OLUYIMBA 97
Obulamu Bwaffe Bwesigamye ku Kigambo kya Katonda
Printed Edition
1. Ekigambo kya Yakuwa
Ffenna tukyetaaga.
Tubaawo lwa Kigambo kye;
Si lwa mmere yokka.
Kituw’e ssuubi n’essanyu
Ebya nnamaddala.
(CHORUS)
Ekigambo kya Katonda
Ffenna tukyetaaga.
Tukisome buli lukya
Kuba tukyetaaga.
2. Mu Kigambo kya Katonda
Tusoma ku bantu
Abaaweereza Yakuwa
Ne batamuvaako.
Tuzzibwamu nnyo amaanyi
Bwe tubasomako.
(CHORUS)
Ekigambo kya Katonda
Ffenna tukyetaaga.
Tukisome buli lukya
Kuba tukyetaaga.
3. Ekigambo kya Katonda
Bwe tukyekenneenya
Tuzzibwamu nnyo amaanyi;
Tuweebwa ’magezi.
Ka tufumiitirizenga
Kw’ebyo bye tusoma.
(CHORUS)
Ekigambo kya Katonda
Ffenna tukyetaaga.
Tukisome buli lukya
Kuba tukyetaaga.