OLUYIMBA 106
Okukulaakulanya Okwagala
Printed Edition
	- 1. Tusaba Katonda ’tuyambe - Nga tufuba ’kkopp’e ngeri ze; - Gye tusing’o kwagal’o kkoppa - Kwe kwagala okwo kw’alina. - ’Bitone byaffe bibe bingi, - ’Watali kwagala, bya busa. - Tufub’o kwolek’o kwagala - Mu bintu byonna bye tukola. 
- 2. Okwagala kwolek’e kisa - Era kufaayo ku balala. - Tekubaako gwe kunyiigira; - Kusonyiwa abatunyiiza. - ’Kwagala kugumiikiriza; - Kwetikka emigugu gyonna. - Kugumira ebintu byonna; - ’Kwagala tekulemererwa. 
(Laba ne Yok. 21:17; 1 Kol. 13:13; Bag. 6:2.)