaddaakira abafu, okwabya ennyimbe, emikolo gy’okujjukira abafu, obulombolombo obukolebwa ku bannamwandu ne bamulekwa, n’okukuma ekyoto mu luggya, nabwo bulina akakwate n’okukolagana ne badayimooni. Emirundi egisinga obungi abantu abakozesa amaanyi ga badayimooni bakozesa ebiragalalagala.—Abaggalatiya 5:20; Okubikkulirwa 21:8.
▸ Sul. 10, kat. 10; Sul. 16, kat. 4
27 OBUFUZI BWA YAKUWA
Yakuwa ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, era ye yatonda ebintu byonna. (Okubikkulirwa 15:3) Eyo ye nsonga lwaki ye Nnannyini bintu byonna era y’agwanidde okufuga ebintu bye yatonda. (Zabbuli 24:1; Isaaya 40:21-23; Okubikkulirwa 4:11) Ebintu byonna bye yatonda yabiteerawo amateeka. Ate era Yakuwa alina obuyinza okulonda abalala okuba abafuzi. Tuwagira obufuzi bwa Yakuwa nga tumugondera era nga tukiraga nti tumwagala.—1 Ebyomumirembe 29:11.
28 OKUGGYAMU EMBUTO
Okuggyamu olubuto kintu ekikolebwa mu bugenderevu okutta omwana atannazaalibwa. Tekibaawo mu butanwa era tekiva ku bulwadde. Okuva omukazi lw’afuna olubuto, omwana ali mu lubuto aba muntu yennyini so si kitundu butundu eky’omubiri gwa nnyina.
29 OKUTEEKEBWAKO OMUSAAYI
Mu nkola eno, abasawo bateekako omuntu omusaayi oba ekimu ku bitundu byagwo ebina ebikulu. Bamuteekako omusaayi gw’omuntu omulala oba ogugwe gwe baba baatereka. Ebitundu by’omusaayi ebikulu ebina bye bino: plasma, platelets, obutoffaali obumyufu n’obutoffaali obweru.
30 OKUKANGAVVULA
Mu Bayibuli, ekigambo ekivvuunulwa “okukangavvula” tekitegeeza kubonereza kyokka, naye era kitegeeza okubuulirira, okuyigiriza, n’okuwabula. Yakuwa tavuma abo b’aba ayigiriza era tabakambuwalira. (Engero 4:1, 2) Yakuwa ateerawo abazadde ekyokulabirako ekirungi. Bw’abuulirira omuntu, omuntu oyo aganyulwa, era ekyo kimuleetera okwagala okubuulirirwa. (Engero 12:1) Yakuwa ayagala abantu be era abatendeka. Awa abantu be obulagirizi obubayamba okutereeza endowooza enkyamu ze baba nazo era obubayamba okulowooza n’okweyisa mu ngeri emusanyusa. Omuzadde asaanidde okukimanya nti okukangavvula omwana kizingiramu okumuyamba okutegeera ensonga lwaki asaanidde okuba omuwulize. Ate era okukangavvula kizingiramu n’okuyamba omwana okwagala Yakuwa, okwagala Ekigambo kye Bayibuli, n’okutegeera emisingi egikirimu.
31 BADAYIMOONI
Bitonde bya mwoyo ebitalabika ebibi ennyo, era ebirina amaanyi agasinga ag’abantu. Badayimooni bamalayika babi nnyo. Tebaatondebwa nga babi, wabula beefuula abalabe ba Katonda bwe baamujeemera. (Olubereberye 6:2; Yuda 6) Beegatta ku Sitaani mu kujeemera Yakuwa.—Ekyamateeka 32:17; Lukka 8:30; Ebikolwa 16:16; Yakobo 2:19.
[Obugambo obuli wansi]
a Ennukuta E.E.T zitegeeza Embala Eno nga Tennatandika, ate E.E zitegeeza Embala Eno.